Essomero ly’Omulimu gwa Katonda Erya 2015 Lijja Kutuyamba Okulongoosa mu Ngeri Gye Tuyigirizaamu
1 Dawudi, omuwandiisi wa zabbuli yawandiika nti: “Ebigambo eby’omu kamwa kange n’okulowooza okw’omu mutima gwange bisiimibwe mu maaso go, Ai Mukama, olwazi lwange, era omununuzi wange.” (Zab. 19:14) Naffe twagala ebigambo byaffe bibe nga bisanyusa Yakuwa, kubanga tugitwala nga nkizo ya maanyi okwogera ku mazima mu kibiina ne mu buweereza bwaffe. Essomero ly’Omulimu gwa Katonda lye limu ku bintu Yakuwa by’akozesa okututendeka tusobole okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe. Okutendekebwa kuno kubaawo buli wiiki mu bibiina ebisukka mu 111,000 okwetooloola ensi yonna. Liyambye baganda baffe ne bannyinaffe aba buli ngeri okufuuka ababuulizi abalungi, n’okuyigiriza n’obuvumu era mu ngeri etuuka ku mutima.—Bik. 19:8; Bak. 4:6.
2 Ebinaaba mu programu y’essomero lino erya 2015 bijja kuva mu kitundu ekirina omutwe “Ebimu ku Bye Tuyiga mu Kigambo kya Katonda” (An Introduction to God’s Word), ne “Awannyonnyolerwa Amakulu g’Ebigambo Ebimu” (Glossary of Bible Terms) ebiri mu Bayibuli ya New World Translation ey’Olungereza eya 2013. Ebirala bijja kuva mu kitundu ekirina omutwe “Eby’Okukubaganyaako Ebirowoozo mu Baibuli” ekiri mu Bayibuli ey’Enkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani (lup. 554-575) [td]. Ate era ebiseera eby’okuweeramu Emboozi 1 n’okunokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Bayibuli bikyusiddwamu. Kati ka tulabe enkyukakyuka zino awamu n’obulagirizi obukwata ku kuwa emboozi.
3 Okunokolayo Ebimu ku Bibadde mu Kusoma Bayibuli: Ab’oluganda abanaaweebwanga ekitundu kino bajja kukozesanga eddakiika bbiri okwogera ku nsonga emu okuva mu kusoma Bayibuli okwa wiiki. Bwe baneeteekateekanga obulungi bajja kusobola okwogera ku nsonga emu eganyula abawuliriza ate nga tebasussizza mu budde. Oluvannyuma, mu ddakiika mukaaga abawuliriza bajja kukozesa obutikitiki 30 oba obutawera okwogera ku ebyo bye banaabanga bayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki. Kyetaagisa okutegeka obulungi n’okwefuga okusobola okukozesa butikitiki 30 bwokka, naye ekyo kya muganyulo nnyo kubanga kisobozesa abalala okwogera ku ekyo kye baba baayize mu kusoma Bayibuli.
4 Emboozi 1: Emboozi eno kati ejja kubanga ya ddakiika ssatu oba obutawera. Abo abanaaweebwanga emboozi eno basaanidde okwegezaamu nga basoma mu ddoboozi eriwulikika, nga bagoberera obubonero, era nga baatula bulungi ebigambo basobole okuggyayo amakulu g’ebyo bye banaaba basoma. Abantu ba Yakuwa bonna basaanidde okufuba okusoma obulungi, kubanga okusoma kukulu nnyo mu kusinza kwaffe. Kitusanyusa nnyo okulaba ng’abaana baffe bangi basoma bulungi, era abazadde mwebazibwa nnyo olw’okufuba okuyigiriza abaana okusoma obulungi.
5 Emboozi 2: Emboozi eno ejja kuba ya ddakiika ttaano era ya kuweebwanga mwannyinaffe. Asaanidde okukulaakulanya omutwe ogumuweereddwa. Emboozi bw’eba yeesigamiziddwa ku ebyo ebiri mu Bayibuli ya New World Translation eya 2013, asaanidde okugituukaganya n’embeera esobola okubaawo mu kitundu kye mubuuliramu. Emboozi bw’eba yeesigamiziddwa ku kitundu ekirina omutwe, “Eby’Okukukubaganyaako Ebirowoozo mu Baibuli” [td], ekiri mu Nkyusa ey’Ensi Empya ey’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani, anaagiwa asaanidde okwekenneenya ebimuweereddwa n’okulonda ebyawandiikibwa ebisinga okuggyayo ensonga enkulu. Asobola n’okukozesa ebyawandiikibwa ebirala ebiwagira ensonga eri mu mutwe ogumuweereddwa. Omulabirizi w’essomero ajja kumulondera oyo anaamuyambako.
