LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w01 11/1 lup. 27-32
  • ‘Mwambalenga Obugumiikiriza’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Mwambalenga Obugumiikiriza’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyokulabirako kya Kristo eky’Obugumiikiriza
  • Kibala eky’Omwoyo
  • “Okwagala Kugumiikiriza”
  • Obugumiikiriza Butuyamba Obutaddirira
  • Okwambala Obugumiikiriza
  • ‘Okugumiikiriza eri Bonna’
  • Yakuwa Katonda wa Bugumiikiriza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • Obugumiikiriza
    Muyimbire Yakuwa
  • ‘Oneeyongera Okutambulira mu Mwoyo’?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Okkiriza Omwoyo gwa Katonda Okukukulembera?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
w01 11/1 lup. 27-32

‘Mwambalenga Obugumiikiriza’

‘Mwambalenga omwoyo ogw’ekisa n’obugumiikiriza.’​—ABAKKOLOSAAYI 3:12.

1. Waayo ekyokulabirako ekirungi eky’obugumiikiriza.

RÉGIS, abeera mu bukiika ddyo w’ebugwanjuba bwa Bufalansa, yabatizibwa ng’Omujulirwa wa Yakuwa mu 1952. Okumala emyaka mingi, mukyala we yakola kyonna kyasobola okumuziyiza okuweereza Yakuwa. Yagezaako okwabya emipiira gy’emmotoka amulemese okugenda mu nkuŋŋaana. Era lumu yamugoberera ng’agenze okubuulira obubaka bwa Baibuli nnyumba ku nnyumba, n’amujerega bwe yali ng’ayogera n’abantu ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka. Wadde nga waaliwo okuziyiza kuno olutatadde, Régis yeeyongera okuba omugumiikiriza. Bwe kityo, Régis kyakulabirako kirungi eri Abakristaayo bonna, okuva Yakuwa bwe yeetaaza abasinza be bonna okuba abagumiikiriza nga bakolagana n’abalala.

2. Ekigambo ky’Oluyonaani “okugumiikiriza” obutereevu kitegeeza ki, era ekigambo ekyo kirina makulu ki?

2 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivuunuddwa “okugumiikiriza” obutereevu kitegeeza “obuwanvu bw’omwoyo.” Baibuli y’Oluganda evvuunula ekigambo ekyo eky’Oluyonaani nga “obugumiikiriza.” Mu Lwebbulaniya n’Oluyonaani, ebigambo ebivvuunulwa “obugumiikiriza,” birina amakulu g’okulinda, okwefuga, n’okulwawo okusunguwala.

3. Engeri Abakristaayo gye batwalamu obugumiikiriza eyawukana etya ku y’Abayonaani ab’omu kyasa ekyasooka?

3 Abayonaani ab’omu kyasa ekyasooka tebaatwala bugumiikiriza okuba empisa ennungi. Ekigambo obugumiikiriza tekyakozesebwa bafirosoofo abaalina endowooza ey’obutalaga nti balumwa nga boolekaganye n’ebizibu. Omwekenneenya wa Baibuli ayitibwa William Barclay, agamba nti obugumiikiriza “bwawukana ku mpisa z’Abayonaani” ezaakubirizanga “obutagumiikiriza kuvumibwa oba okulumizibwa.” Agamba: “Eri Omuyonaani, omusajja assibwamu ekitiibwa y’oyo eyakolanga kyonna ekisoboka okuwoolera eggwanga. Eri Omukristaayo, omusajja assibwamu ekitiibwa y’oyo atakkiriza kuwoolera ggwanga ne bw’aba ng’asobola okukikola.” Abayonaani bayinza okuba nga baatwala obugumiikiriza okuba akabonero akooleka obunafu, naye mu kino era nga bwe kiri awalala, ‘ekintu kya Katonda ekirabika ng’eky’obusirusiru kisinga abantu amagezi; n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.’​—1 Abakkolinso 1:25.

Ekyokulabirako kya Kristo eky’Obugumiikiriza

4, 5. Yesu yateekawo kyakulabirako ki ekirungi eky’obugumiikiriza?

4 Yesu yaddirira Yakuwa mu kussaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi eky’obugumiikiriza. Bwe yali ng’anyigirizibwa nnyo, Yesu yayoleka obugumiikiriza obutali bwa bulijjo. Ku bimukwatako kyalagulwa: “Yajoogebwa, naye ne yeetoowaza n’atayasamya kamwa ke; ng’omwana gw’endiga ogutwalibwa okuttibwa, era ng’endiga esirika mu maaso g’abo abagisalako ebyoya; weewaawo teyayasam[y]a kamwa ke.”​—Isaaya 53:7.

