Oluyimba 142
Okubuulira Abantu Aba Buli Ngeri
Wanula:
Twagala nnyo ’kukoppa Katonda
Nga twewal’o kuba ’basosoze.
Ayita ’bantu ba buli ngeri,
Kuba ’yagala balokolebwe.
(CHORUS)
Ekising’o bukulu
Gwe mutima gw’omuntu.
Buulira ’bantu ba buli ngeri.
Twagala ’bantu bonna
Bamanye nti Katonda
Ayagala babe mikwano gye.
Endabika y’omuntu kungulu,
Oba ekifo we tumusanze,
Katonda ye si by’atunuulira.
Afa kw’ekyo ky’ali mu mutima.
(CHORUS)
Ekising’o bukulu
Gwe mutima gw’omuntu.
Buulira ’bantu ba buli ngeri.
Twagala ’bantu bonna
Bamanye nti Katonda
Ayagala babe mikwano gye.
Yakuwa ’sembeza buli muntu
Eyeesamba ensi ya Sitaani.
Ekyo akituyigirizza ffe;
Kyetuva tukibuulira bonna.
(CHORUS)
Ekising’o bukulu
Gwe mutima gw’omuntu.
Buulira ’bantu ba buli ngeri.
Twagala ’bantu bonna
Bamanye nti Katonda
Ayagala babe mikwano gye.
(Era laba Yok. 12:32; Bik. 10:34; 1 Tim. 4:10; Tit. 2:11.)