LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • cl sul. 2 lup. 18-29
  • Ddala Osobola ‘Okusemberera Katonda’?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddala Osobola ‘Okusemberera Katonda’?
  • Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yakuwa Agguddewo Ekkubo
  • Yakuwa Atubuulira Ebimukwatako mu Kigambo Kye
  • ‘Omwana Ayagala Okumututegeeza’
  • Ekitabo Ekinaatuyamba
  • ‘Laba! Ono Ye Katonda Waffe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Osobola Okuba Mukwano gwa Yakuwa
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Amazima Agakwata ku Katonda ne Kristo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • “Anaabeera Mukwano Gwo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
See More
Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
cl sul. 2 lup. 18-29
Omukazi ng’afumiitiriza ku ebyo by’asomye mu Bayibuli.

ESSUULA 2

Ddala Osobola ‘Okufuna Enkolagana Ennungi ne Katonda’?

1, 2. (a) Kiki bangi kye bayinza okulowooza nti tekisoboka, naye Bayibuli etukakasa ki? (b) Ibulayimu yalina nkolagana ki ne Katonda, era lwaki?

WANDIWULIDDE otya singa Omutonzi w’eggulu n’ensi akwogerako nti, “Ono mukwano gwange”? Bangi bayinza okulowooza nti ekyo tekisoboka. Omuntu obuntu ayinza atya okuba mukwano gwa Yakuwa Katonda? Kyokka Bayibuli etukakasiza ddala nti tusobola okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.

2 Ibulayimu eyaliwo mu biseera ebyayita yalina enkolagana ng’eyo. Omusajja oyo ow’edda ennyo Yakuwa yamwogerako nga ‘mukwano gwe.’ (Isaaya 41:8) Yakuwa yatwala Ibulayimu okuba mukwano gwe. Ibulayimu yalina enkolagana ennungi ne Katonda olw’okuba ‘yakkiririza mu Yakuwa.’ (Yakobo 2:23) Ne leero, Yakuwa ayagala okubeera mukwano gw’abo abamuweereza era abaagala nnyo. (Ekyamateeka 10:15) Ekigambo kye kigamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yakobo 4:8) Mu bigambo ebyo tukubirizibwa okufuna enkolagana ennungi ne Katonda era atusuubiza nti naye ajja kubeera mukwano gwaffe.

3. Yakuwa ayagala tukole ki, era kisuubizo ki ekikwataganyizibwa nakyo?

3 Yakuwa ayagala tufune enkolagana ennungi naye. Ayagala tubeere mikwano gye. Mu kiseera kye kimu, atusuubiza nti singa tubaako kye tukola okubeera mikwano gye, naye ajja kubeera mukwano gwaffe. Ajja kuba n’enkolagana ennungi naffe. Bwe kityo, tuyinza okufuna ekintu eky’omuwendo ddala, kwe kugamba, tusobola okuba ‘mikwano gya Yakuwa egy’oku lusegere.’ (Zabbuli 25:14) Wano ebigambo “mikwano gye egy’oku lusegere,” birina amakulu ag’okunyumya ebintu eby’ekyama ne mukwano gwo nfiirabulago.

4. Wandinnyonnyodde otya ow’omukwano ow’oku lusegere, era Yakuwa yeeraze atya okuba ow’omukwano ng’oyo eri abo abalina enkolagana ennungi naye?

4 Olina mukwano gwo ow’oku lusegere gw’obuulira ebyama byo? Ow’omukwano ow’engeri eyo aba akufaako. Omuteekamu obwesige kubanga mwesigwa. Weeyongera okufuna essanyu bw’omutegeeza ebikusanyusa. Osobola okugumira ennaku gy’oba nayo kubanga awuliriza by’omutegeeza. Wadde nga kiyinza okulabika nti abalala bonna tebakutegeera, ye aba akutegeera. Mu ngeri y’emu, bw’obeera n’enkolagana ennungi ne Katonda, oba ofunye Mukwano gwo nfiirabulago akutwala ng’omuntu ow’omuwendo, akufaako ennyo, era akutegeerera ddala. (Zabbuli 103:14; 1 Peetero 5:7) Omutegeeza engeri gye weewuliramu, kubanga okimanyi nti mwesigwa eri abo abamwesiga. (Zabbuli 18:25) Kyokka osobola okuba n’omukwano ng’ogwo ne Katonda kubanga ye kennyini akisobozesa.

