Oluyimba 78
Obugumiikiriza
Printed Edition
1. Yakuwa ’fuga byonna,
Afaayo nnyo ku linnya lye.
Ayagala nnyo ddala
’Kulisangulako ’nziro.
Obugumiikiriza
bw’alaze bwa kitalo
Mu mirembe emingi
Ennyo egiyise.
Olw’okuba ’yagala
’Bantu okulokolebwa,
Obugumiikiriza
Bwe tebuube bwa bwereere.
2. Obugumiikiriza
Mazima tubwetaagannyo.
Butuwa emirembe.
Butangira obusungu.
Bulaba ebirungi
mu bantu abalala.
Ne bwe tunyiizibwa nnyo,
Tetugwa lubege.
’Wamu n’engeri ’ndala
Ez’omwoyo gwa Katonda,
Obugumiikiriza
Butuyamba ’kumukoppa.
(Era laba Kuv. 34:14; Is. 40:28; 1 Kol. 13:4, 7; 1 Tim. 2:4.)