LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 47 lup. 247-lup. 250 kat. 1
  • Okukozesa Obulungi Ebintu Ebirabwako

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukozesa Obulungi Ebintu Ebirabwako
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebimanyiddwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okukozesa Ebintu Ebirabwako
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okussa Ekitiibwa mu Balala
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Kozesa Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebirabwako era nga Biyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 47 lup. 247-lup. 250 kat. 1

ESSOMO 47

Okukozesa Obulungi Ebintu Ebirabwako

Kiki ky’osaanidde okukola?

Weeyambise ebifaananyi, mmaapu, ebipande oba ebintu ebirala okusobola okunnyonnyola obulungi ensonga z’oyigiriza.

Lwaki Kikulu?

Ebintu ebirabwako biyamba abantu okutegeera obulungi ensonga era n’okugijjukira okusinga ebigambo by’oyogera obwogezi.

LWAKI kiba kirungi okukozesa ebintu ebirabwako ng’oyigiriza? Kubanga biyinza okufuula engeri gy’oyigirizaamu okubeera ey’omuganyulo. Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo baakozesa ebintu ebirabwako nga bayigiriza, era naffe tusobola okubakoppa. Bwe tukozesa ebintu ebirabwako nga tuyigiriza, abantu baganyulwa mu ngeri bbiri, kwe kugamba, nga balaba era nga bawuliriza. Kino kiyinza okuyamba abawuliriza okussaayo omwoyo era ne bye bayiga bibatuuka ku mutima. Oyinza otya okweyambisa ebintu ebirabwako ng’obuulira amawulire amalungi? Osobola otya okukakasa nti obikozesa bulungi?

Engeri Abasomesa Abakugu Gye Baakozesaamu Ebintu Ebirabwako nga Bayigiriza. Yakuwa yakozesa ebintu ebirabwako ebisobola okujjukirwa amangu bwe yali ng’alina ensonga enkulu z’ayigiriza. Mu kiro ekimu yafulumya Ibulayimu ebweru n’amugamba: “Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, bw’onooyinza okuzibala: . . . Ezzadde lyo liriba bwe lityo.” (Lub. 15:5) Wadde ng’ekisuubizo ekyo kyalabika ng’ekitasobola kutuukirira okusinziira ku ndaba ey’obuntu, Ibulayimu kyamukwatako nnyo era n’akkiririza mu Yakuwa. Olulala, Yakuwa yagamba Yeremiya agende eri ennyumba y’omubumbi era n’amulagira okuyingira alabe engeri omubumbi gy’abumbamu. Ng’ekyo kyali kyakulabirako kirungi nnyo ekyalaga nti Omutonzi alina obuyinza ku bantu! (Yer. 18:1-6) Era Yona yandyerabidde atya essomo erikwata ku kulaga ekisa Yakuwa lye yamuyigiriza ng’akozesa ekiryo? (Yona 4:6-11) Ate era Yakuwa yagamba bannabbi be okukozesa ebintu ebirabwako nga babuulira abantu obubaka bwe. (1 Bassek. 11:29-32; Yer. 27:1-8; Ezk. 4:1-17) Engeri eweema ne yeekaalu gye byakolebwamu etuyamba okutegeera ebintu eby’omu ggulu. (Beb. 9:9, 23, 24) Era Katonda yakozesanga okwolesebwa okusobola okutuusa ku bantu obubaka obukulu.​—Ezk. 1:4-28; 8:2-18; Bik. 10:9-16; 16:9, 10; Kub. 1:1.