Yakuwa Agguddewo Ekkubo

5. Yakuwa yakola ki okutusobozesa okufuna n’enkolagana ennungi naye?

5 Ku bwaffe, ng’abantu aboonoonyi, tetwandisobodde kufuna nkolagana nnungi ne Katonda. (Zabbuli 5:4) Omutume Pawulo yagamba nti: “Katonda atulaga okwagala kwe, kubanga bwe twali tukyali boonoonyi, Kristo yatufiirira.” (Abaruumi 5:8) Yakuwa yakola enteekateeka Yesu ‘aweeyo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abangi.’ (Matayo 20:28) Okukkiriza kwe tulina mu kinunulo ekyo kutusobozesa okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Okuva Katonda bwe “yasooka okutwagala,” yatuteerawo omusingi ogutusobozesa okubeera mikwano gye.—1 Yokaana 4:19.

6, 7. (a) Tumanya tutya nti Yakuwa si Katonda eyeekwese, atayinza kumanyibwa? (b) Yakuwa atutegeezezza atya ebimukwatako?

6 Yakuwa alina ekirala ky’akoze: Atutegeezezza ebimukwatako. Omukwano gwonna okusobola okubeera ogw’oku lusegere, kyesigama ku kumanyira ddala omuntu, kwe kugamba, okusiima engeri ze n’amakubo ge. N’olwekyo, singa Yakuwa yali Katonda eyeekwese, atayinza kumanyibwa, tetwandisobodde kubeera na nkolagana nnungi naye. Mu kifo ky’okwekweka, ayagala tumumanye. (Isaaya 45:19) Ate era ebimukwatako biyinza okumanyibwa buli omu, nga mw’otwalidde naffe ensi beetwala okuba aba wansi.—Matayo 11:25.

Collage: Some ways that Jehovah reveals himself. 1. A flower and a butterfly. 2. Sunset on a tropical beach. 3. An open Bible.

Bayibuli etuyamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa

7 Yakuwa atutegeezezza atya ebimukwatako? Ebintu bye yatonda byoleka ezimu ku ngeri ze, gamba ng’amaanyi ge amangi, amagezi ge amangi, n’okwagala kwe okungi. (Abaruumi 1:20) Kyokka Yakuwa tatutegeeza bimukwatako kuyitira mu bye yatonda mwokka. Buli kiseera Yakuwa atuyigiriza ebimukwatako mu ngeri ey’ekitalo, era kino akikoze ng’ayitira mu Kigambo kye, Bayibuli.

Yakuwa Atubuulira Ebimukwatako mu Kigambo Kye

8. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Bayibuli ku bwayo bujulizi obulaga nti Yakuwa atwagala?

8 Bayibuli ku bwayo bujulizi obulaga nti Yakuwa atwagala. Mu Kigambo kye ekyo, atutegeeza ebimukwatako mu ngeri gye tuyinza okutegeera. Obwo bukakafu obulaga nti atwagala nnyo era ayagala tumumanye era tumwagale. Bye tusoma mu kitabo kino eky’omuwendo bitusobozesa okumusemberera. (Zabbuli 1:1-3) Ka tulabe engeri Yakuwa gy’atutegeezaamu ebimukwatako okuyitira mu Kigambo kye, Bayibuli.

9. Byawandiikibwa ki mu Bayibuli ebyogera ku zimu ku ngeri za Katonda?

9 Ebyawandiikibwa bingi byogera butereevu ku ngeri za Katonda. Weetegereze ezimu ku zo. “Yakuwa ayagala obwenkanya.” (Zabbuli 37:28) Katonda “alina amaanyi mangi.” (Yobu 37:23) “‘Ndi mwesigwa,’ Yakuwa bw’agamba.” (Yeremiya 3:12) “Wa magezi.” (Yobu 9:4) Ye “Katonda omusaasizi era ow’ekisa, alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka n’amazima amangi.” (Okuva 34:6) “Ggwe, Ai Yakuwa, oli mulungi era oli mwetegefu okusonyiwa.” (Zabbuli 86:5) Nga bwe kyayogerwako mu ssuula esooka, alina engeri esinga zonna obukulu: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Bw’ofumiitiriza ku ngeri zino ennungi, tosikirizibwa kusemberera Katonda ono atageraageranyizika?

