Ebirina Okugobererwa Abalabirizi Abakubiriza Essomero
MU BULI kibiina, wabaawo omukadde alondebwa okukubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Bw’oba oweereddwa obuvunaanyizibwa buno, faayo ku buli muyizi asobole okukulaakulana. Ekyo kijja kusobozesa ekigendererwa ky’essomero okutuukirizibwa mu kibiina kyammwe.
Obuvunaanyizibwa bwo obukulu kwe kukubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda buli wiiki mu kibiina kyo. Kijjukire nti, ng’oggyeko abayizi abalina okuwa emboozi era wabaawo n’abalala abawuliriza. Kubiriza essomero mu ngeri eneesobozesa bonna abaliwo mu lukuŋŋaana okuyiga ebikwata ku nsonga eziri ku lupapula 5 okutuuka ku 8 ez’ekitabo kino.
Faayo ku bayizi bonna, kwe kugamba abo abalina ebitundu eby’okusoma obusomi, abawa emboozi ey’okukubaganya ebirowoozo n’omuntu omulala oba abo aboogera obutereevu eri ekibiina. Bayambe okutegeera nti omuntu okuwa emboozi aba tatuukiriza butuukiriza luwalo, naye eba nkizo ejja okumuyamba okukulaakulana mu ngeri gy’aweerezaamu Yakuwa. Kya lwatu, ekintu ekinaabayamba okukulaakulana, kwe kuba abanyiikivu. Kyokka era kikulu okubafaako kinnoomu, okubayamba okutegeera omugaso oguli mu nsonga ey’okuwabulwako, era n’okubannyonnyola engeri gye basobola okussa mu nkola amagezi agaba gabaweereddwa. Ekinaakuyamba okutuukiriza ekyo kwe kuwuliriza obulungi nga buli muyizi awa emboozi.
Kakasa nti essomero olitandika era n’olifundikira mu budde. Ssaawo ekyokulabirako ekirungi nga tosussa mu biseera ebikuweereddwa. Singa omuyizi asussa mu biseera ebimuweereddwa, gwe oba omubeezi wo alina okubaako ky’akolawo okumulaga nti obudde buweddeyo. Omuyizi asaanidde okumalayo sentensi gy’aba ayogera n’alyoka ava ku pulatifoomu. Singa wabaawo omuyizi asussa mu biseera, funzafunza by’oyogera, oluvannyuma lw’olukuŋŋaana oyogereko naye.
Osaanidde okukubiriza essomero buli lw’obeerawo. Lw’oba tosobodde kubeerawo, omukadde omulala eyalondebwa akakiiko k’abakadde y’alina okulikubiriza. Bw’oba weetaaga ow’oluganda omulala okukuyambako okukola enteekateeka y’essomero, okuwandiika n’okugaba obupapula obulaga omuntu anaawa emboozi, oba okufuna bannakyewa, omuweereza alondeddwa akakiiko k’abakadde ayinza okukuyamba.
Okuyingiza Abayizi mu Ssomero. Kubiriza ababuulizi bonna okwewandiisa mu ssomero. N’abalala ababeerawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina obutayosa bayinza okwewandiisa bwe baba nga bakkiriza enjigiriza za Baibuli era nga n’obulamu bwabwe butuukagana n’emisingi gy’Ekikristaayo. Singa wabaawo ayagala okwewandiisa mu ssomero, mwebaze. Bw’aba nga tannafuuka mubuulizi, gwe ng’omulabirizi akubiriza essomero, olina okukubaganya naye ebirowoozo ku bisaanyizo by’alina okutuukiriza okusobola okwewandiisa mu ssomero. Kiba kirungi okukikola nga n’oyo amusomesa waali (oba nga muzadde we omukkiriza waali). Ebisaanyizo bino bye bimu n’ebyo omuntu ayagala okufuuka omubuulizi atali mubatize by’alina okutuukiriza. Bisangibwa ku mpapula 97 okutuuka ku 99 mu katabo Organized to Accomplish Our Ministry. Kakasa nti olina olukalala lw’abo bonna abali mu ssomero.
