Yakuwa Katonda wa Bugumiikiriza
“Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi.”—OKUVA 34:6.
1, 2. (a) Mu biseera eby’edda, baani abaaganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yakuwa? (b) Wandinnyonnyodde otya ekigambo “obugumiikiriza”?
ABANTU b’omu kiseera kya Nuuwa, Abaisiraeri abaayita mu ddungu ne Musa, Abayudaaya abaaliwo mu kiseera Yesu we yabeerera ku nsi—bonna baabeerawo mu mbeera ez’enjawulo. Naye bonna baaganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yakuwa. Eri abamu, obugumiikiriza bwe bwawonyawo obulamu bwabwe. Era naffe buyinza okuwonyawo obulamu bwaffe.
2 Obugumiikiriza kye ki? Yakuwa abulaga ddi, era lwaki abulaga? “Obugumiikiriza” bunnyonnyoddwa nga “obutalekulira nga waliwo obuzibu oba okusosonkerezebwa, era n’obutaggwaamu ssuubi nti enkolagana eba egootaanye, ejja kulongooka.” N’olwekyo, engeri eno erina ekigendererwa. Naddala, ekwata nnyo ku bulungi bw’omuntu aba aviiriddeko enkolagana okugootaana. Kyokka, okubeera omugumiikiriza tekitegeeza nti obuusa ekibi amaaso. Singa ekigendererwa ky’obugumiikiriza kituukibwako, oba singa kiba tekikyetaagisa kweyongera kugumiikiriza mbeera, awo obugumiikiriza bukoma.
3. Kiki ekibadde ekigendererwa ky’obugumiikiriza bwa Yakuwa, era bulikoma ddi?
3 Wadde ng’abantu bayinza okuba abagumiikiriza, Yakuwa y’ateekawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu kino. Mu myaka gyonna okuva ekibi bwe kyagootaanya enkolagana ennungi abantu gye baalina ne Yakuwa, Omutonzi waffe alaze obugumiikiriza era akoze n’enteekateeka abantu abeenenya mwe basobolera okulongoosa enkolagana yaabwe naye. (2 Peetero 3:9; 1 Yokaana 4:10) Kyokka, obugumiikiriza bwe, bwe bunaatuukiriza ekigendererwa kyabwo, ajja kuzikiriza aboonoona mu bugenderevu, akomye omulembe guno omubi.—2 Peetero 3:7.
Bugendera Wamu n’Engeri za Katonda Enkulu
4. (a) Obugumiikiriza bunnyonnyolwa butya mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya? (Laba n’obugambo obutono wansi.) (b) Nnabbi Nakkumu ayogera ki ku Yakuwa, era kino kiraga ki ku bugumiikiriza bwa Yakuwa?
4 Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, amakulu agali mu kigambo okugumiikiriza galagibwa mu bigambo by’Olwebbulaniya bibiri, obutereevu ebitegeeza “obugazi bw’ebituli by’ennyindo,” era bivvuunulwa mu Baibuli ya New World Translation nga “okulwawo okusunguwala.”a Ng’ayogera ku bugumiikiriza bwa Katonda, nnabbi Nakkumu yagamba: “Yakuwa alwawo okusunguwala era wa maanyi mangi, era Yakuwa talirema kubonereza.” (Nakkumu 1:3, NW) N’olwekyo, obugumiikiriza bwa Yakuwa tebwoleka bunafu era buliko ekkomo. Olw’okuba nti Katonda omuyinza w’ebintu byonna talagirawo busungu mbagirawo, era ng’alina amaanyi mangi, ekyo kiraga nti alaga obugumiikiriza olw’ekigendererwa. Alina obuyinza okubonereza, naye yeewala okukikola embagirawo, asobole okuwa omwonoonyi akakisa okukyusa ekkubo lye. (Ezeekyeri 18:31, 32) N’olwekyo, obugumiikiriza bwa Yakuwa bwoleka okwagala kwe, era bulaga nti akozesa amaanyi ge mu ngeri ey’amagezi.
5. Mu ngeri ki obugumiikiriza bwa Yakuwa gye bugendera awamu n’obwenkanya bwe?
5 Era, obugumiikiriza bwa Yakuwa bugendera wamu n’obwenkanya, era n’obutuukirivu bwe. Yakuwa yeeraga eri Musa nga “Katonda ajjudde okusaasira era ow’ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n’amazima amangi.” (Okuva 34:6) Nga wayiseewo emyaka mingi, Musa yayimba ng’atendereza Yakuwa: “Amakubo ge gonna musango [“ga bwenkanya,” NW]: Katonda ow’obwesigwa atalina bubi, wa mazima oyo era wa nsonga.” (Ekyamateeka 32:4) Mazima ddala, ekisa kya Yakuwa, obugumiikiriza, obwenkanya, n’obutuukirivu, byonna bigendera wamu.