Yesu yakozesa atya ebintu ebirabwako? Abafalisaayo n’abawagizi ba Kerode bwe baagezaako okumukwasa mu bigambo, Yesu yabasaba eddinaali era n’abalaga ekifaananyi kya Kayisaali ekyagiriko. Oluvannyuma yabagamba nti ebya Kayisaali biweebwe Kayisaali n’ebya Katonda biweebwe Katonda. (Mat. 22:19-21) Okusobola okuyigiriza essomo erikwata ku ngeri y’okuwaamu Katonda ekitiibwa nga tukozesa byonna bye tulina, Yesu yayogera ku nnamwandu omwavu lunkupe eyagenda mu yeekaalu n’awaayo eppeesa ebbiri, ng’ezo zokka ze yalina mu bulamu bwe. (Luk. 21:1-4) Olulala yakozesa omwana omuto okulaga kye kitegeeza okuba abeetoowaze, obuteegwanyiza bukulu. (Mat. 18:2-6) Ate era ye kennyini yateekawo ekyokulabirako eky’obwetoowaze ng’anaaza ebigere by’abayigirizwa be.​—Yok. 13:14.

Engeri y’Okukozesaamu Ebintu Ebirabwako. Obutafaananako Yakuwa, ffe tetusobola kwogera na bantu nga tuyitira mu kwolesebwa. Kyokka, waliwo ebifaananyi bingi ebireetera omuntu okufumiitiriza ebisangibwa mu bitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa. Bikozese okuyamba abantu abaagala okuyiga Baibuli okukuba ekifaananyi ku Lusuku lwa Katonda olwasuubizibwa mu Kigambo kye. Ng’oyigiriza omuntu Baibuli, oyinza okumulaga ekifaananyi ekikwata ku ekyo kye muyigako era n’omusaba akubuulire by’alaba. Weetegereze nti Amosi bwe yaweebwa okwolesebwa okumu, Yakuwa yamubuuza: “Amosi, olaba ki?” (Am. 7:7, 8; 8:1, 2) Mu ngeri y’emu naawe osobola okubuuza ebibuuzo ebifaananako ng’ebyo ng’olaga abantu ebifaananyi ebyakubibwa okutuyamba mu kuyigiriza.

Singa ky’oba obalirira okiwandiika oba n’okozesa ekipande okulaga engeri ebintu ebikulu gye byagenda biddiriŋŋanamu, kijja kuyamba abantu okutegeera obulungi obunnabbi, gamba nga “ebiseera omusanvu” eby’omu Danyeri 4:16 ne “wiiki ensanvu” ez’omu Danyeri 9:24. Enkola ng’eyo yeeyambisibwa mu bitabo byaffe bingi bye tukozesa okuyigiriza.

Bwe muba mukubaganya ebirowoozo ku bintu nga eweema, yeekaalu y’omu Yerusaalemi, n’okwolesebwa kwa Ezeekyeri okukwata ku yeekaalu mu kuyiga kwammwe okwa Baibuli ng’amaka, ebintu ebyo biyinza okutegeerekeka obulungi singa okozesa ebifaananyi oba ekipande. Ebipande ng’ebyo n’ebifaananyi bisangibwa mu kitabo Insight on the Scriptures, ku nkomerero ya New World Translation of the Holy Scriptures​—With References, ne mu magazini ezitali zimu eza Omunaala gw’Omukuumi.

Ng’osoma Baibuli n’ab’omu maka go, kozesa mmaapu. Goberera olugendo lwa Ibulayimu okuva e Uli okutuuka e Kalani n’okukkirira e Beseri. Weetegereze oluguudo Abaisiraeri lwe baakwata nga bava e Misiri okugenda mu Nsi Ensuubize. Zuula ekitundu ekyaweebwa buli kika kya Isiraeri ng’obusika. Laba obwakabaka bwa Sulemaani gye bwali bukoma. Goberera ekkubo Eriya lye yakwata ng’ayita mu ddungu ng’adduka okuva e Yezureeri okutuuka e Beeruseba ng’atiisiddwatiisiddwa Yezeberi. (1 Bassek. 18:46–19:4) Zuula ebibuga Yesu bye yabuuliramu. Goberera eŋŋendo za Pawulo nga bwe zoogerwako mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume.

