Kirimu Emiganyulo Okuba Omwesigwa
MU NSI ezimu, abaana banyumirwa okuzannyisa obusigo obukwatira nga ssere nga babuteeka ku ngoye za bannaabwe. Bwe babuteeka ku lugoye lw’omu, tebusobola kumuvaako ne bw’atambula, n’adduka, ne yekunkumula oba okubuukabuuka. Engeri yokka gy’ayinza okubweggyako, kwe kubwenojjolako kamu ku kamu. Omuzannyo ogwo gunyumira nnyo abaana.
Kya lwatu, tewali ayagala busigo ng’obwo kukwatira ku lugoye lwe, naye kyewuunyisa engeri gye bukwatira ku ngoye. Omuntu omwesigwa aba ng’obusigo obwo. Akuuma enkolagana gy’aba nayo n’omuntu omulala. Embeera ne bw’eba nzibu etya, atuukiriza obuvunaanyizibwa bwe okusobola okukuuma enkolagana eyo. Ekigambo ‘obwesigwa’ kituleetera okulowooza ku bintu ng’okuba ow’amazima, okunywerera ku muntu oba okumwemalirako. Kyokka, oyinza okusiima ng’abalala babadde beesigwa gy’oli, naye ggwe oli mwetegefu okuba omwesigwa gye bali? Bwe kiba bwe kityo, wandibadde mwesigwa eri baani?
Okuba Omwesigwa—Kikulu Nnyo mu Bufumbo
Wadde obwesigwa bwetaagibwa nnyo mu bufumbo, kya nnaku nnyo nti abafumbo bangi si beesigwa eri bannaabwe. Omwami n’omukyala abakuuma ekirayiro ky’obufumbo, kwe kugamba, buli omu n’anywerera ku munne era ng’amufaako, bafuna essanyu n’obumativu. Lwaki? Kubanga mu butonde abantu baagala omuntu eyeesigika era nabo baagala okubeesiga. Adamu ne Kaawa bwe baafumbiriganwa mu lusuku Adeni, Katonda yagamba nti: “Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, [n’anywerera ku] mukazi we.” N’omukazi yandikoze kye kimu n’anywerera ku musajja we. Omusajja n’omukazi buli omu yali wa kuba mwesigwa eri munne era nga bakolaganira wamu.—Olubereberye 2:24; Matayo 19:3-9.
Kyo kituufu nti ebigambo bino byayogerwa emyaka mingi nnyo emabega. Kino kitegeeza nti okukuuma obwesigwa mu bufumbo tekikyali kikulu? Abasinga obungi bandizzeemu nti, nedda. Okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa mu Bugirimaani, abantu 80 ku kikumi baagamba nti okuba omwesigwa mu bufumbo kikulu nnyo. Mu kunoonyereza okulala okwakolebwa, baasaba abasajja okumenya engeri ttaano ze bandyagadde mu bakazi, era ne basaba n’abakazi okumenya engeri ttaano ze bandyagadde mu basajja. Abasinga obungi baagamba nti bandyagadde omuntu omwesigwa.
Yee, obwesigwa kye kimu ku bintu ebinyweza obufumbo. Kyokka, nga bwe tulabye mu kitundu ekivuddeko, abantu baagala abalala babe beesigwa gye bali naye bo tebaagala kuba beesigwa. Ng’ekyokulabirako, olw’okuba mu nsi nnyingi abafumbo bangi bagattululwa, kiraga nti obutali bwesigwa bucaase nnyo. Kati olwo abafumbo basobola batya okusigala nga beesigwa eri bannaabwe?
Obwesigwa Bunyweza Obufumbo
Buli omu ku bafumbo asobola okulaga nti mwesigwa eri munne ng’amulaga okwagala. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okugamba nti “kyange,” kiba kirungi okukozesa ebigambo nga “kyaffe,” “mikwano gyaffe,” “abaana baffe,” “amaka gaffe,” “bye tuyiseemu,” n’ebirala. Bwe baba balina kye bateekateeka okukola oba nga balina bye basalawo gamba nga ku bikwata ku w’okusula, emirimu, engeri y’okukuzaamu abaana, eby’okwesanyusaamu, aw’okuwummulira, oba ebikwata ku kusinza—kyandibadde kya magezi omwami n’omukyala buli omu okufaayo ku ngeri munne gy’annaayisibwamu ne ku ndowooza gy’alina ku nsonga eyo.—Engero 11:14; 15:22.
