ESSUULA 28
‘Ggwe Mwesigwa Wekka’
1, 2. Lwaki kiyinza okugambibwa nti obutali bwesigwa tekyali kipya eri Kabaka Dawudi?
OBUTALI bwesigwa tekyali kipya eri Kabaka Dawudi. Mu kiseera ekimu eky’obufuzi bwe, ab’omu ggwanga lye bennyini baamulyamu olukwe nga baagala okwezza obwakabaka bwe. Ate era, abo abaali basuubirwa okuba mikwano gya Dawudi egy’oku lusegere, nabo baamulyamu olukwe. Lowooza ku Mikali, mukyala wa Dawudi eyasooka. Mu kusooka “yali ayagala Dawudi,” era awatali kubuusabuusa ng’amuwagira mu mirimu gye nga kabaka. Kyokka oluvannyuma ‘yamunyooma mu mutima gwe,’ n’atuuka n’okumuyita “omu ku basajja abasirusiru.”—1 Samwiri 18:20; 2 Samwiri 6:16, 20.
2 Ate lowooza ku Akisoferi, eyawanga Dawudi amagezi. Akisoferi yali assibwamu nnyo ekitiibwa era amagezi ge yawanga gaali gatwalibwa ng’agavudde eri Yakuwa. (2 Samwiri 16:23) Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera, omuwi w’amagezi oyo yeegatta ku abo abaajeemera Dawudi. Ani yakulemberamu olukwe olwo? Abusaalomu, mutabani wa Dawudi kennyini! Kalinkwe oyo ‘yatwaliriza emitima gy’abantu bonna ab’omu Isirayiri,’ era ne yeefuula kabaka. Abantu bangi nnyo beegatta ku Abusaalomu, Kabaka Dawudi n’atuuka n’okudduka okuwonya obulamu bwe.—2 Samwiri 15:1-6, 12-17.
3. Dawudi yali mukakafu ku ki?
3 Tewaaliwo n’omu eyasigala nga mwesigwa eri Dawudi? Mu buzibu obwo bwonna bwe yalimu, Dawudi yali amanyi nti waliwo eyali omwesigwa gy’ali. Ani? Yakuwa Katonda we. Dawudi yayogera bw’ati ku Yakuwa: “Eri omwesigwa naawe oba mwesigwa.” (2 Samwiri 22:26) Obwesigwa kye ki, era Yakuwa assaawo atya ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kuba omwesigwa?
Obwesigwa Kye Ki?
4, 5. (a) ‘Obwesigwa’ kye ki? (b) Obwesigwa ebintu ebitalina bulamu bye bulaga bwawukana butya ku obwo omuntu bw’alaga?
4 Okusinziira ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya “obwesigwa” kye kisa ekiragibwa omuntu oba ekintu okutuusa ng’ekigendererwa ky’okulaga ekisa ekyo kituukiridde. Omuntu omwesigwa aba n’okwagala. Omuwandiisi wa Zabbuli yayita omwezi “omujulirwa omwesigwa ali ku ggulu” kubanga tegwosa kulabika buli lunaku. (Zabbuli 89:37) Mu ngeri eno, omwezi gwesigika. Naye omwezi si mwesigwa mu ngeri omuntu gy’aba omwesigwa. Lwaki? Kubanga obwesigwa bw’omuntu bwoleka okwagala, ebintu ebitalina bulamu kwe bitayinza kwoleka.
Omwezi guyitibwa omujulirwa omwesigwa, naye ebitonde ebitegeera bye byokka ebiyinza okwoleka obwesigwa bwa Yakuwa
5 Mu Byawandiikibwa, obwesigwa buzingiramu omukwano. Wabaawo enkolagana wakati w’omuntu alaga obwesigwa n’oyo alagibwa obwesigwa. Obwesigwa ng’obwo tebusagaasagana. Tebulinga mayengo ga nnyanja agazzibwa eno n’eri olw’embuyaga. Obwesigwa busobozesa omuntu okuvvuunuka ebizibu eby’amaanyi ennyo.
6. (a) Kiki ekiraga nti obwesigwa bwa kkekwa mu bantu, era ekyo Bayibuli ekiraga etya? (b) Ngeri ki esingayo obulungi ey’okuyigamu ebizingirwa mu bwesigwa, era lwaki?
