Engeri Essomero ly’Omulimu gwa Katonda gye Lituganyulamu
1 Abantu ba Yakuwa balina enkizo ey’okuyigirizibwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. (Is. 54:13; Yok. 6:45) Gye tukoma okufuba, gye tukoma n’okuganyulwa mu ssomero lino. Osobola okulaba engeri gy’oganyuddwamu mu by’omwoyo mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda?
2 Ebyogeddwa Ebirungi: Abakubiriza essomero bangi bakyetegerezza nti okuyiga engeri ennungi ez’okwogeramu kiyambye ekibiina kyabwe okweyongera okukola obulungi mu buweereza bw’ennimiro. Okugatta ku ekyo, omu ku bakubiriza essomero yakizuula nti olw’okuba abawuliriza nabo babaako bye baddamu mu kitundu eky’okunnokolayo ebimu ku ebyo ebibadde mu kusoma Baibuli okwa wiiki, bangi ku bo beeyongedde okugoberera enteekateeka ey’okusoma Baibuli. Ku bikwata ku mboozi 2, ab’oluganda bangi boogedde ku miganyulo egiri mu kusoma obusomi awatali kutegeka nnyanjula oba engeri gye banaafundikiramu emboozi. Abo abaweebwa emboozi eno, kati beemalira ku kulongoosa mu ngeri gye basomamu.—1 Tim. 4:13.
3 Bonna Basobola Okuganyulwa: Okubaako ky’oddamu mu nkuŋŋaana kireeta essanyu. (Nge. 15:23) Okufuna ebibuuzo eby’okwejjukanya nga bukyali kitusobozesa okubitegeka era n’okubiddamu obulungi. Okugatta ku ekyo, okutandika ne Omunaala gw’Omukuumi aka Jjanwali 1, 2004, wabaddewo ekitundu ekifulumira mu magazini eyo nga kinnyonnyola ezimu ku nsonga enkulu eziri mu bitabo bya Baibuli, ng’ensonga ezo zikwatagana n’essuula ze tuba tulina okusoma mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Ebitundu ebyo biyambye bangi okuddamu ebintu ebizimba mu kitundu ky’esomero eky’okunokolayo ebimu ku bibadde mu kusoma Baibuli okwa wiiki.
4 Buli ali mu ssomero alina enkizo ey’okulitegeka era n’okuwa emboozi. Ffenna tusobola okuganyulwa mu bigambo ebizimba omulabirizi akubiriza essomero by’ayogera ng’ali ku platifomu. Abayizi kinnoomu beeyongera okuganyulwa mu kuwabulwa okubaweebwa akubiriza essomero oluvannyuma lw’olukuŋŋaana. Eby’okukola ebikwata ku ngeri ennungi ez’okwogeramu ebiba ku nkomerero ya buli ssomo mu kitabo Benefit From Theocratic Ministry School Education, nabyo byongera okutuganyula.
5 Bw’obaako n’ensonga ez’omugaso ezeesigamiziddwa ku Baibuli z’oyize mu ssomero lino, ziwandiike mu kopi y’ekitabo kyo Ministry School. Fumiitiriza ku ebyo by’oyize, era n’engeri essomero lino gye likuyambyemu okukulaakulana mu by’omwoyo.