Oluyimba 125
Okugondera Enteekateeka ya Teyokulase
Printed Edition
1. ‘Bantu ba Yakuwa balanga mu nsi
Amazima g’omuwendo omungi.
Bagondera ddala enteekateeka
Ya teyokulase, babe beesigwa.
(CHORUS)
Tugonderenga, tunywererenga,
Ku Katonda waffe.
Ye y’atukuuma era ’twagala;
Tumunywerereko ye.
2. Tulin’o mwoyo gwe n’omuwanika.
Ebyo bituyamba; bituluŋŋamya.
Katonda by’asiima, tubikolenga;
Tulangirirenga by’atulagira!
(CHORUS)
Tugonderenga, tunywererenga,
Ku Katonda waffe.
Ye y’atukuuma era ’twagala;
Tumunywerereko ye.
(Era laba Luk. 12:42; Beb. 13:7, 17.)