Essomero Eritusobozesa Okukola Omulimu Ogusingayo Obukulu mu Bulamu
1 Abantu bagenda mu masomero okufuna obuyigirize obunaabasobozesa okutuuka ku biruubirirwa byabwe mu bulamu. Naye kiruubirirwa ki ekisinga eky’okutendereza Katonda omugabi w’obulamu n’okuyamba abalala okuyiga ebigendererwa bye wamu n’amakubo ge? Tekiriiyo. Ekiruubirirwa ky’Essomero ly’Omulimu Gwa Katonda kwe kututeekateeka okuyigiriza abalala enzikiriza zaffe. N’olwekyo, bwe tubeerawo mu ssomero buli wiiki, tufuna obukugu obutusobozesa okwenyigira mu mulimu ogusingayo obukulu mu bulamu.
2 Enteekateeka “y’Essomero ly’Omulimu Gwa Katonda eya 2003” yateekebwa mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ak’omwezi ogwayita. Enteekateeka eyo yalimu kalonda yenna alaga engeri essomero gye linaakubirizibwamu. Kijja kukuyamba okutereka olupapula okuli enteekateeka eyo mu kitabo kyo Benefit From Theocratic Ministry School Education, ky’olina okugendanga nakyo mu Ssomero buli wiiki. Weetegereze ebimu ku biri mu Ssomero ly’Omulimu Gwa Katonda mu 2003.
3 Ensonga Ey’Okwogerako: Okutandikira mu Jjanwali, buli lukuŋŋaana lw’Essomero lujja kutandika n’emboozi ey’eddakiika ettaano ekwata ku nsonga ey’okwogerako oba ku kusoma, okuyiga, oba okuyigiriza. Omulabirizi w’essomero yajjanga okuwa emboozi eno oba ayinza okusaba omukadde omulala alina ebisaanyizo okugiwa. Omwogezi ayinza okunnyonnyola ensonga eyogerwako n’obukulu bwayo. Oluvannyuma ayinza okugaziya ku nsonga eyo ng’awa ebyokulabirako okuva mu byawandiikibwa era ng’alaga engeri ey’okugikozesaamu, ng’essira alissa ku ngeri gy’eyinza okutuyambamu mu buweereza bw’ennimiro.
4 Emboozi 1: Ab’oluganda abaweereddwa emboozi esooka baddamu okukubirizibwa “okussa essira ku mugaso gw’ebyo ebyogerwa.” Kino kitegeeza okulaga ekibiina engeri y’okuteeka mu nkola ebiba byogerwa. Bw’oweebwa emboozi eno, kebera mu kitabo Ministry School empapula 48-9 okufuna amagezi ag’okuteekateekamu emboozi yo, era soma ebijuliziddwa mu index y’ekitabo ekyo wansi w’omutwe “Practical application.”
5 Enteekateeka y’Okusoma Baibuli: Bwe kiba nti ebiseera ebiyise tosobodde kutuukana na nteekateeka y’okusoma Baibuli okwa buli wiiki, lwaki tomalirira kunywerera ku nteekateeka eyo omwaka guno? Abo abakola batyo bajja kumalako Ebyawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani mu mwaka gumu. Emiganyulo egiva mu kutandika n’okusoma Ebyawandiiibwa by’Ekikristaayo mu Luyonaani giragibwa ku lupapula 10, akatundu 4, mu kitabo Ministry School.
6 Ebikulu Ebiba mu Kusaoma kwa Baibuli: Ekitundu kino kati kya kutwalanga eddakiika kkumi kisobozese abawuliriza okubaako bye boogera ku bibadde mu kusoma kwa Baibuli okwa wiiki eyo. Abo abaweereddwa ekitundu kino balina obutasukka biseera ebibaweereddwa. Kijja kubangawo buli wiiki, nga mw’otwalidde ne wiiki ebaamu okwejjukanya. Bw’oba osoma essuula ezirina okusomebwa mu wiiki, noonya ensonga ezinaakuyamba mu kusoma kw’amaka, mu buweereza bwo, oba mu bulamu bwo obwa bulijjo. Ngeri ki eza Yakuwa ezayoleseddwa mu ngeri gye yakolaganamu n’abantu era n’amawanga? Kiki kye wayize ekyanywezezza okukkiriza kwo era ne kikwongera okusiima Yakuwa? Oli wa ddembe okwogera ku ssuula yonna ebeera esomebwa mu wiiki eyo, ka kibeere ng’ensonga gy’oyogerako eva mu nnyiriri ezigenda okusomebwa mu Mboozi 2, okuva bwe kiri nti ow’oluganda anaasomanga ekitundu kino bw’atajjanga kunnyonnyola by’anaabanga asomye.
