ESSOMO 48
Mu Ngeri ey’Amagezi
TULI basanyufu nnyo olw’okuba Ekigambo kya Katonda kituyambye okukola enkyukakyuka mu bulamu bwaffe, era twagala n’abalala nabo baganyulwe nga ffe. Ate era, tukimanyi nti engeri abantu gye batwalamu amawulire amalungi, ejja kukwata ku bulamu bwabwe obw’omu biseera eby’omu maaso. (Mat. 7:13, 14; Yok. 12:48) Twagala nnyo abantu abo bakkirize amazima. Kyokka, okusobola okukola ekyo, tusaanidde okuba abamalirivu era abanyiikivu.
Omuntu tajja kusanyuka singa omugamba butereevu nti enzikiriza ze nkyamu, ne bw’oba ng’olina Ebyawandiikibwa bingi ebikakasa ekyo. Ng’ekyokulabirako, singa obagamba nti ennaku enkulu ze bakuza zaasibuka mu bakaafiiri, kiyinza obutakyusa ndowooza gye balina ku nnaku ezo. Ekisinga obulungi kwe kwogera nabo mu ngeri ey’amagezi. Kiki ekizingirwa mu kwogera n’abalala mu ngeri ey’amagezi?
Ebyawandiikibwa bitutegeeza nti ‘Amagezi agava waggulu ga mirembe, si makakanyavu.’ (Yak. 3:17, NW) Ekigambo ky’Oluyonaani wano ekivvuunuddwa ‘si makakanyavu’ kitegeeza ‘obutagugubira ku nsonga.’ Enkyusa endala zikivuunula nga ‘okufaayo,’ ‘obukakamu,’ oba ‘obugumiikiriza.’ Weetegereze nti obutaba mukakanyavu bukwataganyizibwa n’emirembe. Mu Tito 3:2, bwogerwako wamu n’obukkakkamu era nga bwawukana ku bukambwe. Abafiripi 4:5 watukubiriza okuba ‘abawombeefu.’ Omuntu omuwombeefu afaayo ku mbeera omuntu gw’ayogera naye gye yakuliramu, gy’alimu kati era ne ku nneewulira ye. Aba mwetegefu okukkiriza endowooza y’abalala bwe kiba kisaanidde. Okukolagana n’abalala mu ngeri eyo kituyamba okumanya endowooza yaabwe era n’okubatuuka ku mitima ne kibasobozesa okussaayo omwoyo nga tukubaganya nabo ebirowoozo ku Byawandiikibwa.
Kye Tulina Okutandikirako. Munnabyafaayo ayitibwa Lukka agamba nti omutume Pawulo bwe yali mu Ssessaloniika, yakozesa Ebyawandiikibwa, “ng’ategeeza nti Kristo kyamugwanira okubonyaabonyezebwa n’okuzuukira mu bafu.” (Bik 17:2, 3) Weetegereze nti kino Pawulo yakikolera mu yeekaalu y’Abayudaaya. Abo be yali ayogera nabo baali bakkiririza mu Byawandiikibwa Eby’Olwebbulaniya. N’olwekyo, kyali kituukirawo okutandikira ku kintu kye baali bakkiriza.
Pawulo bwe yali ayogera n’Abayonaani mu Aleyopaago ey’omu Asene, teyatandikira ku kujuliza Byawandiikibwa. Wabula, yatandikira ku bintu bye baali bamanyi era nga babikkiriza, era ebyo bye yakozesa okubannyonnyola ebikwata ku Mutonzi awamu n’ebigendererwa Bye.—Bik. 17:22-31.
Mu kiseera kyaffe, waliwo abantu buwumbi na buwumbi abatakkiriza Baibuli ky’egamba. Kyokka, kumpi buli muntu anyigirizibwa embeera embi eziri mu nteekateeka y’ebintu eno. Abantu baagala obulamu obusingako obulungi. Singa osooka kubalaga nti ofaayo ku bizibu byabwe, ate oluvannyuma n’obalaga ekyo Baibuli ky’ebyogerako, kiyinza okubaagazisa okuwuliriza Baibuli ky’eyogera ku kigendererwa kya Katonda eri abantu.