Obugumiikiriza bwa Yakuwa ng’Amataba Tegannabaawo
6. Yakuwa alaze bugumiikiriza ki obwenkukunala eri abaana ba Adamu ne Kaawa?
6 Obujeemu bwa Adamu ne Kaawa mu Adeni, bwakomeza ddala enkolagana yaabwe n’Omutonzi waabwe omwagazi, Yakuwa. (Olubereberye 3:8-13, 23, 24) Obujeemu obwo bulina kye bwakola ne ku baana baabwe, ne basikira ekibi, obutali butuukirivu, n’okufa. (Abaruumi 5:17-19) Wadde ng’abantu abaasooka baayonoona mu bugenderevu, Yakuwa yabakkiriza okuzaala abaana. Oluvannyuma, yateekawo enteekateeka bazzukulu ba Adamu ne Kaawa basobole okutabagana naye. (Yokaana 3:16, 36) Omutume Pawulo yannyonnyola: “Katonda atenderezesa okwagala kwe ye gye tuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n’atufiirira. Kale okusinga ennyo kaakano bwe twaweebwa obutuukirivu olw’omusaayi gwe, tugenda kulokoka mu busungu ku bubwe. Kuba obanga bwe twali tukyali balabe, twatabaganyizibwa ne Katonda olw’okufa kw’Omwana we, okusinga ennyo bwe twatabaganyizibwa tulirokoka olw’obulamu bwe.”—Abaruumi 5:8-10.
7. Yakuwa yalaga atya obugumiikiriza ng’Amataba tegannabaawo, era lwaki okuzikirizibwa kw’omulembe ogwo omubi kwali kusaana?
7 Obugumiikiriza bwa Yakuwa bweyoleka mu kiseera kya Nuuwa. Ng’ekyabulayo ekiseera ekisukka mu kyasa amataba gajje, “Katonda [y] alaba ensi, ng’eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi.” (Olubereberye 6:12) Kyokka era, Yakuwa yagumiikiriza abantu okumala ekiseera. Yagamba: “Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n’emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri.” (Olubereberye 6:3) Emyaka egyo 120 gyasobozesa Nuuwa omwesigwa okuzaala abaana, era n’ategeezebwa ekigendererwa kya Katonda eky’okuzimba eryato, n’okulabula abantu b’omu kiseera kye ku Mataba agaali gagenda okujja. Omutume Peetero yawandiika: “Edda abataagonda okugumiikiriza kwa Katonda bwe kwali nga kulindirira mu nnaku za Nuuwa, eryato bwe lyali nga likyasibibwa, amazzi mwe gaalokolera abantu si bangi, gye myoyo omunaana.” (1 Peetero 3:20) Kyo kituufu nti abo abataali ba mu maka ga Nuuwa “tebaafaayo” ku bye yabuulira. (Matayo 24:38, 39, NW) Naye, bwe yalagira Nuuwa okuzimba eryato era aweereze ‘ng’omulangirizi w’obutuukirivu’ okumala amakumi g’emyaka, Yakuwa yawa abantu b’omu mulembe gwa Nuuwa omukisa okwenenya baleke amakubo gaabwe amabi era bamuweereze. (2 Peetero 2:5; Abaebbulaniya 11:7) Mu nkomerero ya byonna, okuzikirizibwa kw’omulembe ogwo omubi kwali kusaana.
Ekyokulabirako Ekirungi eky’Obugumiikiriza eri Isiraeri
8. Yakuwa yalaga atya obugumiikiriza eri eggwanga lya Isiraeri?
8 Yakuwa yagumiikiriza Isiraeri okumala emyaka egisukka mu 120. Mu myaka egisukka mu 1,500 egy’ebyafaayo byabwe ng’abantu ba Katonda abalonde, Abaisiraeri baagezesanga obugumiikiriza bwa Katonda. Nga waakayitawo wiiki ntono nnyo oluvannyuma lw’okununulibwa kwabwe okw’ekyamagero okuva e Misiri, Abaisiraeri baatandika okusinza ebifaananyi, ne balaga obunyoomi obw’ekitalo eri Omununuzi waabwe. (Okuva 32:4; Zabbuli 106:21) Mu makumi g’emyaka egyaddirira, Abaisiraeri beemulugunya olw’emmere Yakuwa gye yabawa mu ngeri ey’eky’amagero mu ddungu, baavumirira Musa ne Alooni, beemulugunyiza Yakuwa, baakola obwenzi n’abakaafiiri, ne beenyigira ne mu kusinza Baali. (Okubala 11:4-6; 14:2-4; 21:5; 25:1-3; 1 Abakkolinso 10:6-11) Yakuwa yandibadde mutuufu okuzikiriza abantu be, naye mu kifo kyekyo yabalaga obugumiikiriza.—Okubala 14:11-21.