Abafumbo balaga nti beesigwa singa buli omu alaga munne nti amwetaaga. Omu ayisibwa bubi singa munne ayoleka omukwano eri omuntu omulala bwe batafaananya kikula. Baibuli ekubiriza omusajja okunywerera ku ‘mukazi ow’omu buvubuka bwe.’ N’olwekyo omusajja tateekwa kwegomba mukazi mulala yenna. Mazima ddala tateekwa kwenyigira mu bikolwa bya bugwenyufu na mukazi omulala. Baibuli etulabula nti: “Ayenda ku mukazi talina kutegeera: ayagala okuzikiriza obulamu bwe.” Omukazi naye ateekwa okugoberera omusingi ogwo.—Engero 5:18; 6:32.
Okuba omwesigwa mu bufumbo kirimu omuganyulo gwonna? Awatali kubuusabuusa. Kinyweza obufumbo era buli omu ku bafumbo aganyulwa. Ng’ekyokulabirako, singa omusajja afaayo ku mukazi we, mukazi we ajja kuba mumativu era kijja kumuleetera okwoleka engeri ennungi. N’omwami naye ajja kukola kye kimu singa mukyala we amufaako. Ate era, singa omwami aba mwesigwa eri mukazi we, kijja kumuyamba okunywerera ku misingi egy’obutuukirivu mu buli ky’akola.
Singa omwami n’omukyala bafuna ekizibu, obwesigwa bujja kubayamba buli omu okunywerera ku munne. Ku luuyi olulala, obufumbo bwe butabaamu bwesigwa abafumbo kye basooka okulowoozaako nga wazzeewo ebizibu, kwe kwawukana oba okugattululwa. Mu kifo ky’okugonjoola ebizibu, kino kyongera kuleetawo bizibu birala. Mu myaka gya 1980, kakensa omu mu by’emisono yayawukana ne mukyala we era n’ayabulira ab’omu maka ge. Yafuna essanyu ng’asigadde bwannamunigina? Oluvannyuma lw’emyaka abiri yagamba nti “yafuna ekiwuubaalo, yabulwa emirembe era teyeebakanga, ng’alowooza ku baana be.”
Obwesigwa Wakati w’Abazadde n’Abaana
Abazadde bwe babeera abeesigwa, n’abaana nabo batera okuba abeesigwa. Abaana bwe bakulira mu maka omuli obwesigwa n’okwagala, kijja kubanguyira okufaayo ku bannaabwe mu bufumbo n’okulabirira bazadde baabwe abakaddiye.—1 Timoseewo 5:4, 8.
Kyokka, tekitegeeza nti emirundi gyonna abazadde be basooka okunafuwa. Ebiseera ebimu kyetaagisa abazadde okulabirira abaana baabwe mu ngeri ey’enjawulo. Kino kye kyatuuka ku Herbert ne Gertrud—abamaze emyaka egissuka 40 nga Bajulirwa ba Yakuwa. Mutabani waabwe Dietmar, yafuna obulwadde obw’ebinywa. Mu myaka omusanvu egyasembayo nga tannafa, mu Noovemba 2002, Dietmar yali yeetaaga okulabirirwa buli kiseera. Bazadde be baamulabirira era baakikola mu ngeri ey’okwagala. Baatuuka n’okuteeka mu maka gaabwe ebikozesebwa mu kujjanjaba obulwadde bw’omwana waabwe era ne basoma n’engeri y’okumujjanjabamu. Nga baateekawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’okukuuma obwesigwa mu maka!
Obwesigwa Bwetaagibwa mu Kukuuma Emikwano
Birgit yakyetegereza nti: “Omuntu atali mufumbo asobola okuba omusanyufu, naye atalina mikwano tasobola kuba musanyufu.” Oboolyawo ekyo naawe okikkiriza. K’obe ng’oli mufumbo oba nga toli, mukwano gwo bw’abeera omwesigwa gy’oli, kikuleetera essanyu era weeyongera okumwagala. Kya lwatu, bw’oba omufumbo, mukwano gwo asinga okuba ow’oku lusegere alina kuba munno mu bufumbo.