6 Kyo kituufu nti obwesigwa ng’obwo bwa kkekwa leero. Ng’ekyokulabirako, tutera okuwulira ab’omukwano nga “buli omu ayagala okutuusa akabi ku munne.” Emirundi mingi tuwulira abafumbo abaabulira bannaabwe. (Engero 18:24; Malaki 2:14-16) Enkwe nnyingi nnyo ne kiba nti oluusi tuwulira nga nnabbi Mikka eyagamba nti: “Mu nsi temukyali muntu mwesigwa.” (Mikka 7:2) Wadde ng’emirundi mingi abantu balemererwa okuba abeesigwa, ye Yakuwa mwesigwa. Mu butuufu, engeri esingayo obulungi ey’okumanya ekizingirwa mu bwesigwa, kwe kwekenneenya engeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri eno eraga okwagala kwe.
Obwesigwa bwa Yakuwa Obutageraageranyizika
7, 8. Lwaki kiyinzika okugambibwa nti Yakuwa yekka ye mwesigwa?
7 Bayibuli eyogera bw’eti ku Yakuwa: “Ggwe wekka ggwe mwesigwa.” (Okubikkulirwa 15:4) Ekyo kisoboka kitya? Waliwo abantu bangi ne bamalayika abakyolese nti beesigwa nnyo. (Yobu 1:1; Okubikkulirwa 4:8) Ate Yesu Kristo? Si y’asingayo okuba ‘omwesigwa’ eri Katonda? (Zabbuli 16:10) Kati olwo, lwaki Bayibuli egamba nti Yakuwa yekka ye mwesigwa?
8 Okusookera ddala, jjukira nti obwesigwa ngeri emu ey’okwagala. Okuva bwe kiri nti “Katonda kwagala,” ani ayinza okwoleka obwesigwa okumusinga? (1 Yokaana 4:8) Kyo kituufu nti bamalayika n’abantu bayinza okwoleka engeri za Katonda, naye Yakuwa yekka y’ayoleka obwesigwa ku kigero ekisingirayo ddala. Olw’okuba “Abaddewo Okuva Edda n’Edda,” alaze okwagala okutajjulukuka okumala ekiseera kiwanvu okusinga ekitonde kyonna, ku nsi ne mu ggulu. (Danyeri 7:9) Bwe kityo, Yakuwa y’asingirayo ddala okwoleka obwesigwa. Ayoleka engeri eno mu ngeri omuntu yenna gy’atayinza kugyolekamu. Lowooza ku byokulabirako bino.
9. Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali ‘omwesigwa mu byonna by’akola’?
9 Yakuwa “mwesigwa mu byonna by’akola.” (Zabbuli 145:17) Mu ngeri ki? Zabbuli 136 etuwa eky’okuddamu. Mu Zabbuli eyo tusoma ku bintu bingi ebyewuunyisa Yakuwa bye yakola okununula abantu be. Ng’ekyokulabirako, yayisa Abayisirayiri mu Nnyanja Emmyufu. Buli lunyiriri olwa Zabbuli eno lulimu ebigambo bino: “Okwagala kwe okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.” Zabbuli eno eteekeddwa mu ‘Bibuuzo eby’Okufumiitirizaako’ ku lupapula 289. Bw’onoosoma ennyiriri ezo, ojja kulaba engeri Yakuwa gye yalagamu abantu be okwagala okutajjulukuka mu ngeri ez’enjawulo. Mazima ddala, Yakuwa mwesigwa eri abaweereza be abeesigwa era bwe bamukaabirira okubayamba abaako ne ky’akolawo mu kiseera kye ekituufu. (Zabbuli 34:6) Yakuwa abeera mwesigwa eri abaweereza be kasita basigala nga beesigwa gy’ali.
10. Yakuwa alaga atya obwesigwa ku bikwata ku mitindo gye?
10 Okugatta ku ekyo, Yakuwa ayoleka obwesigwa bwe eri abaweereza be ng’anywerera ku mitindo gye. Okwawukana ku bantu abakyukakyuka era abamala gakola ebintu olw’okukwatibwa ekinyegenyege, Yakuwa takyukakyuka bwe kituuka ku kituufu n’ekikyamu. Wadde nga wayiseewo emyaka mingi nnyo, endowooza gy’alina ku bintu gamba ng’obusamize, okusinza ebifaananyi, n’ettemu, tekyuse. Yayogera bw’ati okuyitira mu nnabbi Isaaya: “N’okutuusa lw’olikaddiwa, sirikyuka.” (Isaaya 46:4) Bwe kityo, tuli bakakafu nti tujja kuganyulwa bwe tugoberera obulagirizi obukwata ku mpisa obusangibwa mu Kigambo kya Katonda.—Isaaya 48:17-19.
