Ddala Kirimu Emiganyulo Okuba Omwesigwa?
KARL yagamba Jensa nti: “Insuwalensi y’obulamu bwo ogisasulira ssente nnyingi nnyo. Singa okyusa n’otandika okusasulira mu kampuni yange, ojja kusobola okuffisaawo doola 20 buli mwezi. Mu butuufu ezo ziba ssente nnyingi nnyo.”
“Kyandiba ekituufu,” bw’atyo Jens bwe yamuddamu. “Naye mmaze emyaka mingi nga nsasulira mu kampuni eno. Ennyambye nnyo era saagala kugivaako.”
Karl yamugamba nti; “Kirungi okuba omwesigwa, naye kampuni eyo ekutwalako ssente nyingi nnyo!”
Karl yali mutuufu. Emirundi mingi okuba omwesigwa kiyinza okukwetaagisa okufiirwa ssente. Ate era kyetaagisa okuwaayo ebiseera, amaanyi n’okulaga okufaayo. Naye ddala kivaamu emiganyulo?
Bangi Bagamba nti Kirungi Okuba Omwesigwa, Naye Bo Tebaagala Kuba Beesigwa
Mu kunoonyereza okwakolebwa ekitongole kya Allensbach Opinion Research Institute eky’omu Bugirimaani, abantu 96 ku kikumi abaabuuzibwa baagamba nti kirungi okuba omwesigwa. Bwe baakola okunoonyereza okulala mu abo abali wakati w’emyaka 18 ne 24, abantu 2 ku 3 be bakkiriza nti kirungi okuba omwesigwa.
Wadde nga bangi bagamba nti kirungi okuba omwesigwa, bo tebaagala kuba beesigwa. Ng’ekyokulabirako, mu nsi nnyingi eza Bulaaya, ab’omu maka oba abafumbo tebatera kuba beesigwa eri bannaabwe. Ab’emikwano nabo tebatera kwesigaŋŋana. Era embeera bw’etyo bw’eri wakati w’abakozi ne bakama baabwe, n’abasuubuzi ne bakasitoma baabwe. Lwaki kiri bwe kityo?
Ensonga eri nti ebiseera ebimu abantu baba n’eby’okukola bingi ne batafuna kiseera kimala oba ne balemererwa okutuukiriza ebyo bye baba beeyamye. Ate era, abantu bwe bataba beesigwa, kiviirako n’abalala okulekera awo okuba abeesigwa. Abalala bo baagala bya buliwo kubanga kino kiba tekibeetaagisa kukuuma bwesigwa.
K’ebe nsonga ki eviirako abantu obutaba beesigwa, bangi bagamba nti kirungi okuba omwesigwa naye bo tebaagala kuba beesigwa. Kati ekyebuuzibwa kiri nti: Okuba omwesigwa kirimu omuganyulo gwonna? Bwe kiba bwe kityo, twandibadde beesigwa eri baani era mu ngeri ki? Miganyulo ki egiri mu kubeera abeesigwa?
[Obugambo obuli wansi]
a Amannya agamu gakyusiddwa mu kitundu kino ne mu kitundu ekiddako.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
Bangi bagamba nti kirungi okuba omwesigwa naye bo tebaagala kuba beesigwa