9. Yakuwa yeeraga atya okuba Katonda omugumiikiriza mu kiseera ky’Abalamuzi n’obwakabaka?
9 Mu biseera by’Abalamuzi, Abaisiraeri baasinzanga ebifaananyi enfunda n’enfunda. Bwe baakola bwe batyo, Yakuwa yaleka abalabe baabwe ne babawangula. Naye bwe beenenya ne bamukoowoola abayambe, yabalaga obugumiikiriza n’ayimusaawo abalamuzi okubanunula. (Ekyabalamuzi 2:17, 18) Mu kiseera ekiwanvu Isiraeri bwe yali ng’efugibwa bakabaka, bakabaka batono nnyo abeemalira ku Yakuwa. Era ne mu bufuzi bwa bakabaka abeesigwa, emirundi mingi abantu baagattikanga okusinza okw’amazima n’okukyamu. Yakuwa bwe yayimusaawo bannabbi okubalabula ku butali bwesigwa bwabwe, abantu baayagalanga kuwuliriza bakabona ne bannabbi ab’obulimba. (Yeremiya 5:31; 25:4-7) Mu butuufu, Abaisiraeri baayigganya bannabbi ba Yakuwa abeesigwa, era n’abamu ne babatta. (2 Ebyomumirembe 24:20, 21; Ebikolwa 7:51, 52) Wadde kyali kityo, Yakuwa yeeyongera okubagumiikiriza.—2 Ebyomumirembe 36:15.
Obugumiikiriza bwa Yakuwa Tebwaggwaawo
10. Ddi obugumiikiriza bwa Yakuwa lwe bwatuuka we bukoma?
10 Kyokka, ebyafaayo biraga nti obugumiikiriza bwa Yakuwa buliko we bukoma. Mu 740 B.C.E., yaleka Abasuuli ne bawangula obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi ne batwala n’abatuuze baabwo mu buwaŋŋanguse. (2 Bassekabaka 17:5, 6) Era ku nkomerero y’ekyasa ekyaddako, yakkiriza Abababulooni okulumba obwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri ne bazikiriza Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo.—2 Ebyomumirembe 36:16-19.
11. Yakuwa yalaga atya obugumiikiriza ne bwe yali ng’atuukiriza emisango gy’asaze?
11 Kyokka, ne bwe yali ng’atuukiriza emisango gye ku Isiraeri ne Yuda, Yakuwa teyalekayo kubalaga bugumiikiriza. Ng’ayitira mu nnabbi we Yeremiya, Yakuwa yalagula okukomezebwawo kw’abantu be abalonde. Yagamba: “Emyaka nsanvu bwe girituukiririra Babulooni, ndibajjira ne ntuukiriza gye muli ekigambo kyange ekirungi nga mbakomyawo mu kifo kino. Nange mulindaba. . . . [Ndi]bakuŋŋaanya okubaggya mu mawanga gonna ne mu bifo byonna gye nnabagobera.”—Yeremiya 29:10, 14.
12. Okukomezebwawo kw’ensigalira y’Abayudaaya mu Yuda kwalina kutya obulagirizi bwa Katonda ku bikwata ku kujja kwa Masiya?
12 Ensigalira y’Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse baakomawo mu Yuda ne bazzaawo okusinza kwa Yakuwa mu yeekaalu eyaddamu okuzimbibwa mu Yerusaalemi. Mu kutuukirizibwa kw’ebigendererwa bya Yakuwa, ab’ensigalira bano bandifuuse “ng’omusulo oguva eri Mukama” oguleeta obuweerero. Era bandibadde bavumu era ab’amaanyi ‘ng’empologoma eri mu nsolo z’omu kibira.’ (Mikka 5:7, 8) Ebigambo ebyo ebiri mu Mikka 5:7, biyinza okuba nga byatuukirizibwa mu kiseera kya Bamakabiizi, ekiseera Abayudaaya abaali wansi w’ennyumba ya Bamakabiizi bwe baagoba abalabe baabwe okuva mu Nsi Ensuubize ne baddamu okuwaayo yeekaalu eyali eyonooneddwa. Bwe kityo, ensi ne yeekaalu byakuumibwa, ensigalira y’Abayudaaya abeesigwa basobole okwaniriza Omwana wa Katonda bwe yandizze nga Masiya.—Danyeri 9:25; Lukka 1:13-17, 67-79; 3:15, 21, 22.