11. Waayo ebyokulabirako ebiraga nti Yakuwa atuukiriza by’asuubiza.
11 Yakuwa era alaga obwesigwa ng’atuukiriza bye yasuubiza. Bw’alagula ekintu, kituukirira. N’olwekyo, Yakuwa yagamba nti: “Ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiriba. Tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola buli kye njagala, era kirituukiririza ddala ekyo kye nkituma okukola.” (Isaaya 55:11) Bw’atuukiriza ekigambo kye, Yakuwa akiraga nti mwesigwa eri abantu be. Tabasuubiza kintu ky’atagenda kutuukiriza. Yakuwa akiraze nti mwesigwa nnyo ne kiba nti omuweereza we Yoswa yagamba nti: “Tewali kisuubizo na kimu ekitaatuukirira ku bisuubizo byonna ebirungi Yakuwa bye yasuubiza ennyumba ya Isirayiri; byonna byatuukirira.” (Yoswa 21:45) N’olwekyo, tuli bakakafu nti byonna Yakuwa bye yasuubiza bijja kutuukirira, kubanga tayinza kulemererwa kutuukiriza bisuubizo bye.—Isaaya 49:23; Abaruumi 5:5.
12, 13. Mu ngeri ki okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka gye kuli ‘okw’emirembe n’emirembe’?
12 Nga bwe twalabye emabegako, Bayibuli eraga nti okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka “kwa mirembe na mirembe.” (Zabbuli 136:1) Mu ngeri ki? Engeri emu ekyo gye kyeyolekamu ekwata ku ekyo ky’akola ng’atusonyiye ebibi. Nga bwe twalaba mu Ssuula 26, tanonooza bibi eby’emabega by’aba yasonyiwa omuntu. Okuva bwe kiri nti abantu “bonna baayonoona ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda,” buli omu ku ffe yandibadde musanyufu olw’okuba okwagala kwa Katonda okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe.—Abaruumi 3:23.
13 Naye okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kwa mirembe na mirembe ne mu ngeri endala. Ekigambo kye kigamba nti omutuukirivu “anaabanga ng’omuti ogwasimbibwa okumpi n’emikutu gy’amazzi, ogubala ebibala mu kiseera kyagwo, era ebikoola byagwo tebiwotoka. Buli ky’akola ebivaamu biba birungi.” (Zabbuli 1:3) Lowooza ku muti omugimu ng’ebikoola byagwo tebiwotoka! Naffe singa twagala Ekigambo kya Katonda era ne tufuba okukyesomesa, obulamu bwaffe bujja kubaamu emirembe era tujja kuwangaala. Emikisa Yakuwa gy’awa abaweereza be abeesigwa gya lubeerera. Mu nsi empya Yakuwa ajja kulaga abantu be abawulize okwagala okutajjulukuka emirembe n’emirembe.—Okubikkulirwa 21:3, 4.
Yakuwa ‘Talyabulira Abo Abeesigwa gy’Ali’
14. Yakuwa atwala atya obwesigwa bw’abaweereza be?
14 Enfunda n’enfunda Yakuwa akiraze nti mwesigwa. Okuva bwe kiri nti Yakuwa takyukakyuka, obwesigwa bw’alaga abaweereza be tebuddirira. Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika bw’ati: “Nnali muto, naye kati nkaddiye, kyokka sirabangako mutuukirivu ayabuliddwa, wadde abaana be nga basabiriza emmere. Kubanga Yakuwa ayagala obwenkanya, era talyabulira abo abeesigwa gy’ali.” (Zabbuli 37:25, 28) Kyo kituufu nti tulina okusinza Yakuwa kubanga ye yatutonda. (Okubikkulirwa 4:11) Wadde kiri kityo, olw’okuba Yakuwa mwesigwa, asiima nnyo ebikolwa byaffe eby’obwesigwa.—Malaki 3:16, 17.