10, 11. (a) Kiki Yakuwa kye yateeka mu Kigambo kye okutuyamba okutegeera obulungi engeri ze? (b) Kyakulabirako ki mu Bayibuli ekituyamba okumanya engeri Katonda gye yakozesaamu amaanyi ge?

10 Ng’oggyeeko okututegeeza engeri ze, Yakuwa yateeka mu Kigambo kye ebyokulabirako ebiwerako ebiraga engeri gy’azoolekamu. Ebyokulabirako ebyo bituyamba okutegeera obulungi engeri ze ez’enjawulo. Ekyo kituleetera okwagala okuba n’enkolagana naye. Lowooza ku kyokulabirako kino.

Yakuwa alaze ky’ali okuyitira mu bye yatonda wamu n’Ekigambo kye

11 Bw’osoma nti Katonda alina ‘amaanyi agawuniikiriza,’ oyinza okukwatibwako. (Isaaya 40:26) Kyokka, ojja kukwatibwako nnyo n’okusingawo singa osoma ku ngeri gye yanunulamu eggwanga lya Isirayiri ng’aliyisa mu Nnyanja Emmyufu era n’alirabirira mu ddungu okumala emyaka 40. Kuba akafaananyi ng’amazzi geeyawulamu, ng’abantu nga 3,000,000 bayita awakalu ku ntobo y’ennyanja, ng’amazzi geesimbye ng’ebisenge eruuyi n’eruuyi. (Okuva 14:21; 15:8) Lowooza ku ngeri Katonda gye yakuumamu eggwanga eryo mu ddungu. Yabawa amazzi okuva mu njazi n’emmere eyali efaanana ng’obusigo obweru. (Okuva 16:31; Okubala 20:11) Wano Yakuwa teyalaga bulazi nti alina amaanyi naye era nti agakozesa okuyamba abantu be. Tekituzzaamu nnyo amaanyi okumanya nti essaala zaffe zituuka eri Katonda ow’amaanyi, ‘ekiddukiro kyaffe era amaanyi gaffe, bulijjo abaawo okutuyamba nga tuli mu buzibu?’—Zabbuli 46:1.

12. Yakuwa atuyamba atya okumutegeera?

12 Olw’okuba Yakuwa Mwoyo, akoze n’ekisingawo okutuyamba okumumanya. Ffe abantu tulaba ebyo byokka ebirabika eri amaaso gaffe, n’olwekyo tetuyinza kulaba bintu bya mwoyo. Katonda okutunnyonnyola ky’ali mu ngeri y’omwoyo kyandibadde ng’okugezaako okunnyonnyola omuntu eyazaalibwa nga muzibe engeri gy’ofaananamu, gamba nga langi y’amaaso go, oba amabala agali ku lususu lwo. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa atuyamba okumutegeera. Emirundi egimu akozesa ebyokulabirako nga yeegeraageranya ku bintu bye tumanyi. Era yeeyogerako ng’alina ebitundu by’omubiri ng’eby’abantu.a

