OLUYIMBA 9
Yakuwa Ye Kabaka Waffe!
1. Muwe Yakuwa ekitiibwa.
’Ggulu lyolek’o butuukirivu bwe.
Tumutendereze; tumuyimbirenga.
Tumanyise byonna by’akola.
(CHORUS)
’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
2. Mumanyise ekitiibwa kye
Kuba ye Katonda Omulokozi.
Yakuwa Kabaka; agwana ettendo.
Ffe tuvunnama mu maaso ge.
(CHORUS)
’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
3. Ataddewo ’Bwakabaka bwe.
Atuuzizza Omwana we ku ntebe.
Bakatonda b’ensi
bafeebezeddwa nnyo;
Yakuwa y’atenderezebwa.
(CHORUS)
’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
’Ggulu lisanyuke N’ensi ejaguze,
Kuba Yakuwa ye Kabaka!
(Laba ne 1 Byom. 16:9; Zab. 68:20; 97:6, 7.)