5 Nga bwali bugumiikiriza bwa nkukunala Yesu bwe yalaga mu buweereza bwe bwonna obw’oku nsi! Yagumiikiriza ebibuuzo by’abalabe be ebyali byoleka obunnanfuusi era n’okuvumibwa abo abaali bamuziyiza. (Matayo 22:15-46; 1 Peetero 2:23) Yagumiikiriza abayigirizwa be, ne bwe baawakananga bokka na bokka ku ani eyali asinga obukulu mu bo. (Makko 9:33-37; 10:35-45; Lukka 22:24-27) Era nga Yesu yalaga obugumiikiriza bwa nkukunala ekiro kye yaliibwamu olukwe, ekiro Peetero ne Yokaana lwe beebaka wadde nga yali amaze okubagamba ‘basigale nga batunula’!​—Matayo 26:36-41.

6. Pawulo yaganyulwa atya mu bugumiikiriza bwa Yesu, era ekyo tukiyigirako ki?

6 Oluvannyuma lw’okufa era n’okuzuukira kwe, Yesu yeeyongera okuba omugumiikiriza. Naddala omutume Pawulo ekyo yali akimanyi okuva emabega bwe yayigganyanga Abakristaayo. Pawulo yawandiika: “Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w’olubereberye; naye kyennava nsaasirwa Yesu Kristo alyoke alabisize mu nze ow’olubereberye okugumiikiriza kwe kwonna, okubeeranga ekyokulabirako eri abo abagenda okumukkiriza olw’obulamu obutaggwaawo.” (1 Timoseewo 1:15, 16) Ka bube ng’obulamu bwaffe obw’emabega bwali butya, singa tukkiririza mu Yesu, era ne twoleka ebikolwa ‘ebiraga okwenenya,’ ajja kutulaga obugumiikiriza. (Ebikolwa 26:20; Abaruumi 2:4) Obubaka Kristo bwe yaweereza ebibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono bulaga nti wadde nga mugumiikiriza, asuubira abaweereza be okukola enkyukakyuka mu mpisa zaabwe.​—Okubikkulirwa essuula 2 ne 3.

Kibala eky’Omwoyo

7. Kakwate ki akali wakati w’obugumiikiriza n’omwoyo omutukuvu?

7 Mu ssuula 5 mu bbaluwa ye eri Abaggalatiya, Pawulo alaga enjawulo eriwo wakati w’ebikolwa by’omubiri n’ebibala by’omwoyo. (Abaggalatiya 5:19-23) Okuva obugumiikiriza bwe buli emu ku ngeri za Yakuwa, engeri eno esibuka ku ye, era kibala eky’omwoyo gwe. (Okuva 34:6, 7) Mu butuufu, obugumiikiriza buteekeddwa mu kifo kyakuna mu bibala by’omwoyo Pawulo bye yamenya omuli “[o] kwagala, okusanyuka, emirembe, . . . ekisa, obulungi, okukkiriza, obuwombeefu, okwegendereza.” (Abaggalatiya 5:22, 23) N’olwekyo, abaweereza ba Katonda bwe booleka obugumiikiriza bw’ayoleka, bakikola nga bakubirizibwa omwoyo omutukuvu.

8. Kiki ekinaatuyamba okukulaakulanya ebibala by’omwoyo nga mw’otwalidde n’obugumiikiriza?

8 Kyokka, kino tekitegeeza nti Yakuwa akakaatika omwoyo gwe ku muntu yenna. Kyeyagalire tuteekwa okugoberera bye gutukubiriza okukola. (2 Abakkolinso 3:17; Abaefeso 4:30) Tuleka omwoyo okukolera mu bulamu bwaffe nga tukulaakulanya ebibala byagwo mu byonna bye tukola. Oluvannyuma lw’okumenya ebikolwa by’omubiri n’ebibala by’omwoyo, Pawulo yagattako: “Bwe tuba abalamu ku bw’[o] mwoyo era tutambulenga ku bw’[o]mwoyo. Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula. Kubanga asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira [o]mwoyo, alikungula mu [m]woyo obulamu obutaggwaawo.” (Abaggalatiya 5:25; 6:7, 8) Singa tunaaba ab’okutuuka ku buwanguzi mu kubeera abagumiikiriza, tuteekwa okufuna ebibala ebirala Abakristaayo bye basaanidde okukulaakulanya okuyitira mu mwoyo omutukuvu.

