Weeyongere Okukulaakulana
OKOZE ku buli nsonga ey’okuwabulirwako eri mu kitabo kino? Omaze okukola ebintu ebikuweebwa okukola ku nkomerero ya buli ssomo? Okozesa ensonga ezo ng’owa emboozi, k’obe ng’olina ekitundu mu ssomero, mu nkuŋŋaana endala, oba mu buweereza bw’ennimiro?
Weeyongere okuganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. K’obe ng’omaze banga ki ng’owa emboozi, weetaaga okweyongera okukulaakulana.