13. Isaaya 40:11 lutuyamba kukuba kafaananyi ki, era kikukwatako kitya?

13 Weetegereze engeri Yakuwa gy’ayogerwako mu Isaaya 40:11, awagamba nti: “Okufaananako omusumba, ajja kulabirira ekisibo kye. Ajja kukuŋŋaanya endiga ento n’omukono gwe, era ajja kuzisitulira mu kifuba kye.” Wano Yakuwa ageraageranyizibwa ku musumba asitula abaana b’endiga mu ‘mukono gwe.’ Kino kyoleka obusobozi bwa Katonda obw’okukuuma n’okuyamba abantu be, nga mw’otwalidde n’abo abeetaaga okufiibwako ennyo. Tuwulira obukuumi nga tuli mu mikono gye egy’amaanyi, kubanga bwe tusigala nga tuli beesigwa gy’ali, tayinza kutwabulira. (Abaruumi 8:38, 39) Mu biseera by’edda omusumba yasituliranga omwana gw’endiga ogwakazaalibwa mu kifuba kye ng’akozesa olugoye lwe. Bayibuli eraga nti ne Yakuwa, Omusumba Omukulu, asitula abaana b’endiga “mu kifuba kye.” Ekyo kitukakasa nti Yakuwa atwagala nnyo era atufaako nnyo. Twandibadde twagala okuba n’enkolagana ennungi naye.

‘Omwana Ayagala Okumututegeeza’

14. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa atutegeeza ebimukwatako okuyitira mu Yesu?

14 Mu Kigambo kye, Yakuwa atutegeeza ebimukwatako okuyitira mu Mwana we omwagalwa, Yesu. Tewali n’omu yandisobodde kwoleka ndowooza ya Katonda n’enneewulira ye oba okunnyonnyola ky’ali, okusinga Yesu. Ekyo tekyewuunyisa, kubanga Omwana oyo omubereberye yali ne Kitaawe ng’ebitonde ebirala eby’omwoyo wamu n’obwengula, tebinnaba kutondebwa. (Abakkolosaayi 1:15) Yesu yali amanyi nnyo Yakuwa. Eyo ye nsonga lwaki yali asobola okugamba nti: “Tewali amanyi Kitange wabula Omwana, n’oyo yenna Omwana gw’aba ayagadde amanye Kitaawe.” (Lukka 10:22) Yesu bwe yali ku nsi, yayamba abantu okumanya ebikwata ku Kitaawe mu ngeri bbiri enkulu.

15, 16. Ngeri ki ebbiri Yesu mwe yayitira okututegeeza ebikwata ku Kitaawe?

15 Okusooka, ebyo Yesu bye yayigiriza bituyamba okumanya Kitaawe. Yesu yannyonnyola ebikwata ku Yakuwa mu ngeri ekwata ku mitima gyaffe. Ng’ekyokulabirako, okusobola okunnyonnyola nti Katonda alina ekisa era nti asonyiwa aboonoonyi abeenenyezza, Yesu yageraageranya Yakuwa ku taata asonyiwa era akwatibwako ennyo ng’alabye omwana we eyayonoona eby’obusika bwe ng’akomyewo gy’ali. Taata oyo atuuka n’okudduka n’agwa omwana oyo mu kifuba n’amunywegera. (Lukka 15:11-24) Yesu era yalaga nti Yakuwa ye Katonda ‘asika’ abantu ab’emitima emirungi olw’okuba abaagala. (Yokaana 6:44) Amanya n’enkazalugya lw’egwa wansi. Yesu yagamba nti: “Temutya; muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.” (Matayo 10:29, 31) Mazima ddala, twagala nnyo okuba n’enkolagana ne Katonda ng’oyo atufaako.

16 Ekyokubiri, ekyokulabirako kya Yesu kituyamba okumanya ekyo Yakuwa ky’ali. Yesu yayolekera ddala engeri za Kitaawe n’atuuka n’okugamba nti: “Buli andaba aba alabye ne Kitange.” (Yokaana 14:9) Bwe tusoma ebikwata ku Yesu mu bitabo by’Enjiri, ne tumanya enneewulira ze yayoleka era n’engeri gye yayisaamu abalala, tuba ng’abalaba Kitaawe. Tewali ngeri esinga eyo bulungi Yakuwa mwe yandiyitidde okututegeereza ddala engeri ze. Lwaki?