15. Engeri Yakuwa gye yakolaganamu n’Abayisirayiri eyoleka etya obwesigwa bwe? Nnnyonnyola.
15 Olw’okuba alina okwagala okutajjulukuka, enfunda n’enfunda Yakuwa ayamba abantu be nga bali mu nnaku. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Akuuma obulamu bw’abantu be abeesigwa; abanunula mu mukono gw’omubi.” (Zabbuli 97:10) Lowooza ku ngeri gye yakolaganamu n’eggwanga lya Isirayiri. Oluvannyuma lw’okununulibwa mu Nnyanja Emmyufu, Abayisirayiri baayimbira Yakuwa nti: “Olw’okwagala kwo okutajjulukuka okulembedde abantu b’onunudde.” (Okuva 15:13) Okununulibwa okwaliwo ku Nnyanja Emmyufu, kyali kikolwa ekyoleka obwesigwa. N’olwekyo, Musa yagamba Abayisirayiri nti: “Yakuwa yabaagala era n’abalonda, si lwa kuba nti mmwe mwali musinga amawanga gonna obungi; mmwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna. Naye olw’okuba Yakuwa yabaagala, era olw’okuba yakuuma ekirayiro kye yalayirira bajjajjammwe, Yakuwa kyeyava abaggyayo n’omukono ogw’amaanyi, abanunule okuva mu nnyumba ey’obuddu, okuva mu mukono gwa Falaawo kabaka wa Misiri.”—Ekyamateeka 7:7, 8.
16, 17. (a) Mu ngeri ki Abayisirayiri gye bataasiima Yakuwa, kyokka yabasaasira atya? (b) Engeri Abayisirayiri abasinga obungi gye beeyisaamu yalaga etya nti ‘waali tewakyaliwo ssuubi lyonna lya kubawonya,’ era ekyo kituyigiriza ki?
16 Kya lwatu, ng’eggwanga, Abayisirayiri baalemererwa okusiima okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka, kubanga oluvannyuma lw’okununulibwa “beeyongera okwonoona bwe baajeemera oyo Asingayo Okuba Waggulu nga bali mu ddungu.” (Zabbuli 78:17) Emyaka bwe gyagenda giyitawo, baajeema enfunda n’enfunda ne baleka Yakuwa, ne basinza bakatonda ab’obulimba era ne beenyigira mu bikolwa eby’ekikaafiiri ebyaboonoonera ddala. Wadde kyali kityo, Yakuwa teyamenya ndagaano gye yakola nabo. Wabula okuyitira mu nnabbi Yeremiya, yeegayirira abantu be nti: “Ggwe Isirayiri omujeemu, komawo, . . . sijja kukutunuuliza busungu, kubanga ndi mwesigwa.” (Yeremiya 3:12) Kyokka nga bwe twalaba mu Ssuula 25, Abayisirayiri abasinga obungi tebeenenya bibi byabwe. Mu kifo ky’ekyo, “baajereganga ababaka ba Katonda ow’amazima ne banyooma ebigambo bye era ne basekerera ne bannabbi be.” Biki ebyavaamu? Mu nkomerero, “obusungu bwa Yakuwa . . . bwabuubuukira abantu be, okutuusa lwe kyali nti waali tewakyali ssuubi lyonna lya kubawonya.”—2 Ebyomumirembe 36:15, 16.
17 Kiki kye tuyigamu? Tuyiga nti obwesigwa bwa Yakuwa bwesigamiziddwa ku misingi. Kyo kituufu nti Yakuwa “alina okwagala kungi okutajjulukuka,” era mwetegefu okusaasira nga waliwo ensonga esinziirwako okusaasira. Naye kiki ekibaawo singa omwonoonyi agugubira mu kibi kye? Mu mbeera ng’eyo, Yakuwa anywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu era n’abonereza ababi. Nga Musa bwe yagambibwa, talema “kubonereza oyo aliko omusango.”—Okuva 34:6, 7.
18, 19. (a) Lwaki Yakuwa okubonereza ababi kikolwa kya bwesigwa? (b) Yakuwa anaayoleka atya obwesigwa eri abaweereza be abayigganyiziddwa ne batuuka n’okuttibwa?
18 Katonda okubonereza ababi nakyo kikolwa kya bwesigwa. Mu ngeri ki? Ensonga emu lwaki ekikolwa ekyo kya bwesigwa esangibwa mu kitabo ky’Okubikkulirwa mu kiragiro Yakuwa ky’awa bamalayika omusanvu. Abagamba nti: “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu eby’obusungu bwa Katonda.” Malayika ow’okusatu bw’afuka ekibya kye “mu migga ne mu nsulo z’amazzi,” bifuuka musaayi. Awo malayika n’agamba Yakuwa nti: “Ggwe aliwo era eyaliwo, Omwesigwa, oli mutuukirivu kubanga osaze emisango gino. Olw’okuba baayiwa omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi, naawe obawadde omusaayi bagunywe. Kibagwanira.”—Okubikkulirwa 16:1-6.
