LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 9 lup. 12
  • Okukozesa Ebintu Ebirabwako

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okukozesa Ebintu Ebirabwako
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • Okukozesa Obulungi Ebintu Ebirabwako
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Kozesa Ebyokulabirako eby’Ebintu Ebirabwako era nga Biyigiriza
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Yigiriza Abayizi Bo ng’Okozesa Vidiyo
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Okutunuulira Abakuwuliriza
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 9 lup. 12

ESSOMO 9

Okukozesa Ebintu Ebirabwako

Ekyawandiikibwa

Olubereberye 15:5

MU BUFUNZE: Kozesa ebintu ebirabwako okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga enkulu n’okuzijjukira.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Kozesa ebintu ebirabwako ebijja okukuyamba okuggyayo ensonga enkulu. Kozesa ebifaananyi, mmaapu, n’ebintu ebirala ebirabwako okuggyayo ensonga enkulu, so si ezo ezitali nkulu. Kakasa nti abakuwuliriza tebakoma ku kujjukira kintu ky’okozesezza, wabula n’ensonga lwaki okikozesezza.

  • Kakasa nti abakuwuliriza bonna balaba bulungi ekintu ekirabwako ky’okozesa.

    Eky’okukola

    Nga tonnawa mboozi yo, kakasa nti ebintu ebirabwako by’ogenda okukozesa mu mboozi yo obirina.

MU BUWEEREZA

Laga omuntu ekifaananyi ekiri mu katabo omusabe abeeko ky’akyogerako. Bwe kiba kyetaagisa, mubuuze ebibuuzo ebirala osobole okuggumiza ensonga enkulu. Bw’oba olaga omuntu vidiyo, kakasa nti asobola okugiraba obulungi. Bw’aba agiraba, kirungi obutabaako ky’oyogera mu kiseera ekyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share