17. Kiki Yakuwa ky’akoze okutuyamba okutegeera ky’ali?

17 Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi ng’ogezaako okunnyonnyola ekigambo “ekisa.” Oyinza okukinnyonnyola mu bigambo. Naye singa oba osobola okusonga ku muntu akola ekikolwa eky’ekisa n’ogamba nti, “Ekikolwa ekyo kye kiraga ekisa,” ekigambo “ekisa” kifuna amakulu agasingawo era kiba kyangu okutegeera. Yakuwa akoze ekintu ekifaananako bwe kityo okutuyamba okutegeera ky’ali. Ng’oggyeeko okutunnyonnyola ky’ali mu bigambo, atuwadde ekyokulabirako ky’Omwana we. Okuyitira mu Yesu, tusobola okumanya engeri za Katonda. Okuyitira mu bitabo by’Enjiri ebyogera ku Yesu, Yakuwa aba atugamba nti: “Bwe ntyo bwe ndi.” Ebyawandiikibwa byogera bitya ku Yesu bwe yali ku nsi?

18. Yesu yayoleka atya amaanyi, obwenkanya, n’amagezi?

18 Engeri za Katonda ennya enkulu zeeyolekera bulungi mu ebyo Yesu bye yakola. Yayoleka amaanyi ng’awonya abalwadde, ng’aliisa abalumwa enjala, era ng’azuukiza abafu. Kyokka okwawukana ku bantu abeefaako bokka abakozesa obubi amaanyi gaabwe, ye teyakozesaako maanyi ago okwenoonyeza ebibye oba okulumya abalala. (Matayo 4:2-4) Yali ayagala obwenkanya. Yasunguwala bwe yalaba abasuubuzi abaali bafuna amagoba mu bantu mu ngeri etaali ya bwenkanya. (Matayo 21:12, 13) Abaavu n’abanyigirizibwa yabayisa mu ngeri ey’obwenkanya, ng’abayamba ‘okufuna ekiwummulo.’ (Matayo 11:4, 5, 28-30) Amagezi ag’ekitalo geeyolekera mu njigiriza za Yesu, eyali “asinga Sulemaani.” (Matayo 12:42) Naye Yesu teyeeraga olw’amagezi ge. Ebigambo bye yayogera byatuuka ku mitima gy’abantu aba bulijjo, kubanga bye yayigirizanga byali bitegeerekeka bulungi, nga byangu, era nga bya muganyulo.

19, 20. (a) Yesu yali atya ekyokulabirako eky’enkukunala mu kulaga okwagala? (b) Twandijjukiddenga ki nga tusoma era nga tufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu?

19 Yesu yali kyakulabirako eky’enkukunala mu kulaga okwagala. Mu buweereza bwe bwonna, yayoleka okwagala mu ngeri ez’enjawulo, nga mw’otwalidde okusaasira abalala n’okulaga nti abafaako. Yasaasiranga abaali babonaabona. Enfunda n’enfunda, okufaayo ku balala kwamuleetera okubaako ky’akolawo okubayamba. (Matayo 14:14) Wadde yawonya abalwadde n’aliisa abalumwa enjala, Yesu yasaasira abantu mu ngeri esingayo obukulu. Yayamba abalala okumanya, okukkiriza, era n’okwagala amazima agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda, obujja okuleetera abantu emikisa egy’olubeerera. (Makko 6:34; Lukka 4:43) Okusingira ddala, Yesu yalaga nti ayagala nnyo abantu bwe yawaayo obulamu bwe ku lwabwe.—Yokaana 15:13.

20 Tekyewuunyisa nti abantu ab’emyaka gyonna era abaali bava mu mbeera ez’enjawulo baasikirizibwa eri omusajja ono eyalaga okwagala n’obusaasizi. (Makko 10:13-16) Bwe tuba tusoma era nga tufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu, ka bulijjo tukijjukirenga nti okuyitira mu Mwana oyo tuba tulaba Kitaawe.—Abebbulaniya 1:3.

Ekitabo Ekinaatuyamba

21, 22. Okunoonya Yakuwa kizingiramu ki, era akatabo kano kalimu biki ebiyinza okutuyamba mu nsonga eyo?

21 Olw’okuba Yakuwa ayagala tubeere n’enkolagana ennungi naye, atutegeeza ekyo ky’ali okuyitira mu Kigambo kye. Mu kiseera kye kimu, tatukaka kubeera na nkolagana nnungi naye. Kiri eri ffe okunoonya Yakuwa “ng’akyayinza okulabika.” (Isaaya 55:6) Okunoonya Yakuwa kizingiramu okumanya engeri ze n’amakubo ge ebiragibwa mu Bayibuli. Akatabo kano k’osoma kategekeddwa okukuyamba mu nsonga eyo.