Engeri y’Okukozesaamu Foomu ey’Okuwabulirwako. Foomu ewabulirwako eri mu kitabo ky’omuyizi, ku mpapula 79 okutuuka ku 81. Nga bwe kiragibwa mu langi ez’enjawulo, ensonga ez’okuwabulirwako okuva ku 1 okutuuka ku 17 ziyinza okuweebwa omuyizi agenda okuwa emboozi ey’okusoma obusomi. Abo abawa emboozi nga bakubaganya ebirowoozo n’omuntu omulala, bayinza okuweebwa ensonga yonna ey’okuwabulirwako okuggyako 7, 52 ne 53. Ensonga zonna zisobola okuweebwa abayizi okuggyako 7, 18 ne 30.
Singa omuyizi aweebwa ensonga ey’okukolako, omulabirizi w’essomero alina okuwandiika n’ekkalaamu enkalu ennaku z’omwezi mu kabokisi akali wansi w’ebigambo “Olunaku lw’Ogiweebwa” akaliraanye ensonga eyo ey’okukolako mu kitabo ky’omuyizi. Omuyizi bw’amala okuwa emboozi ye, mubuuze nga muli mwekka obanga yakoze ku by’okukola ebiri ku nkomerero y’ensonga eyo gy’abadde akolako. Bw’aba nga yakikoze, teeka akabonero akalaga nti yakikoze mu kabokisi akali ku foomu. Bw’olaba nga kimwetaagisa okuddamu okukola ku nsonga eyo, tobaako ky’owandiika mu kabokisi akali wansi w’ebigambo “Olunaku lw’Ogimaliriza.” Kalina kuwandiikibwamu omuyizi ng’atuusizza okugenda ku nsonga eddala. Ate era, ku lupapula 82, ku luuyi olwa kkono olw’embeera ez’okuweeramu mboozi, walina okuwandiikibwawo ennaku z’omwezi omuyizi lw’aba amaze okuwa emboozi ye. Ku foomu ewabulirwako ne ku lupapula okuli olukalala lw’embeera ez’okuweeramu emboozi waliwo ebifo bibiri ebiyinza okukozesebwa. Abayizi balina okubeera n’ebitabo byabwe buli lwe bajja mu ssomero.
Omuyizi tomuwa nsonga za kukolako zisukka mu emu omulundi gumu. Kyandibadde kirungi omuyizi n’akola ku nsonga nga bwe zigenda ziddiriŋŋana. Kyokka, singa abayizi abamu baba n’obusobozi obw’enjawulo, oyinza okubakubiriza okwesomesa ensonga ezimu era n’okuteeka mu nkola amagezi agaweereddwa. Ate ezo z’olaba nga ze zijja okusinga okubayamba okufuuka aboogezi era abasomesa abalungi, z’oba obawa okukolako.
Omuyizi ne bw’aba ng’abadde mu ssomero okumala emyaka mingi, ajja kuganyulwa nnyo singa asoma era n’ateeka mu nkola by’ayize mu buli ssomo. Okusobola okuyamba abayizi abalina obwetaavu obw’enjawulo, oyinza okubalonderamu ensonga ezinaabayamba mu kifo ky’okuzibawa nga bwe zigenda ziddiriŋŋana ku foomu ewabulirwako.
Okuwabula. Bw’oba owabula, kozesa emisingi n’ebyokulabirako ebiri mu Baibuli. Abayizi basaanidde okukiraba nti okuwabulwa okubaweebwa n’engeri gye kubaweebwamu, byesigamiziddwa ku misingi egiri mu Kigambo kya Katonda.
Kijjukire nti baganda bo ne bannyoko ‘bakozi banno.’ (2 Kol. 1:24) Okubafaananako, naawe kikwetaagisa okuba omwogezi era omusomesa omulungi. Soma ekitabo Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Fuba okussa mu nkola amagezi agakirimu era obateelewo ekyokulabirako ekirungi.
Nga weeyongera okukola ebyo, kifuule kiruubirirwa kyo okuyamba abayizi okuyiga okusoma obulungi, okwogera obulungi, era n’okubeera abasomesa abalungi. Okusobola okukola ekyo, fuba okuwa abayizi obuyambi bwonna bwe beetaaga basobole okutegeera engeri ennungi ez’okwogeramu, okutegeera lwaki za mugaso era n’engeri gye basobola okuziyiga. Ekitabo kino kitegekeddwa mu ngeri ejja okukuyamba okukola kino. Kyokka, waliwo ebirala by’olina okukola ng’oggyeko okusoma obusomi ebikirimu. Weetegereze ensonga ezikirimu era n’engeri gye ziyinza okussibwa mu nkola.