13. Wadde ng’Abayudaaya baali bamaze okutta Omwana we, Yakuwa yeeyongera atya okubalaga ekisa?
13 Wadde ng’Abayudaaya bamaze okutta Omwana we, Yakuwa yeeyongera okubagumiikiriza okumala ekiseera ekirala kya myaka esatu n’ekitundu, nga be bokka abaalina omukisa ogw’okuyitibwa okubeera ekitundu ky’ezzadde lya Ibulayimu ery’eby’omwoyo. (Danyeri 9:27)b Ng’omwaka 36 C.E., tegunnatuuka era n’oluvannyuma lwagwo, Abayudaaya abamu baayanukula okuyitibwa okwo, ne kituukagana n’ekyo Pawulo kye yayogera oluvannyuma nti ‘waliwo ensigalira abaanukudde okulondebwa okw’ekisa.’—Abaruumi 11:5, NW.
14. (a) Baani abaaweebwa enkizo ey’okufuuka ekitundu ky’ezzadde lya Ibulayimu ery’omwoyo mu 36 C.E.? (b) Pawulo yayoleka atya enneewulira ye ku ngeri Yakuwa gy’alondamu aba Isiraeri ow’eby’omwoyo?
14 Mu mwaka 36 C.E., omulundi ogwasookera ddala, enkizo ey’okufuuka ekitundu ky’ezzadde lya Ibulayimu ery’eby’omwoyo yaweebwa abo abataali Bayudaaya oba abakyufu. Abo abaayanukula baafuna ekisa kya Yakuwa ekitatusaanira era n’abalaga n’obugumiikiriza. (Abaggalatiya 3:26-29; Abaefeso 2:4-7) Ng’asiima amagezi n’ekigendererwa ebiviirako Yakuwa okulaga obugumiikiriza, mw’ayitira okulonda bonna abayitibwa okuba ekitundu kya Isiraeri ow’eby’omwoyo, Pawulo yagamba: “Obuziba bw’obugagga obw’amagezi n’obw’okumanya kwa Katonda tomanyi bwe buli! [E]misango gye nga tegikeberekeka, n’amakubo ge nga tegekkaanyizika!”—Abaruumi 11:25, 26, 33; Abaggalatiya 6:15, 16.
Obugumiikiriza olw’Erinnya Lye
15. Ensonga enkulu lwaki Katonda alaga obugumiikiriza y’eruwa, era nsonga ki eyali yeetaagisa ekiseera okusobola okugonjoolebwa?
15 Lwaki Yakuwa alaga obugumiikiriza? Okusingira ddala kwe kusobola okugulumiza erinnya lye ettukuvu n’okulaga obutuufu bw’obufuzi bwe. (1 Samwiri 12:20-22) Ensonga eyaleetebwawo Setaani ekwata ku ngeri Yakuwa gy’akozesaamu obuyinza bwe, yali yeetaaga ekiseera okusobola okugonjoolebwa mu ngeri esobola okumatiza ebitonde byonna. (Yobu 1:9-11; 42:2, 5, 6) N’olw’ensonga eyo, abantu be bwe baali nga bayisibwa bubi mu Misiri, Yakuwa yagamba Falaawo: “Naye ddala mazima kyenvudde nkuyimiriza okukulaga amaanyi gange ggwe, era erinnya lyange okubuulirwa mu nsi zonna.”—Okuva 9:16.
16. (a) Obugumiikiriza bwa Yakuwa bwasobozesa butya okuteekebwateekebwa kw’abantu ab’erinnya lye? (b) Erinnya lya Yakuwa linaatukuzibwa litya, era obutuufu bw’obufuzi bwe bunaalagibwa butya?
16 Ebigambo Yakuwa bye yagamba Falaawo byajulizibwa omutume Pawulo bwe yannyonnyola ekifo obugumiikiriza bwa Katonda kye bulina mu kutukuza erinnya Lye ettukuvu. Awo Pawulo yawandiika: “Oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n’okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n’okulindirira ennyo ebibya eby’obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira: alyoke amanyise obugagga obw’ekitiibwa kye ku bibya eby’okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa, ye ffe, n’okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu b’amawanga? Era nga bw’ayogera mu Koseya nti Ndibayita abantu bange, abatali bantu bange.” (Abaruumi 9:17, 22-25) Olw’okuba Yakuwa yalaga obugumiikiriza, yasobola okuggya mu mawanga ‘abantu ab’erinnya lye.’ (Ebikolwa 15:14) Wansi w’Omukulembeze waabwe, Yesu Kristo, ‘abatukuvu’ bano basika b’Obwakabaka, Yakuwa bw’anaakozesa okutukuza erinnya Lye ery’ekitalo n’okulaga obutuufu bw’obufuzi Bwe.—Danyeri 2:44; 7:13, 14, 27; Okubikkulirwa 4:9-11; 5:9, 10.