22 Ojja kulaba nti akatabo kano kaawuddwamu ebitundu ebyogera ku ngeri za Yakuwa zino ennya enkulu: amaanyi, obwenkanya, amagezi, n’okwagala. Buli kitundu kitandika nga kyogera mu bufunze ku ngeri eba egenda okwogerwako. Essuula eziri mu kitundu ekyo zoogera ku ngeri ez’enjawulo Yakuwa gy’ayolekamu engeri eyo. Era buli kitundu kirimu essuula eraga Yesu bwe yalagamu engeri eyo, awamu n’essuula eraga bwe tuyinza okwolekamu engeri y’emu mu bulamu bwaffe.

23, 24. (a) Nnyonnyola engeri y’okukozesaamu akasanduuko akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako.” (b) Okufumiitiriza kutuyamba kutya okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda?

23 Okutandika n’essuula eno, waliwo akasanduuko akalina omutwe “Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako.” Ng’ekyokulabirako, laba akasanduuko akali ku lupapula 24. Ebyawandiikibwa n’ebibuuzo ebikalimu tebitegekeddwa kukuyamba kwejjukanya ssuula gy’osomye. Wabula, bitegekeddwa okukuyamba okufumiitiriza ku nsonga endala enkulu ezikwata ku mutwe ogwogerwako. Oyinza otya okukozesa obulungi akasanduuko ako? Kebera buli kyawandiikibwa ekiweereddwa, era soma ennyiriri ezo n’obwegendereza. Oluvannyuma, wekkaanye ekibuuzo ekiddiridde buli kyawandiikibwa. Lowooza ku by’okuddamu. Oyinza okunoonyereza ku ky’osomye. Weebuuze ebibuuzo nga bino: ‘Ebintu bino binjigiriza ki ku Yakuwa? Binkwatako bitya? Nnyinza ntya okubikozesa okuyamba abalala?’

24 Okufumiitiriza mu ngeri eyo kiyinza okutuyamba okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Lwaki? Kubanga Bayibuli ekwataganya okufumiitiriza n’omutima. (Zabbuli 19:14) Bwe tufumiitiriza ku ebyo bye tuyiga ku Katonda, bituuka ku mutima gwaffe ogw’akabonero, ne bikwata ku ndowooza zaffe, enneewulira yaffe, era bituleetera okubaako kye tukolawo. Okwagala kwe tulina eri Katonda kweyongera, era ne kutukubiriza okwagala okumusanyusa nga Mukwano gwaffe ow’oku lusegere ennyo. (1 Yokaana 5:3) Okusobola okufuna enkolagana ng’eyo, tuteekwa okumanya engeri za Yakuwa n’amakubo ge. Ka tusooke twekkaanye engeri ya Katonda etukubiriza okubeera n’enkolagana ennungi naye, nga bwe butukuvu bwe.

a Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyogera ku maaso ga Katonda, amatu ge, ennyindo ze, akamwa ke, emikono gye, n’ebigere bye. (Zabbuli 18:15; 27:8; 44:3; Isaaya 60:13; Matayo 4:4; 1 Peetero 3:12) Ebigambo ng’ebyo tetuyinza kubitwala nga bwe biri, era nga bwe tutayinza kutwala Yakuwa okuba “Olwazi” lwennyini oba ‘engabo’ yennyini.—Ekyamateeka 32:4; Zabbuli 84:11.

Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako

  • Zabbuli 15:1-5 Yakuwa asuubira ki okuva eri abo abaagala okubeera mikwano gye?

  • Zabbuli 34:1-18 Yakuwa ali kumpi ne baani, era abalinga abo bayinza kuba bakakafu ku ki?

  • Zabbuli 145:18-21 Biki ebinaatusobozesa okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?

  • 2 Abakkolinso 6:14–7:1 Tulina kweyisa tutya bwe tuba ab’okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share