Essomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase mu 2001
1 Waliwo ensonga nnyingi ez’omu Byawandiikibwa lwaki ffenna tusaanidde okwenyigira mu bujjuvu nga bwe kisoboka mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase.—Nge. 15:23; Mat. 28:19, 20; Bik. 15:32; 1 Tim. 4:12, 13; 2 Tim. 2:2; 1 Peet. 3:15.
2 Enteekateeka y’okusoma Baibuli buli wiiki ebadde kitundu ky’essomero okumala ekiseera kiwanvu. Kyetaagisa okusoma olupapula nga lumu olw’omu Baibuli buli lunaku. Okutandika n’omwaka guno, okusoma Baibuli kutegekeddwa mu buli wiiki ey’okwejjukanya okuli mu buwandiike. Enteekateeka endala ey’okusoma Baibuli eyongerezebwako, eyateekateekebwa okumala emyaka essatu egiyise, emaliriziddwa. Naye bw’oba ng’oyagala okusoma Baibuli okusingawo ku ekyo ekitegekeddwa, oyinza okwekolera enteekateeka eyiyo ey’okusoma.
3 Emboozi 2 etendeka ab’oluganda “okusoma mu lujjudde” Ekigambo kya Katonda. (1 Tim. 4:13, NW) Bw’oba ng’oweereddwa ekitundu eky’okusoma, weegezeemu enfunda n’enfunda ng’osomera waggulu. Oyinza okukozesa entambi za kaseti eza Sosayate okukwatiddwa okusoma kwa Baibuli, bwe ziba nga weeziri, okulongoosa ku ngeri gy’oyatulamu ebigambo, engeri gy’okyusaamu eddoboozi, n’engeri endala ez’okusoma okulungi.
4 Emboozi 3 ne 4 zeesigamiziddwa ku kitabo Reasoning, ekyategekebwa okukozesebwa mu buweereza bw’ennimiro. Bwe kiba nti ebikuweereddwa toyinza kubikolera mu kiseera ekikuweereddwa, londamu ebyo byokka ebinaaganyula ekitundu eky’ekibiina kyammwe. Embeera ey’okuweeramu emboozi esaanira ekitundu kyammwe eyinza okukozesebwa.
5 Fuba nnyo nga bwe kisoboka okutuukiriza by’oba oweereddwa mu ssomero. Waayo ebiseera ebimala okutegeka obulungi, era yogera okuva mu mutima gwo. Ojja kuzzaamu amaanyi ekibiina kyo, era ojja kuganyulwa gwe kennyini bwe wenyigira mu Ssomero ly’Obuweereza bwa Teyokulase mu mwaka 2001 n’omutima gwo gwonna.