OLUYIMBA 123
Okugoberera Enteekateeka Katonda gy’Ataddewo
Printed Edition
	- 1. ’Bantu ba Yakuwa balanga mu nsi - Amazima g’omuwendo omungi. - Bagoberera nnyo enteekateeka - Ya Katonda waffe; beesigwa ddala. - (CHORUS) - Tugonderenga, tunywererenga - Ku Katonda waffe. - Ye y’atukuuma era ’twagala; - Ka tumunywerereko. 
- 2. Tulin’o mwoyo gwe n’omuwanika. - Ebyo bituyamba; bituluŋŋamya. - Ebyo by’ayagala, tubikolenga; - Tulangirirenga by’atulagira. - (CHORUS) - Tugonderenga, tunywererenga - Ku Katonda waffe. - Ye y’atukuuma era ’twagala; - Ka tumunywerereko. 
(Laba ne Luk. 12:42; Beb. 13:7, 17.)