“Okwagala Kugumiikiriza”

9. Nsonga ki eyinza okuba nga yeeyaviirako Pawulo okugamba Abakkolinso nti “okwagala kugumiikiriza”?

9 Pawulo yalaga nti waliwo akakwate wakati w’okwagala n’obugumiikiriza bwe yagamba: “Okwagala kugumiikiriza.” (1 Abakkolinso 13:4) Omwekenneenya omu owa Baibuli, Albert Barnes, agamba nti Pawulo yaggumiza ensonga eyo olw’obutakaanya n’obukuubagano obwaliwo mu kibiina Ekikristaayo eky’omu Kkolinso. (1 Abakkolinso1:11, 12) Barnes agamba nti: “Ekigambo wano ekikyusiddwa [obugumiikiriza] kyawukanira ddala ku kupapa: ku bikolwa eby’obukambwe n’obusungu obw’etumbiizi. Kikwata ku muntu AGUMIRA EMBEERA wadde ng’anyigirizibwa, oba ng’asosonkerezeddwa.” Ne mu kiseera kyaffe, okwagala n’obugumiikiriza biyamba nnyo mu kuleetawo emirembe mu kibiina Ekikristaayo.

10. (a) Mu ngeri ki okwagala gye kutuyamba okubeera abagumiikiriza, era omutume Pawulo awa kubuulirira ki ku nsonga eno? (b) Omwekenneenya omu owa Baibuli yayogera ki ku bugumiikiriza bwa Katonda n’ekisa? (Laba obugambo obutono obuli wansi.)

10 “Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa. Okwagala . . . tekunoonya byakwo, tekunyiiga.” N’olwekyo, okwagala kutuyamba okubeera abagumiikiriza mu ngeri nyingi.a (1 Abakkolinso 13:4, 5) Okwagala kutusobozesa okulaga bannaffe obugumiikiriza nga ffenna tujjukira nti tetutuukiridde era tukola ensobi. Kutuyamba okufaayo ku balala era n’okubasonyiwa. Omutume Pawulo atukubiriza okutambulanga “[mu] bukkakkamu bwonna n’obuwombeefu, n’okugumiikiriza, nga muzibiikirizagananga mu kwagalana, nga munyiikiranga okwekuuma obumu bw’[o]mwoyo mu kusibibwa n’emirembe.”​—Abaefeso 4:1-3.

11. Lwaki kikulu nnyo eri Abakristaayo ababeera awamu okuba n’obugumiikiriza?

11 Abakristaayo ababeera awamu nabo bwe babeera abagumiikiriza kireetawo emirembe n’essanyu, ka kibeere mu bibiina, mu maka ga Beseri, ag’abaminsani, amasomero ag’Ekikristaayo, oba abazimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Olw’okuba waliwo enjawukana mu ngeri z’abantu, mu bye baagala, mu ngeri gye baakuzibwamu, ne mu buyonjo, embeera ezisoomooza ziyinza okujjawo enfunda n’enfunda. Ne mu maka namwo muyinza okubaamu embeera ezisoomooza. N’olwekyo, okulwawo okusunguwala kikulu nnyo. (Engero 14:29; 15:18; 19:11) Okugumiikiriza ng’olina essuubi nti ebintu bijja kulongooka, kwetaagisa eri ffenna.​—Abaruumi 15:1-6.

Obugumiikiriza Butuyamba Obutaddirira

12. Lwaki obugumiikiriza bwetaagisa mu mbeera ezigezesa?

12 Obugumiikiriza butuyamba okugumira embeera ezigezesa eziyinza okulabika ng’ezitakoma oba ng’ezitasoboka kugonjoolebwa mangu ddala. Ekyo kye kyatuuka ku Régis, eyayogeddwako mu ntandikwa. Okumala emyaka mingi mukyala we yamuziyiza okuweereza Yakuwa. Kyokka, lumu mukyala we yagenda gy’ali nga bw’akulukusa amaziga n’agamba: “Mmanyi nti gano ge mazima. Nnyamba. Njagala kuyiga Baibuli.” Oluvannyuma lw’ebbanga yabatizibwa ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Régis agamba: “Kino kyakakasa nti Yakuwa yawa omukisa emyaka egyo egy’okufuba n’okugumiikiriza.” Obugumiikiriza bwe bwavaamu emiganyulo.

13. Kiki ekyayamba Pawulo obutaddirira, era ekyokulabirako kye kiyinza kitya okutuyamba obutaddirira?

13 Emabega mu kyasa ekyasooka C.E., omutume Pawulo yateekawo ekyokulabirako ekirungi eky’obugumiikiriza. (2 Abakkolinso 6:3-10; 1 Timoseewo 1:16) Ng’anaatera okufa, bwe yali abuulirira munne omuto Timoseewo, yamulabula nti Abakristaayo bonna bandyolekaganye n’ebizibu. Pawulo yanokolayo ekyokulabirako kye kyennyini era n’amukubiriza akulaakulanye engeri ez’Ekikristaayo enkulu ezeetaagibwa okusobola okugumiikiriza. Yawandiika: “Naye ggwe [ogoberedde] nnyo okuyigiriza kwange, empisa zange, okuteesa kwange, okukkiriza kwange, okugumiikiriza kwange, okwagala kwange, okulindirira kwange, okuyigganyizibwa kwange, okubonaabona kwange; ebyambeerako mu Antiyokiya, mu Ikoniyo, mu Lusitula; okuyigganyizibwa kwe nnayigganyizibwanga bwe kwali: era Mukama waffe yandokola mu byonna. Naye era bonna abaagala mu Kristo Yesu okukwatanga empisa ez’okutya Katonda banaayigganyizibwanga.” (2 Timoseewo 3:10-12; Ebikolwa 13:49-51; 14:19-22) Ffenna okusobola obutaddirira, twetaaga okukkiriza, okwagala, n’obugumiikiriza.