7 Emboozi 2: Emboozi y’abayizi esooka buli wiiki ejja kubeeranga kusoma mu lujjudde. Okusoma kwonna ng’oggyeko okwa wiiki esembayo mu mwezi, kujja kuvanga mu kusoma kwa Baibuli okwa buli wiiki. Okusoma okwa wiiki esembayo mu mwezi kujja kuvanga mu Omunaala gw’Omukuumi. Omuyizi alina kusoma busomi ebimuweereddwa awatali nnyanjula wadde okuwumbawumbako. Mu ngeri eyo, ajja kusobolanga okuteeka essira ku ngeri gy’asomamu.—1 Tim. 4:13.
8 Emboozi 3 ne 4: Emboozi ezimu zirina bingi ebijuliziddwa okuva mu katabo Reasoning okusinga endala, kyokka endala mitwe gyokka gye giweereddwa. Abo abaweereddwa emboozi ezirina ebijuliziddwa ebitono oba emitwe gyokka, balina okunoonyereza mu bitabo byaffe eby’Ekikristaayo. Kino kiyinza okwanguyiza bannyinaffe okutuukanya ebyo bye boogera n’eby’abo ababayambako.
9 Embeera Eziweerwamu Emboozi: Nga bwe kiragibwa ku lupapula 45 mu kitabo Ministry School, omulabirizi w’essomero ayinza okulondera abayizi embeera eziweebwamu emboozi. Bw’aba tabalondedde, bannyinaffe bayinza okwerondera okuva ku lukalala oluli ku lupapula 82. Mwannyinaffe singa awa emboozi emu buli luvannyuma lwa myezi ebiri, kijja kumutwalira emyaka etaano okumalayo embeera zonna 30 eziweebwamu emboozi. Mwannyinaffe bw’alondawo embeera 30, kwe kugamba, “Embeera endala yonna etuukana n’ekitundu kyo,” alina okuwandiika embeera eyo wansi w’akapapula ke (S-89) oba emabega waako. Omulabirizi w’essomero ajja kuwandiikanga ennaku z’omwezi omuyizi z’aweereddeko emboozi ku lupapula 82 mu kitabo ky’omuyizi oyo okuliraana n’embeera gy’awereddemu emboozi. Kino ayinza okukikola mu kiseera kye kimu ky’awandiikira ku foomu okuwabulibwa omuyizi oyo.
10 Foomu Okwabulibwa: Foomu yo kw’owabulibwa eri mu kitabo kyo. Eri ku mpapula 79-81. N’olwekyo, kijja kukwetaagisa okuwangayo ekitabo kyo eri omulabirizi w’essomero buli luvannyuma lw’okuwa emboozi. Omulabirizi w’essomero alina okuwandiika n’okukuuma olukalala lw’ensonga abayizi ze baba bakozeeko.
11 Okwejjukanya: Okwejjukanya kw’Essomero ly’Omulimu Gwa Katonda tekujja kubanga mu buwandiike. Kujja kubangawo buli luvannyuma lwa mwezi ebiri era kujja kutwalanga eddakiika 30. Ebibuuzo eby’okwejjukanya bijja kweyongera okufulumiranga mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Okwejjukanya bwe kutuukira mu wiiki omulabirizi w’ekitundu w’akyalira, emboozi ezandiweereddwa mu wiiki eddako zirina kuweebwa wiiki emu nga bukyali ate okwejjukanya ne kubaawo mu wiiki eddirira.
