Oluyimba 24
Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
Printed Edition
1. Bamuzibe nga balaba,
Bakiggala bawulira,
Ng’amalungu gaanya gonna
Ng’olukoola lumulisa,
Abalema nga babuuka,
Ng’olaba ’baagalwa wonna;
Byonna ojja kubiraba,
Kuumira ’maaso ku mpeera.
2. ’Batoogera nga boogera,
Ng’abakadde badda buto,
Ensi ereete ’kyengera
Ebirungi tebiriggwa,
Ng’abaana bayimba wonna,
Ssanyu na mirembe wonna,
Olabe n’abazuukira,
Kuumira ’maaso ku mpeera
3. Emisege n’obuliga,
Nga byonna biriira wamu,
Omwana alibiyita,
Era birimugondera.
Ng’amaziga tewakyali,
Era wadde obulumi,
Katonda y’alibikola,
Kuumira ’maaso ku mpeera.
(Era laba Is. 11:6-9; 35:5-7; Yok. 11:24.)