Oluyimba 79
Amaanyi g’Ekisa
Printed Edition
1. Twesiimye nnyo ’kumanya Yakuwa,
Olw’Ekigambo kye.
Wadde alina ’maanyi ga nsusso,
Mwagazi era wa kisa.
2. Yesu Kristo ayita ’bakooye
Bonna bajje gy’ali.
’Kikoligo kye tekizitowa.
Abudaabuda, wa kisa.
3. Yakuwa ne Yesu batuwadde,
’Kyokulabirako.
Twagala okukoppa bulijjo
Ekisa kyabwe ekingi.
(Era laba Mi. 6:8; Mat. 11:28-30; Bak. 3:12; 1 Peet. 2:3.)