Omuyizi bw’aba ng’akoze bulungi ensonga gy’aweereddwa okukolako, mwebaze. Mutegeeze ensonga lwaki agikoze bulungi era na lwaki ekyo ky’akoze kikulu. Bwe wabaawo ekintu ekirala ky’alina okulongoosaamu , kimutegeeze. Mutegeeze engeri gy’ayinza okugikolamu era ekyo kikole mu ngeri ey’ekisa.
Kitegeere nti bangi bazibuwalirwa okwogera mu lujjudde. Singa omuntu awulira nti takoze bulungi, ayinza okutya okuddamu okuwa emboozi. Koppa Yesu, ataamenya ‘lumuli lwatifu’ wadde okuzikiza ‘enfuuzi ezinyooka.’ (Mat. 12:20) Faayo ku nneewulira y’omuyizi. Bw’oba ng’owabula, lowooza ku kiseera omuyizi ky’amaze ng’ali mu ssomero. Bw’obasiima mu bwesimbu kijja kubakubiriza okukola kyonna kye basobola.
Buli muyizi muyise mu ngeri emuweesa ekitiibwa. Abaruumi 12:10 lugamba: ‘Gwe oba osooka okuwa abalala ekitiibwa.’ Okwo nga kubuulirira kulungi nnyo eri oyo awabula mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda! Omuyizi bw’aba nga akusinga obukulu, goberera obulagirizi obuli mu 1 Timoseewo 5:1, 2. Wadde ng’omuntu akusinga obukulu, singa omulaga w’alina okulongoosaamu mu ngeri ey’ekisa ajja kusiima nnyo okubuulirira okwo.—Nge. 25:11.
Bw’oba owabula omuyizi, mulage ekigendererwa ky’okutendekebwa. Ekigendererwa ekyo si kwe kukola obulungi ensonga ekuweereddwa oweebwe endala. Era ekigendererwa si kwe kufuuka omwogezi era omusomesa awuniikiriza abalala. (Nge. 25:27) Ekigendererwa kyaffe kwe kukozesa ekirabo kyaffe eky’okwogera okutendereza Yakuwa era n’okuyamba abalala okumumanya n’okumwagala. Tutendekebwa tusobole okutuukiriza obulungi omulimu ogwogerwako mu Matayo 24:14 ne 28:19, 20. Ab’oluganda ababatize abalina ebisaanyizo bayinza okuweebwa enkizo ey’okulabirira “ekisibo kya Katonda” nga bayitira mu mboozi ze bawa mu kibiina.—1 Peet. 5:2, 3.
Saba abayizi basome ensonga gye banaakolako omulundi oguddako amangu ddala nga bakategeezebwa lwe banaawa emboozi. Bakubirize okussa mu nkola bye bayiga nga banyumya n’abalala, nga bateekateeka emboozi ez’okuwa mu ssomero era ne bwe baba nga baddamu ebibuuzo mu nkuŋŋaana ne mu buweereza bw’ennimiro.
Okugabira Abayizi Emboozi ze Banaawa. Kino kyandikoleddwa ng’ebulayo wiiki ezitakka wansi wa satu omuyizi awe emboozi ye. Bwe kiba kisoboka, yandiweereddwa akapapula akamulaga emboozi gy’anaawa.
Emboozi ezikwata ku kuyigiriza abali mu kibiina zisaanidde kuweebwa bakadde, naddala abo abajja okuziwa obulungi era n’abaweereza abayigiriza obulungi.
Okusobola okumanya emboozi z’olina okugabira baganda baffe oba bannyinaffe, goberera obulagirizi obuweereddwa ku lupapula okuli enteekateeka y’essomero. Bannyinaffe bwe baba nga bangi okusinga baganda baffe, kakasa nti baganda baffe nabo obagabira emboozi ezitali za kusoma busomi.
