Essomero ly’Omulimu gwa Katonda mu 2004
1 Yakuwa asobozesa abantu aba bulijjo okutuukiriza omulimu omukulu ennyo ogw’ensi yonna. Engeri emu gy’akolamu kino kwe kuyitira mu kutendekebwa okubaawo buli wiiki mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Olyenyigiramu mu bujjuvu ng’embeera zo bwe zikusobozesa? Mu Jjanwali enkyukakyuka zijja kukolebwa okuyamba abayizi okuganyulwa mu ngeri esingawo mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
2 Okukyusakyusa Omuwabuzi Omuyambi: Ab’oluganda abawa emboozi esooka n’ebikulu ebiba mu kusoma kwa Baibuli basiima nnyo okuwabula okubaweebwa omuwabuzi omuyambi. Bwe wabaawo abakadde abamala abalina ebisaanyizo, omuwabuzi omuyambi ayinza okukyusibwa buli mwaka. Mu ngeri eno emirimu gigabanyizibwa; naye ekisinga n’obukulu, abakadde n’abaweereza bajja kuganyulwa mu kuwabulwa aboogezi n’abasomesa ab’enjawulo abalina obumanyirivu.
3 Enteekateeka Ekwata ku Kwejjukanya: Singa ekibiina kyammwe kiba n’olukuŋŋaana lw’ekitundu mu wiiki ey’okwejjukanya, awo okwejjukanya (n’enteekateeka endala ez’essomero mu wiiki eyo) bijja kubaawo mu wiiki eddirira olukuŋŋaana lw’ekitundu, ate yo enteekateeka ewanyisiddwa ebeerewo mu lukuŋŋaana lw’ekitundu. Singa okwejjukanya kubaawo mu kiseera ky’olukyala lw’omulabirizi w’ekitundu, emboozi esooka yokka y’erina okuwaanyisibwa. Kyokka lwo oluyimba, emboozi ekwata ku nsonga ey’okwogerako, n’ebikulu okuva mu Baibuli birina okuweebwa ng’enteekateeka bw’eri. Emboozi esooka (eweebwa oluvannyuma lw’emboozi ekwata ku nsonga ey’okwogerako) erina okuggibwa mu nteekateeka ya wiiki eddirira. Ebikulu okuva mu Baibuli bijja kuddirirwa Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olw’eddakiika 30. Luyinza okutegekebwa ne lubaamu ebitundu bisatu nga buli kimu kya ddakiika 10 oba ebitundu bibiri nga buli kimu kya ddakiika 15. (Tewajja kubaawo birango.) Olukuŋŋaana lw’Obuweereza lujja kuddirirwa oluyimba n’emboozi y’omulabirizi w’ekitundu ey’eddakiika 30. Essomero ly’Omulimu gwa Katonda erya wiiki eddirira litandika n’ensonga ey’okwogerako n’ebikulu ebiba mu kusoma kwa Baibuli ng’enteekateeka bw’eba eraga, ate oluvannyuma okwejjukanya ne kubaawo.
4 Kozesa buli kakisa okukulaakulana mu by’omwoyo. Nga weeyongera okuganyulwa mu kuyigiriza okuli mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, ozzaamu amaanyi ekibiina kyo, wenyigira mu kutuukiriza obunnabbi bwa Baibuli, era oleetera ettendo Nnyini bubaka obw’ekitalo bwe tulina okulangirira.—Is. 32:3, 4; Kub. 9:19.