19 Weetegereze nti bwe yali alangirira obubaka obwo obw’omusango ogwasalibwa, malayika yayita Yakuwa “Omwesigwa.” Lwaki? Kubanga mu kuzikiriza ababi, Yakuwa ayoleka obwesigwa eri abaweereza be, nga bangi ku bo bayigganyiziddwa ne batuuka n’okuttibwa. Olw’okuba Yakuwa mwesigwa, ajjukira abaweereza be abo. Ayagala nnyo okuddamu okulaba abaweereza be abeesigwa abaafa, era Bayibuli ekakasa nti ajja kubazuukiza. (Yobu 14:14, 15) Yakuwa teyeerabira baweereza be abeesigwa olw’okuba bafudde. Wabula “eri ye bonna balamu.” (Lukka 20:37, 38) Ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuzuukiza abalinga abo, bujulizi bwa maanyi obulaga nti mwesigwa.
Olw’okuba mwesigwa, Yakuwa ajja kujjukira era azuukize bonna ababadde abeesigwa gy’ali ne batuuka n’okuttibwa
Bernard Luimes (waggulu) ne Wolfgang Kusserow (wakati) battibwa Abanazi
Moses Nyamussua yafumitibwa effumu ab’ekibiina ekimu eky’obufuzi n’afa
Obwesigwa bwa Yakuwa Busobozesa Abantu Okufuna Obulokozi
20. “Ebibya eby’okusaasirwa” be baani, era Yakuwa abalaga atya obwesigwa?
20 Mu byafaayo byonna, Yakuwa alaze abantu be abeesigwa obwesigwa obw’ekitalo. Mu butuufu, okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, Yakuwa ‘agumiikiriza nnyo ebibya eby’obusungu ebigwanidde okuzikirizibwa.’ Lwaki? “Asobole okumanyisa ekitiibwa kye ekingi ennyo eri ebibya eby’okusaasirwa bye yateekerateekera edda ekitiibwa.” (Abaruumi 9:22, 23) “Ebibya eby’okusaasirwa” be bantu ab’emitima emirungi abaafukibwako omwoyo omutukuvu basobole okufugira awamu ne Kristo mu Bwakabaka bwe. (Matayo 19:28) Yakuwa okusobozesa abantu abo okufuna obulokozi, yalaga nti mwesigwa eri Ibulayimu, gwe yakola naye endagaano eno: “Amawanga gonna ag’oku nsi galyefunira omukisa okuyitira mu zzadde lyo olw’okuba owulirizza eddoboozi lyange.”—Olubereberye 22:18.
Olw’okuba mwesigwa, Yakuwa ajja kujjukira era azuukize bonna ababadde abeesigwa gy’ali ne batuuka n’okuttibwa
21. (a) Yakuwa alaga atya obwesigwa eri ‘ab’ekibiina ekinene’ abalina essuubi ery’okuyita mu “kibonyoobonyo ekinene”? (b) Obwesigwa bwa Yakuwa bwandikuleetedde kukola ki?
21 Yakuwa alaga obwesigwa bwe bumu eri ‘ab’ekibiina ekinene’ abalina essuubi ery’okuwonawo mu “kibonyoobonyo ekinene” era n’okubeera abalamu emirembe gyonna ku nsi. (Okubikkulirwa 7:9, 10, 14) Wadde abaweereza be tebatuukiridde, Yakuwa abawa omukisa ogw’okubeera abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwe ku nsi. Ekyo akikola atya? Okuyitira mu kinunulo, ekikolwa ekisingayo okwoleka obwesigwa bwa Yakuwa. (Yokaana 3:16; Abaruumi 5:8) Obwesigwa bwa Yakuwa busikiriza abo abaagala obutuukirivu. (Yeremiya 31:3) Towulira ng’olina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa olw’obwesigwa bw’alaze era n’obwo bw’aliraga? Okuva bwe twagala okufuna enkolagana ennungi ne Katonda, ka tukirage nti tusiima okwagala kwe okutajjulukuka nga tuba bamalirivu okumuweereza n’obwesigwa.