Kiyinzika okuba nti omuyizi wa Baibuli agoberera eddiini n’obulombolombo bwa bazadde be. Kati bw’amala okukitegeera nti enzikiriza ezo n’obulombolombo tebisanyusa Katonda, alekera awo okubigoberera kubanga tebiyigirizibwa mu Baibuli. Omuyizi oyo asobola atya okunnyonnyola bazadde be ky’asazeewo? Bayinza okukitwala nti abajeemedde olw’okuba avudde mu ddiini yaabwe. Nga tanannyonnyola bazadde be ky’asazeewo ng’akozesa Baibuli, ayinza okusooka okubakakasa nti abaagala era nti abassaamu ekitiibwa.
Lwe Kyetaagisa Obutakalambira ku Nsonga. Wadde nga Yakuwa alina obuyinza okuwa ebiragiro, si mukakanyavu. Bwe yali anunula Lutti n’ab’omu maka ge okuva mu Sodomu, bamalayika ba Yakuwa baagamba Lutti nti: “Ddukira ku lusozi, oleme okuzikirizibwa.” Kyokka, Lutti yeegayirira nti: “Nedda, [M]ukama wange, nkwegayiridde.” Yasaba addukire e Zowaali. Yakuwa yawuliriza ekyo Lutti kye yamusaba n’amukkiriza akole kye yali ayagala era ebibuga ebirala bwe byazikirizibwa, Zowaali tekyazikirizibwa. Kyokka, oluvannyuma, Lutti yakola ekyo Yakuwa kye yasooka okumugamba era n’agenda ku lusozi. (Lub. 19:17-30) Yakuwa yali amanyi nti kye yali amugambye kye kyali ekituufu, naye yayoleka obugumiikiriza okutuusa Lutti lwe yakitegeera nti Yakuwa kye yali agambye mu kusooka kye kyali ekituufu.
Okusobola okukolagana obulungi n’abalala, naffe kitwetaagisa obutaba bakakanyavu. Tuyinza okukimanya nti omuntu gwe twogera naye alina endowooza enkyamu, era nga tuyinza n’okukikakasa. Naye emirundi egimu kiba kirungi obutawakana na muntu. Kyokka, ekyo kiba tekitegeeza nti tulina kwekkiriranya misingi gya Yakuwa. Kiyinza okuba ekirungi okwebaza omuntu oyo olw’okwoleka endowooza ye oba obutabaako ky’oyogera ku kintu ekikyamu ky’ayogedde kikusobozese okukubaganya ebirowoozo ku kintu ekirala. Ne bw’aba ng’avumirira ebyo by’okkiririzaamu, tonyiiga. Oyinza okumubuuza ensonga lwaki alowooza bwatyo. Wuliriza bulungi ky’addamu. Ekyo kye kijja okukuyamba okumanya endowooza ye. Era kiyinza okukutemera oluwenda okunyumya naye omulundi omulala.—Nge. 16:23; 19:11.
Yakuwa awadde abantu eddembe ly’okwesalirawo. Abaleka okukozesa eddembe eryo wadde nga bayinza obutalikozesa mu ngeri ey’amagezi. Ng’omwogezi wa Yakuwa, Yoswa yannyonnyola engeri Katonda gye yakolaganamu ne Isiraeri. Yagamba: “Oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w’Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli: naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.” (Yos. 24:15) Leero, tulina omulimu gw’okuwa abantu ‘obujulirwa’ era twogera nga twekakasa, naye tetubakaka kukkiriza bye tubuulira. (Mat. 24:14) Balina eddembe okwesalirawo, era tetubalemesa kulikozesa.
Buuza Ebibuuzo. Yesu yateekawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri y’okukubaganyamu ebirowoozo n’abantu. Yalowoozanga ku mbeera zaabwe era n’akozesa ebyokulabirako bye baali basobola okutegeera amangu. Ate era yakozesanga bulungi ebibuuzo. Ekyo kyasobozesa abantu okumuwa endowooza yaabwe n’okwoleka eky’abali ku mitima. Era kyabakubiriza okulowooza ku nsonga eyabanga ekubaganyizibwako ebirowoozo.