Obugumiikiriza bwa Yakuwa Buvaamu Obulokozi
17, 18. (a) Tuyinza tutya okuvumirira obugumiikiriza bwa Yakuwa mu butamanya? (b) Tukubirizibwa kutunuulira tutya obugumiikiriza bwa Yakuwa?
17 Okuviira ddala omuntu lwe yasooka okugwa mu kibi okutuuka kati, Yakuwa yeeraze okuba Katonda omugumiikiriza. Obugumiikiriza bwe yalaga ng’Amataba tegannabaawo, bwasobozesa okulabula okuweebwa n’eryato abantu mwe bandiwonedde okuzimbibwa. Naye obugumiikiriza bwe bwatuuka we bukoma, Amataba ne gajja. Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa alaga obugumiikiriza obw’ekitalo, era obugumiikiriza bwe bututte ekiseera kiwanvu okusinga abamu bwe baali basuubira. Kyokka, ekyo tekyandituleetedde kuggwaamu maanyi. Singa tuggwaamu amaanyi, tuba ng’abavumirira Yakuwa olw’okulaga obugumiikiriza. Pawulo yabuuza: “Onyoom[a] obugagga bw’obulungi bwe n’obuwombeefu n’okugumiikiriza, nga tomanyi ng’obulungi bwa Katonda bukuleeta mu kwenenya?”—Abaruumi 2:4.
18 Tewali n’omu ku ffe asobola kumanya kigero kya bugumiikiriza bwa Katonda bwe twetaaga okusobola okukakasa nti tusaanira okulokolebwa. Pawulo, atukubiriza ‘okukolerera obulokozi bwaffe mu kutya n’okukankana.’ (Abafiripi 2:12) Omutume Peetero yawandiikira Bakristaayo banne: “Mukama waffe talwisa kye yasuubiza ng’abalala bwe balowooza okulwa; naye agumiikiriza gye muli, nga tayagala muntu yenna kubula, naye bonna batuuke okwenenya.”—2 Peetero 3:9.
19. Tuyinza tutya okukozesa obugumiikiriza bwa Yakuwa mu ngeri ey’omuganyulo?
19 N’olwekyo, ka tube bagumiikiriza eri engeri Yakuwa gy’akwatamu ensonga ze. N’olwekyo, ka tugoberere okubuulirira kwa Peetero okulala ‘tulowooze ku kugumiikiriza kwa Mukama waffe ng’obulokozi.’ Bulokozi eri baani? Eri ffe, awamu n’abalala bangi abakyetaaga okuwulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (2 Peetero 3:15; Matayo 24:14) Ekyo kijja kutuyamba okusiima obugumiikiriza bwa Yakuwa era kitukubirize okulaga obugumiikiriza nga tukolagana n’abalala.
[Obugambo obuli wansi]
a Mu Lwebbulaniya, ekigambo “ennyindo” oba “ebituli by’ennyindo” (ʼaph) kitera okukozesebwa mu ngeri ey’akabonero okutegeeza obusungu. Kino kiri kityo kubanga omuntu assa n’amaanyi ng’ataamye bugo.
b Okufuna okunnyonnyolwa okusingawo ku bunnabbi buno, laba ekitabo Pay Attention to Daniel’s Prophecy!, empapula 191-4, ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
Osobola Okunnyonnyola?
• Mu Baibuli, ekigambo “obugumiikiriza” kirina makulu ki?
• Yakuwa yalaga atya obugumiikiriza ng’Amataba tegannabaawo, oluvannyuma lw’Abaisiraeli okuva mu buwambe e Babulooni, ne mu kyasa ekyasooka C.E.?
• Nsonga ki enkulu ezireetedde Yakuwa okulaga obugumiikiriza?
• Twanditunuulidde tutya obugumiikiriza bwa Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Obugumiikiriza bwa Yakuwa ng’Amataba tegannabaawo bw’awa abantu omukisa okwenenya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
Oluvannyuma lw’okugwa kwa Babulooni, Abayudaaya baaganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yakuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Mu kyasa ekyasooka, Abayudaaya n’abataali Bayudaaya baaganyulwa mu bugumiikiriza bwa Yakuwa
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]
Leero Abakristaayo bakozesa obugumiikiriza bwa Yakuwa mu ngeri ey’omuganyulo