OLUYIMBA 144
Kuumira Amaaso Go ku Mpeera!
Printed Edition
1. Bamuzibe bajja kulaba;
Bakiggala baliwulira,
Era n’abaana baliyimba,
Ng’essanyu libunye wonna.
Abafu balizuukizibwa,
Babeere ku nsi ’lubeerera,
(CHORUS)
Byonn’e byo ojja kubiraba.
Kuumira ’maaso ku mpeera.
2. Ate ’misege n’obuliga,
Biriba biriiranga wamu,
Era omwana ’libiyita,
Nabyo birimugondera.
Ng’amaziga tegakyaliwo,
N’obulumi nga buweddewo,
(CHORUS)
Byonn’e byo ojja kubiraba.
Kuumira ’maaso ku mpeera.
(Laba ne Is. 11:6-9; 35:5-7; Yok. 11:24.)