6 Emboozi 3: Emboozi eno ejja kuba ya ddakiika ttaano era eyinza okuweebwa ow’oluganda oba mwannyinaffe. Bw’eweebwa mwannyinaffe, asaanidde okugoberera obulagirizi obukwata ku Mboozi 2. Bw’eweebwa ow’oluganda, asaanidde kwogera butereevu eri ababa abawuliriza. Oyo yenna anaagiwa asaanidde okukulaakulanya omutwe ogumuweereddwa, okulonda ebyawandiikibwa ebiggyayo ensonga enkulu, n’okulaga abawuliriza eby’okuyiga ebirimu.
7 Engeri Empya ab’Oluganda Gye Banaawangamu Emboozi 3: Emboozi eno bw’eba nga yeesigamiziddwa ku ebyo ebiri mu Bayibuli ya New World Translation eya 2013, ow’oluganda anaaba agiweereddwa asaanidde okugiwa ng’ali ng’akubiriza okusinza kw’amaka, oba ng’alaga ekyokulabirako ekiyinza okukozesebwa mu kubuulira. Omulabirizi w’essomero y’ajja okumulondera oyo anaamuyambako n’embeera mwe banaagiweera. Oyo aba alondeddwa okumuyambako asaanidde okuba omu ku b’omu maka ge oba ow’oluganda omulala mu kibiina. Asobola n’okukozesa ebyawandiikibwa ebirala ebikwatagana n’omutwe gw’emboozi ye. Emirundi egimu, omukadde mu kibiina asobola okuweebwa emboozi eno. Omukadde ayinza okwerondera anaamuyambako n’embeera mw’anaagiweera. Ab’oluganda kijja kubazzaamu amaanyi bwe banaalaba engeri omukadde gy’ayigirizaamu ng’ali n’ab’omu maka ge oba n’ow’oluganda omulala.
Weeyongere okukulaakulana ng’okkiriza okuwabulwa era ng’okukolerako
8 Okuwabula: Oluvannyuma lwa buli mboozi, oyo akubiriza essomero ajja kukozesanga eddakiika bbiri okwogera ku birungi ebibadde mu mboozi eyo n’okuwabula mu ngeri ey’amagezi, ng’akozesa ebyo ebiri mu kitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Bw’aba ayanjula emboozi eddako, tasaanidde kwogera ssomo oyo agenda okuwa emboozi ly’akolako. Oluvannyuma lwa buli mboozi, asaanidde okusiima mu bwesimbu oyo aba agiwadde, okwogera essomo ly’abadde akolako, okulaga ensonga lwaki omuyizi akoze bulungi ku ssomo eryo, oba okutegeeza omuyizi we yeetaaga okulongoosaamu mu ssomo eryo.
9 Foomu okuwabulirwa eri mu kitabo Ssomero ly’Omulimu, ku lupapula 79 okutuuka ku lupapula 81. Ng’olukuŋŋaana luwedde era nga bali bokka n’omuyizi, akubiriza essomero ajja kubuuza omuyizi obanga yakoze eky’okukolako ekiri mu ssomo eryamuweereddwa, oluvannyuma abeeko by’awandiika mu kitabo ky’omuyizi. Omuyizi asobola okusiimibwa n’okuweebwa amagezi amalala oluvannyuma lw’enkuŋŋaana oba mu kiseera ekirala. Buli muyizi aba awabuliddwa asaanidde okukitwala ng’akakisa ak’okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo.—1 Tim. 4:15.
10 Singa omuyizi asussa mu biseera ebimuweereddwa, akubiriza essomero oba oyo amuyambako alina okubaako ky’akolawo okumulaga nti obudde buweddeyo. Omuyizi asaanidde okumalayo sentensi gy’aba ayogera n’alyoka ava ku pulatifoomu.—Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 282, kat. 4.
11 Abo bonna abatuukiriza ebisaanyizo, bakubirizibwa okuyingira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. (Laba ekitabo Ssomero ly’Omulimu, lup. 282, kat. 6.) Okutendekebwa abantu ba Yakuwa kwe bafuna mu ssomero lino kubayambye okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka n’obuvumu, n’okwagala, era mu ngeri eweesa ekitiibwa. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa kimusanyusa nnyo okutenderezebwa abo abaganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda!—Zab. 148:12, 13; Is. 50:4.