Ow’omukwano si ye muntu gw’omanyi obumanya oba gwe wali olabyeko. Wayinza okubaawo abantu bangi be tumanyi gamba nga baliraanwa baffe, bakozi bannaffe, oba abo be tutera okusanga. Kyokka, okukola omukwano ogwa nnamaddala kyetaagisa okuwaayo ebiseera, amaanyi, n’okufaayo ku nneewulira ya mukwano gwo. Kirungi okubeera mukwano gw’omuntu. Wadde okukola omukwano kirimu emiganyulo, kizingiramu okutuukiriza obuvunaanyizibwa.
Tuteekwa okuba n’empuliziganya ennungi ne mikwano gyaffe. Emirundi egimu kino tuyinza okukikola olw’obwetaavu obubaawo. Birgit agamba nti: “Omu ku ffe bw’aba n’ekizibu, buli omu akubira munne essimu omulundi gumu oba ebiri mu wiiki. Kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti olina omuntu akufaako era nga mwetegefu okukuwuliriza.” Abantu basobola okuba ab’omukwano ne bwe baba nga tebali mu kitundu kye kimu. Wadde nga Gerda ali mayilo nkumi na nkumi okuva awali Helga, babadde ba mukwano nnyo okumala emyaka egissuka 35. Gerda agamba: “Buli omu atera okuwandiikira munne n’amubuulira ku bimusanyusizza n’ebimunakuwazizza. Ebbaluwa za Helga zinsanyusa nnyo. Ffembi tulina endowooza y’emu.”
Obwesigwa bwetaagibwa bwe tuba ab’okukuuma emikwano. Omuntu bw’ataba mwesigwa eri mukwano gwe, omukwano gwabwe gusobola okufa ne bwe guba nga gumaze ekiseera kiwanvu. Ab’omukwano batera okuwaŋŋana amagezi ne ku nsonga ez’omunda. Buli omu yeeyabiza munne awatali kutya kwonna ng’amanyi nti ajja kukuuma ekyama kye. Baibuli egamba nti: “Ow’omukwano ayagala mu biro byonna, era ow’oluganda yazaalirwa obuyinike.”—Engero 17:17.
Okuva bwe kiri nti emikwano gyaffe girina kinene kye gikola ku ndowooza yaffe, enneewulira yaffe n’empisa zaffe, kikulu nnyo okukola omukwano n’omuntu bwe mukwatagana. Ng’ekyokulabirako, kakasa nti okola emikwano n’abo bwe mukkiriziganya, bwe mufaananya empisa, n’emitindo egikwata ku kituufu n’ekikyamu. Emikwano ng’egyo gijja kukuyamba okutuuka ku biruubirirwa byo. Lwaki wandyagadde okuba mukwano gw’omuntu agoberera emitindo gy’empisa egyawukana ku gigyo? Baibuli eraga obukulu bw’okulonda emikwano emirungi bw’egamba nti: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi naawe oliba n’amagezi: naye munaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.”—Engero 13:20.
Osobola Okuyiga Okuba Omwesigwa
Omwana bw’ayiga okuteeka obusigo ku lugoye lwa munne ne bukwatirako, ajja kwagala okukikola enfunda n’enfunda. Bwe kityo bwe kiba ne ku muntu omwesigwa. Lwaki? Kubanga gye tukoma okubeera abeesigwa gye kikoma n’okutwanguyira okwoleka engeri eyo. Omuntu bw’ayiga okuba omwesigwa eri banne abali mu maka ng’akyali muto, kijja kumwanguyira okuba omwesigwa eri mikwano gye ng’akuze. Obwesigwa obwo bw’aba nabwo eri mikwano gye bujja kumuyamba ng’ayingidde obufumbo. Ate era kijja kumuyamba okuba omwesigwa eri ow’omukwano asingiridde.
Yesu yagamba nti etteeka erisinga obukulu kwe kwagala Yakuwa Katonda n’omutima gwaffe gwonna, n’emmeeme yaffe yonna, n’amagezi gaffe gonna, era n’amaanyi gaffe gonna. (Makko 12:30) Kino kitegeeza nti mu buli ngeri tulina okuba abeesigwa eri Katonda. Okubeera abeesigwa eri Yakuwa Katonda kirimu emiganyulo mingi. Tajja kutwabulira, kubanga agamba: “Ndi mwesigwa.” (Yeremiya 3:12, NW) Mazima ddala bwe tubeera abeesigwa eri Katonda, kivaamu emiganyulo egy’olubeerera.—1 Yokaana 2:17.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]
Mukwano gwo bw’abeera omwesigwa gy’oli kikuleetera essanyu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Ab’omu maka abeesigwa baba bafaayo ku byetaago bya bannaabwe