Ebintu ebirabwako bisobola okweyambisibwa okuyamba omuyizi wa Baibuli okutegeera engeri ekibiina gye kiddukanyizibwamu. Oyinza okulaga omuyizi wo akapapula akaliko programu y’olukuŋŋaana olunene era n’omunnyonnyola ebyogerwako mu nkuŋŋaana ezo. Bangi bakwatiddwako nnyo bwe balambudde Ekizimbe ky’Obwakabaka oba ofiisi y’ettabi ey’Abajulirwa ba Yakuwa. Bw’okola ekyo, oyinza okutereeza endowooza enkyamu abantu ze balina ku mulimu gwaffe n’ekigendererwa kyagwo. Ng’olambuza omuntu Ekizimbe ky’Obwakabaka, mulage engeri gye kyawukana ku bifo ebirala eby’okusinzizaamu. Mutegeeze nti Ekizimbe ky’Obwakabaka kifo kirungi eky’okuyigiramu. Mulage ebimu ku bintu, gamba ng’ekifo awagabirwa ebitabo, mmaapu eziraga ebifo gye tubuulira, era n’obusanduuko omuteekebwa ssente (ekyawukana ku kuyisa obubbo).

Bwe wabaawo vidiyo ezaategekebwa Akakiiko Akafuzi, zikozese okubayamba okwesiga Baibuli, okutegeera omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa, n’okubakubiriza okukolera ku misingi gya Baibuli.

Okukozesa Ebintu Ebirabwako ng’Oyigiriza Abantu Abangi. Bwe bitegekebwa era ne bikozesebwa obulungi, ebintu ebirabwako biyinza okuyamba mu kuyigiriza obulungi abantu. Omuddu omwesigwa atuwadde ebintu ng’ebyo ebirabwako bya ngeri nnyingi.

Ekitundu eky’okuyiga mu Omunaala gw’Omukuumi kitera okubaamu ebifaananyi oyo akubiriza by’ayinza okukozesa okuggumiza ensonga enkulu. Era ne mu bitabo ebikozesebwa mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina mubaamu ebifaananyi.

Ebiwandiiko by’emboozi ebimu biyinza okusobozesa omwogezi okweyambisa ebintu ebirabwako ng’annyonnyola ensonga enkulu. Kyokka, ekisinga obukulu kwe kuteeka essira ku ebyo ebiri mu Baibuli. Singa okozesa ekifaananyi oba ekipande okuggumiza ensonga emu oba eziwerako eziri mu mboozi yo, kakasa nti abatudde emabega basobola okubiraba obulungi (oba okubisoma). Ebintu ng’ebyo birina okukozesebwa n’obwegendereza.

Ekiruubirirwa kyaffe mu kukozesa ebintu ebirabwako nga twogera oba nga tuyigiriza si kwe kusanyusa obusanyusa abatuwuliriza. Singa okozesa ebintu ebirabwako, wandibadde n’ekigendererwa eky’okwongera okuggumiza ensonga enkulu. Ebintu ng’ebyo biba bya mugaso nnyo bwe biba bisobola okutangaaza ku ekyo ky’oyogedde, ne kisobozesa ensonga okutegeerekeka obulungi, oba bwe biwa obukakafu ku ekyo ky’oyogedde. Singa ebintu ebirabwako bikozesebwa bulungi, abantu tebajja kwerabira by’obayigirizza ne bwe wayitawo emyaka mingi.

Okuwulira n’okulaba byetaagisa nnyo mu kuyiga. Jjukira engeri Yakuwa ne Yesu gye baakozesaamu ebintu ebyo era ofube okubakoppa ng’oyigiriza abalala.

EBINTU EBIRABWAKO EBY’OMUGANYULO . . .

  • Birina okuggyayo oba okutangaaza ensonga ezirina okuggumizibwa.

  • Birina okukozesebwa n’ekigendererwa eky’okuyigiriza.

  • Bw’obikozesa ng’oli ku pulatifoomu, kakasa nti abawuliriza bonna babiraba bulungi.

EKY’OKUKOLA: Wandiika wammanga ebintu ebirabwako by’oyinza okukozesa . . .

Okuyamba omuntu okusiima ekibiina kya Yakuwa

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

Okuyigiriza omwana amazima ga Baibuli

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․․

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share