“Katonda Kwagala”
Printed Edition
1. Katonda waffe kwagala,
Naffe tukwolekenga.
Bwe twoleka okwagala,
Era tuba ba kisa.
Olwo ’bulamu ne buba
Nga ddala bweyagaza.
Okwagala ng’okwa Kristo,
Tuba tukwolesezza.
2. Katonda bwe tumwagala;
Twagala n’abalala.
Afaayo okutuyamba;
Mw’ebyo ebitulema.
Okwagala kulongoofu;
Kwa kisa, si kwa buggya.
Twagale ab’oluganda.
Ffe tujj’okuganyulwa.
3. Ekiruyi si kirungi;
Tekikutwaliriza.
Katonda gw’oba weesiga;
Era ’jja kukuyamba,
Okuyiga okwagala,
Era n’okukwoleka.
Twagalenga abalala
Nga tukoppa Katonda.
(Era laba Mak. 12:30, 31; 1 Kol. 12:31–13:8; 1 Yok. 3:23.)