Lowooza ku mbeera ya buli omu bw’oba ng’ogaba emboozi era weebuuze. Kyandibadde kirungi okugabira omukadde oba omuweereza emboozi ey’okuwa mu ssomero ku lunaku lw’alina okukubiriza ekitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza oba ng’alina okuwa emboozi ya bonna mu wiiki y’emu eyo? Kisaanira okugabira mwannyinaffe emboozi ku lunaku lwe lumu n’omwana we ate nga mwannyinaffe kimwetaagisa okuyamba ku mwana oyo? Emboozi eno esaanira okuweebwa omwana omuto oba omuyizi atannabatizibwa? Kakasa nti emboozi gy’owa omuyizi etuukagana n’ensonga gy’agenda okukolako.
Emirundi egisinga obungi, bannyinaffe bajja kwerondera embeera ez’okuweeramu emboozi nga basinziira ku bulagirizi obuli ku mpapula 78 ne 82. Omuyizi asaanidde okuweebwa omuyambi omu, naye bwe kiba kyetaagisa ayinza n’okwongerako omulala. Singa omuyizi ayagala omuntu anaamuyambako abe ng’atuukagana n’embeera gy’ayagala okuweeramu emboozi, wandibadde ofaayo ku kusaba kwe.
Essomero Eribeera mu Bisenge Ebirala. Singa mu ssomero mubaamu abayizi abasukka mu 50, abayizi abamu bayinza okuweera emboozi zaabwe mu bisenge ebirala. Okusinziira ku mbeera ebaawo mu kibiina kyammwe, kiyinza okusalibwawo emboozi zonna eziba mu ssomero ne ziweebwa mu bisenge ebirala oba bbiri zokka ezisembayo.
Essomero eribeera mu bisenge ebirala lirina okukubirizibwa ow’oluganda alina ebisaanyizo, okusingira ddala omukadde. Singa tabaawo, omuweereza alina obusobozi ayinza okulikubiriza. Akakiiko k’abakadde ke kalina okumulonda. Kolera wamu n’abakubiriza essomero mu bisenge ebirala osobole okumanya ensonga omuyizi gy’anaakolako omulundi omulala.
Okuyamba Abo Abeetaaga Okuyiga Okusoma. Singa akakiiko k’abakadde kakizuula nti mu kibiina mulimu abantu bangi abeetaaga okuyigirizibwa okusoma olulimi olukozesebwa mu kibiina kyabwe, oyinza okukola enteekateeka okuyiga kuno ne kubaawo mu kiseera kye kimu n’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Bandiyigiriziddwa okusoma n’okuwandiika oba okulongoosa mu ngeri gye basomamu.
Tekiri nti balina kuyigirizibwa mu kiseera ekyo kyokka ng’abayizi bawa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Okusobola okubawa obuyambi obumala, kiyinza okwetaagisa ekiseera ekisinga ku ekyo eky’essomero. Abakadde b’omu kibiina bayinza okusalawo ekyetaagibwa era n’ekiseera lwe bandiyigiriziddwa. Okusinziira ku bwetaavu obubaawo, enteekateeka ziyinza okukolebwa ne bayigirizibwa wamu oba buli omu okusomesebwa ku lulwe.
Kino kyetaagisa omusomesa alina ebisaanyizo. Bwe kiba kisoboka, obuvunaanyizibwa buno bwandiweereddwa ow’oluganda amanyi okusoma obulungi era ng’ategeera bulungi olulimi olwo. Singa ow’oluganda alina obusobozi ng’obwo tabaawo, abakadde bayinza okusaba mwannyinaffe assaawo ekyokulabirako ekirungi n’abayigiriza. Alina okusiba ekitambaala ku mutwe ng’ayigiriza mu ssomero eryo.—1 Kol. 11:3-10; 1 Tim. 2:11, 12.
Akatabo Apply Yourself to Reading and Writing weekali mu nnimi nnyingi. Kaakubibwa okuyamba abantu okuyiga okusoma. Ebitabo ebirala bisobola okukozesebwa okusinziira ku busobozi bw’abayizi. Abayizi bwe baba bakazizza okusoma, bayinza okwewandiisa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
Ggwe ng’akubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, olina obuvunaanyizibwa bwa maanyi okuyamba ekibiina okuganyulwa. Teekateeka bulungi, era ogoberere okubuulirira okuli mu Abaruumi 12:6-8, osobole okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa obukuweereddwa era obutwale ng’ekintu eky’omuwendo ekikukwasiddwa Katonda.