Essomero ly’Omulimu gwa Katonda mu 2002
1 Abantu abasinga obungi okwogera tebakutwala ng’ekintu ekikulu. Kyokka okwogera kirabo okuva eri Yakuwa. Kutusobozesa okuwuliziganya n’abalala, okwoleka endowooza zaffe n’engeri gye tuwulira mu mutima. Ekisingira ddala obukulu, tusobola okutendereza Katonda waffe okuyitira mu kwogera.—Zab. 22:22; 1 Kol. 1:4-7.
2 Abasajja, abakazi, n’abaana batendekebwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda okusobola okulangirira erinnya lye. (Zab. 148: 12, 13) Enteekateeka y’essomero mu mwaka 2002 ezingiramu eby’okuyiga bingi bye tuyinza okuganyulwamu ffe kennyini era n’eby’okukozesa mu nnimiro. Bwe tweteekerateekera essomero era ne tulyenyigiramu, tusobola okwongera ku kumanya kwaffe n’obusobozi bwaffe obw’okuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda.—Zab. 45:1.
3 Soma Baibuli Buli Lunaku: Bwe tubeera ne Baibuli, tusobola okugisoma buli we tufunira akadde. Bangi ku ffe tusobola okufuna akaseera buli lunaku okukola kino. Nga kiba kya muganyulo nnyo bwe tusoma waakiri olupapula lumu buli lunaku, nga kino kye kyetaagisa okusobola okutuukana ne programu y’essomero ey’okusoma Baibuli!—Zab. 1:1-3.
4 Okusoma Baibuli obulungi kuyinza okutuyamba okutuuka ku mitima gy’abatuwuliriza ne kibaviirako okutendereza Yakuwa. Ab’oluganda ababa n’Emboozi 2 mu ssomero, balina okwegezaamu enfunda n’enfunda nga basoma mu ddoboozi eriwulikika. Omulabirizi w’essomero ajja kusiima omuyizi era amuwe amagezi ag’okulongoosa mu kusoma kwe.
5 Kozesa Ekitabo Reasoning: Emboozi ey’okusatu n’ey’okuna zeesigamiziddwa ku kitabo Reasoning. Buli kiseera tufube okweyambisa ekitabo kino mu nnimiro. Bannyinaffe balina okulonda embeera ez’okuweeramu emboozi ezituukana n’ekitundu ekibuulirwamu. Omulabirizi w’essomero alina okussaayo ennyo omwoyo ku ngeri abayizi gye bayigirizaamu era n’engeri gye bakozesaamu Ebyawandiikibwa.
6 Essomero ly’Omulimu gwa Katonda ka lituyambe ffenna okweyongera okukozesa ekirabo ky’okwogera ekyatuweebwa okubuulira amawulire amalungi era n’okutendereza Katonda waffe ow’ekitalo, Yakuwa!—Zab. 34:1; Bef. 6:19.