OLUYIMBA 105
“Katonda Kwagala”
Printed Edition
	- 1. Katonda waffe kwagala, - Naffe tukwolekenga. - Bwe twoleka okwagala - Era tuba ba kisa. - Olwo ’bulamu ne buba - Nga ddala bweyagaza. - Okwagala ng’okwa Kristo - Tuba tukwolesezza. 
- 2. Katonda bwe tumwagala, - Twagala n’abalala. - Afaayo okutuyamba - Mw’ebyo ebitulema. - Okwagala kulongoofu; - Kwa kisa; si kwa buggya. - Bwe twagala ’b’oluganda - Ffe tujj’o kuganyulwa. 
- 3. Okusiba ekiruyi - Kwewalirenga ddala. - Katonda gw’oba weesiga, - Era ’jja kukuyamba - Okuyiga okwagala - Era n’okukwoleka. - Ka twagalenga ’balala - Nga tukoppa Katonda. 
(Laba ne Mak. 12:30, 31; 1 Kol. 12:31–13:8; 1 Yok. 3:23.)