Oluyimba 46
Yakuwa ye Kabaka Waffe!
1. Muwe Yakuwa ekitiibwa,
Ggulu lyoleka ’butuukirivu bwe.
Tumutendereze; Tumuyimbirenga;
Tufeeyo nnyo kw’ebyo by’akola.
(CHORUS)
’Ggulu lisanyuke, N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
’Ggulu lisanyuke, N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
2. Mumanyise ekitiibwa kye;
Mumanyisenga n’obulokozi bwe.
Yakuwa Kabaka; Agwana ettendo.
Ffe tuvunnama mu maaso ge.
(CHORUS)
’Ggulu lisanyuke, N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
’Ggulu lisanyuke, N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
3. Ataddewo obufuzi bwe.
Atuuzizza Omwana we ku ntebe.
Bakatonda b’ensi baswalidde ddala,
Ettendo lya Yakuwa yekka.
(CHORUS)
’Ggulu lisanyuke, N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
’Ggulu lisanyuke, N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
(Era laba 1 Byom. 16:9; Zab. 68:20; 97:6, 7.)