Omusajja eyali amanyi obulungi Amateeka yabuuza Yesu: “Omuyigiriza, nkolenga ki okusikira obulamu obutaggwaawo?” Yesu yandisobodde okumuwa eky’okuddamu butereevu. Naye, yayagala omusajja oyo awe endowooza ye. Yamubuuza: ‘Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Osoma otya?’ Omusajja kye yaddamu kyali kituufu. Olw’okuba yaddamu ekituufu, awo emboozi we yakoma? Si bwe kyali. Yesu yeeyongera okwogera n’omusajja oyo, era ekibuuzo omusajja oyo kye yaddako okubuuza kyalaga nti yali yeetwala okuba omutuukirivu. Yamubuuza: “Muliraanwa wange ye ani?” Mu kifo ky’okumuddamu butereevu, oboolyawo ekintu omusajja oyo ky’atandikkiriza olw’endowooza Abayudaaya gye baalina ku b’Amawanga n’Abasamaliya, Yesu yamugerera olugero. Olugero olwo lwali lukwata ku Musamaliya omulungi eyayamba omutambuze eyakubibwa era n’abbibwa, kyokka nga kabona n’Omuleevi baamuyitako buyisi. Ng’akozesa ekibuuzo ekyangu, Yesu yayamba omusajja oyo okutegeera ensonga eyali mu lugero olwo. Engeri ey’amagezi Yesu gye yakubaganyaamu ebirowoozo n’omusajja oyo ku kigambo “muliraanwa” yamuyamba okulowooza ku kigambo ekyo mu ngeri gye yali takirowoozangako. (Luk. 10:25-37) Ekyo nga kyakulabirako kirungi nnyo kye twandikoppye! Mu kifo ky’okwefuga emboozi, yiga okukozesa ebibuuzo n’ebyokulabirako mu ngeri ey’amagezi osobole okukubiriza akuwuliriza okulowooza.
Wa Ensonga. Omutume Pawulo bwe yayogerera mu kuŋŋaaniro ly’omu Ssessaloniika, teyakoma ku kusoma busomi okuva mu kitabo abamuwuliriza kye baali bakkiririzaamu, naye era nga Lukka, bw’agamba, Pawulo yannyonnyolanga, n’awa obukakafu era n’alaga engeri bye yali asoma gye byali bikwata ku bamuwuliriza. N’ekyavaamu, ‘abamu ku bo baafuuka bakkiriza ne beegatta ku Pawulo ne Siira.’—Bik. 17:1-4.
Ka babe bantu ba ngeri ki be tuba twogera nabo, kiba kya muganyulo okukubaganya nabo ebirowoozo mu ngeri ey’amagezi. Eyo ye nkola gye wandigoberedde ng’obuulira ab’eŋŋanda zo, bakozi banno oba b’osoma nabo, abantu b’otamanyi, ng’oyigiriza omuntu Baibuli, oba ng’owa emboozi mu kibiina. Bw’osoma ekyawandiikibwa, oyinza okuba ng’otegeera bulungi amakulu agakirimu, naye omuntu omulala ayinza okuba nga takitegeera bulungi. Engeri gy’okinnyonnyolamu oba gy’olagamu bwe kirina okussibwa mu nkola, eyinza okulabika ng’agezaako okubawaliriza okukkiriza endowooza yo. Kyandibadde kya magezi okulondamu ebigambo ebimu mu kyawandiikibwa n’obinnyonnyola? Osobola okuwa obukakafu ku ebyo by’oyogerako oboolyawo ng’okozesa ennyiriri eziriraanyeewo oba ekyawandiikibwa ekirala ekikwata ku nsonga eyo? Tekyandibadde kirungi okukozesa ekyokulabirako ekiyinza okuggyayo obulungi ensonga gy’oyogerako? Kyandibadde kirungi okukozesa ebibuuzo ebiyinza okuyamba abakuwuliriza okulowooza ku nsonga eyo? Okukubaganya ebirowoozo mu ngeri eyo ey’amagezi, kiwa abakuwuliriza ekifaananyi ekirungi era ne kibasobozesa okufumiitiriza ku nsonga.