Enteekateeka ey’Okukuyamba Okukulaakulana mu Kwogera n’Okuyigiriza
K’OBEERE muto oba mukulu, musajja oba mukazi, koosi eno eyinza okukuyamba okukulaakulana mu kwogera obulungi n’okuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda.
Akubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda y’agabira abali mu ssomero emboozi. Ku mpapula essatu eziddirira, ojja kusangako foomu yo ey’okuwabulirwako. Nnamba eziriko, zikwatagana n’amasomo agasangibwa ku mpapula eziddirira. Amasomo ago gannyonnyola by’olina okukolako okusobola okuyiga engeri ennungi ez’okwogeramu n’okuyigiriza era n’ensonga lwaki buli emu nkulu. Era ojja kusangamu obulagirizi obukuyamba okukola ku ekyo ekiba kikuweereddwa.
Langi ez’enjawulo eziri ku foomu ey’okuwabulirwako ziraga ensonga ez’okukolako ezikwatagana n’emboozi (1) ey’okusoma eri abakuwuliriza, (2) eri wakati w’abantu babiri oba n’okusingawo, oba (3) eweebwa eri ekibiina. Akubiriza essomero y’ajja okukutegeeza ensonga gy’olina okukolako. Kyandibadde kirungi okukola ku nsonga emu buli mulundi. Ojja kuganyulwa singa okola ebikuweereddwa okukola ebiri ku nkomerero y’essomo ly’oliko. Singa kineeyoleka nti ossizza mu nkola amagezi agakuweereddwa mu ssomo ly’oweereddwa okukolako, akuwabula ajja kukutegeeza ensonga endala ey’okukolako.
Emboozi yo bw’eba eneebaamu okulaga ekyokulabirako, kijja kukwetaagisa okulonda embeera ey’okugiweeramu. Olukalala lw’embeera ez’okuweeramu emboozi luli ku lupapula 82, kyokka oyinza n’okukozesa embeera endala yonna etali ku lukalala. Omuwabuzi wo ayinza okukulondera embeera ey’okuweeramu emboozi osobole okufuna obumanyirivu, oba ayinza okukuleka ne weerondera gy’oyagala.
Okusoma ekitabo kino era n’okukola ebiweereddwa ku nkomerero y’essomo wadde nga tolina mboozi gy’otegeka, kijja kukuyamba nnyo okukulaakulana. Oboolyawo oyinza okusoma essomo limu buli wiiki.
K’obeere ng’omaze bbanga ki mu ssomero oba nga weenyigira mu buweereza obw’ennimiro, okyasobola okweyongera okukulaakulana. Ka oganyulwe mu bujjuvu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.