Yakuwa Atutendeka Okukola Omulimu Guno
1. Yakuwa bw’awa abantu omulimu, kiki ekirala ky’akola?
1 Yakuwa bw’awa abantu omulimu, abawa n’obuyambi bwe beetaaga okugukola. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa bwe yagamba Nuuwa okuzimba eryato, ekintu Nuuwa kye yali takolangako, yamubuulira n’engeri y’okulizimbamu. (Lub. 6:14-16) Musa eyali omusumba omuwombeefu bwe yatumibwa eri abakadde ba Isiraeri n’eri Falaawo, Yakuwa yamukakasa nti: “Ndibeera wamu n’akamwa ko, ndikuyigiriza by’olyogera.” (Kuv. 4:12) Bwe kituuka ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira amawulire amalungi, Yakuwa tatusuuliridde. Atutendeka okukola omulimu guno ng’ayitira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda awamu n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Tuyinza tutya okuganyulwa mu kutendekebwa kuno?
2. Tuyinza tutya okuganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda?
2 Essomero ly’Omulimu gwa Katonda: Weeteekereteekere ebitundu byonna ebinaaweebwa nga tonnagenda mu buli lukuŋŋaana. Abayizi bwe banaaba bawa emboozi zaabwe, ojja kweyongera okuyiga engeri y’okuyigirizaamu. (Nge. 27:17) Genda mu lukuŋŋaana n’ekitabo kyo ekya Ssomero ly’Omulimu, era okikozese. Akubiriza essomero bw’akijulizaamu buli luvannyuma lw’emboozi y’omuyizi, saza ku nsonga enkulu z’oyagala okukolako, era obeeko by’owandiika mu mabanga agali ku mabbali g’olupapula. Kyokka, engeri esingayo ey’okuganyulwa mu ssomero lino, kwe kulyenyigiramu. Wayingira essomero? Bw’oweebwa emboozi, gitegeke bulungi era kolera ku bulagirizi obukuweebwa. Bw’oba obuulira, kozesa ebyo by’oyize.
3. Kiki ekinaatuyamba okuganyulwa mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza?
3 Olukuŋŋaana lw’Obuweereza: Ekinaatuyamba okujjukira ebyo bye tuyiga mu lukuŋŋaana luno kwe kweteekerateekera ebitundu byonna nga bukyali era n’okuba abeeteefuteefu okuddamu. Bwe tuddamu mu bufunze, kijja kusobozesa n’abalala okubaako ne bye baddamu. Ssaayo omwoyo ku byokulabirako, era by’oyize bikozese mu buweereza bwo. Ebitundu ebisobola okukuyamba mu buweereza ebifulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka bitereke osobole okubikozesa mu biseera eby’omu maaso.
4. Lwaki tusaanidde okukozesa obulungi okutendekebwa kwe tufuna?
4 Okufaananako emirimu egyaweebwa Nuuwa ne Musa, omulimu gwaffe ogw’okubuulira amawulire amalungi mu nsi yonna etuuliddwamu gulimu okusoomooza kungi. (Mat. 24:14) Tusobola okutuuka ku buwanguzi bwe twesiga Yakuwa, Omuyigiriza waffe Omukulu, era bwe tukozesa obulungi okutendekebwa kw’atuwa.—Is. 30:20.