12 Ebisenge Ebirala: Mu bibiina omuli abayizi abasukka mu 50, abakadde bayinza okusalawo okukozesa ebisenge ebirala. “Mu bisenge bino, emboozi zonna ennya ziyinza okuweebwa oba ey’okusatu n’ey’okuna zokka.” Ministry School, lup. 285) Okuwa emboozi ey’okusatu n’ey’okuna zokka mu bisenge ebirala kikolebwa mu bibiina omuli bannyinaffe abangi kyokka nga baganda baffe abayinza okukozesebwa mu kusoma batono. Abakadde balina okulonda ab’oluganda abalina ebisaanyizo okukubiriza ebibiina bino.
13 Omuwabuzi Omuyambi: Nga bwe kiragiddwa mu nteekateeka y’Essomero ly’Omulimu Gwa Katonda, omuwabuzi omuyambi alina okulondebwa akakiiko k’abakadde okusobola okuwabula mu kyama abakadde n’abaweereza abawa emboozi esooka n’ebikulu ebiba mu kusoma kwa Baibuli. Omukadde olondeddwa okukola omulimu guno alina okuba n’obumanyirivu era ng’okuwabula kwe kujja kussibwamu ekitiibwa abakadde abalala. Okuwabula kwe kulina okuba nga kuzimba, ng’asiima engeri ennungi gye boogeramu ne gye bayigirizaamu era ng’ayogera ne ku nsonga emu oba bbiri ezirina okulongoosebwamu. Tekyetaagisa kuwabula buli kiseera wa luganda atera ennyo okuwa emboozi. Kyokka, ow’oluganda eweereddwa obuvunaanyizibwa bw’okuwabula alina okukozesa amagezi era n’okutegeera nti n’ab’oluganda abawa emboozi ya bonna bakyayinza okuyambibwa okweyongera okukulaakulana.—1 Tim. 4:15, NW.
14 By’Alina Okuwuliriza: Biki ebiyinza okuyamba omuwabuzi okwekenneenya emboozi? Akasanduuko ak’okusatu mu ssuula ezisinga obungi ku ezo 53 eziri mu kitabo Ministry School kalimu mu bufunze ebyo omuwabuzi by’alina okuwuliriza. Omulabirizi w’essomero alina n’okussaayo omwoyo ku magezi agamuweereddwa mu kitabo aganaamuyamba okwekenneenya mu bwangu obanga emboozi eweereddwa bulungi. Ng’ekyokulabirako, weetegereze olukalala lw’ebibuuzo oluli ku lupapula 55 n’ebirowoozo ebiri mu katundu akasembayo ku lupapula 163.
15 Jjuza mu Mabanga: Ng’oggyeko okuba nti kirina amabanga amanene ku mabbali ga buli lupapula, ekitabo Ministry School era kiteekeddwamu amabanga mangi okukuyamba okubaako ne by’owandiika nga weesomesa oba ng’oli mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. (Laba empapula 77, 92, 165, 243, 246, ne 250.) Kakasa nti buli wiiki ojja n’ekitabo kyo. Goberera mu mboozi esooka. Leka ekitabo kyo nga kibikkule okutuusa ng’essomero liwedde. Weetegereze amagezi omulabirizi w’essomero gaawa. Ssaayo omwoyo ku ngeri z’okuyigiriza, ebibuuzo, ebyokulabirako, ebifaananyi, n’okugerageranya ebikozesebwa omwogezi. Bw’onobaako ne by’owandiika ojja kusobola okujjukira n’okuteeka mu nkola ensonga nnyingi ennungi z’oyize mu ssomero.
16 Yesu Kristo yakimanya nti okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda ye nkizo esingayo eyinza okuweebwa omuntu. Gwe gwali omulimu gwe omukulu. (Mak. 1:38) Yagamba: “Kiŋŋwanidde okubuulira enjiri ey’obwakabaka bwa Katonda ne mu bibuga ebirala; kubanga kye kyantumya.” (Luk. 4:43) Ng’abakkiriza okuyitibwa kwe, naffe tulina okunyiikira okubuulira amawulire amalungi, era ne tufuba buli kiseera okulongoosa “ssaddaaka [yaffe] ey’ettendo.” (Beb. 13:15) Okusobola okutuukiriza ekiruubirirwa ekyo, ka tumalirire okwenyigiranga mu Ssomero ly’Omulimu Gwa Katonda, erinaatusobozesa okukola omulimu ogusingayo obukulu mu bulamu.