Okwambala Obugumiikiriza

14. Pawulo yageraageranya ku ki engeri ez’okutya Katonda ng’obugumiikiriza, era kubuulira ki kwe yawa Abakristaayo b’omu Kkolosaayi?

14 Omutume Pawulo yageraageranya obugumiikiriza awamu n’engeri endala ez’okutya Katonda ku byambalo Omukristaayo byalina okwambala oluvannyuma lw’okweyambulako “omuntu ow’edda.” (Abakkolosaayi 3:5-10) Yawandiika: “Kale mwambalenga ng’abalonde ba Katonda, abatukuvu era abaagalwa, omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.”​—Abakkolosaayi 3:12-14.

15. Kiki ekivaamu Abakristaayo bwe ‘bambala obugumiikiriza’ n’engeri endala ez’okutya Katonda?

15 Abantu b’omu kibiina bwe ‘bambala’ ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza n’okwagala, basobola okugonjoola ebizibu ne beeyongera mu buweereza bwabwe eri Yakuwa nga bali bumu. Naddala, abalabirizi Abakristaayo beetaaga okubeera abagumiikiriza. Wayinza okubaawo ebiseera lwe beetaaga okunenya Omukristaayo omulala, naye ekyo kiyinza okukolebwa mu ngeri nyingi. Pawulo yannyonnyola engeri esingayo obulungi bwe yawandiikira Timoseewo: “Nenyanga, buuliriranga n’okugumiikirizanga kwonna n’okuyigiriza.” (2 Timoseewo 4:2) Yee, endiga za Yakuwa bulijjo balina okulagibwa obugumiikiriza, okuweebwa ekitiibwa, n’okulagibwa ekisa.​—Matayo 7:12; 11:28; Ebikolwa 20:28, 29; Abaruumi 12:10.

‘Okugumiikiriza eri Bonna’

16. Kiki ekiyinza okuvaamu singa tubeera ‘bagumiikiriza eri bonna’?

16 Yakuwa okulaga abantu obugumiikiriza naffe kituwa obuvunaanyizibwa ‘okulaga bonna obugumiikiriza.’ (1 Abasessaloniika 5:14) Kino kitegeeza okugumiikiriza ab’omu maka gaffe abatali Bajulirwa, baliraanwa baffe, be tukola nabo, ne be tusoma nabo. Abajulirwa bangi bavvuunuse embeera nnyingi ezirimu kyekubiira. Okumala emyaka mingi boolekaganye n’abantu ababavuma oba ababayigganya ku mirimu oba ku masomero. (Abakkolosaayi 4:5, 6) Omutume Peetero yawandiika: “Nga mulina empisa zammwe mu b’amawanga nga bwe baboogerako ng’abakola obubi, olw’ebikolwa byammwe ebirungi bye balaba balyoke bagulumize Katonda ku lunaku olw’okulabirwamu.”​—1 Peetero 2:12.

17. Tuyinza tutya okukoppa okwagala n’obugumiikiriza bwa Yakuwa, era lwaki twandibikoppye?

17 Obugumiikiriza bwa Yakuwa bujja kutegeeza bulokozi eri obukadde n’obukadde bw’abantu. (2 Peetero 3:9, 15) Bwe tukoppa okwagala n’obugumiikiriza ebya Yakuwa, tujja kweyongera okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda n’okuyigiriza abalala okugondera obufuzi bwa Kristo. (Matayo 28:18-20; Makko 13:10) Singa tulekera awo okubuulira, tujja kuba ng’abaziyiza obugumiikiriza bwa Yakuwa, era abalemereddwa okutegeera ekigendererwa kyabwo, eky’okutuusa abantu ku kwenenya.​—Abaruumi 2:4.

18. Kiki Pawulo kye yasabira Abakkolosaayi?

18 Mu bbaluwa ye eri Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi, mu Asiya Omutono, Pawulo yawandiika: “Naffe kyetuva tetulekaayo, okuva ku lunaku bwe twawulira, okubasabira n’okubeegayi[ri]rira mulyoke mujjuzibwe okutegeera by’ayagala mu magezi gonna n’okutegeera eby’[o]mwoyo, okutambulanga nga bwe kisaanira Mukama waffe olw’okusiimibwa kwonna, nga mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi, era nga mukuliranga mu kutegeera Katonda; nga muyinzisibwanga n’obuyinza bwonna, ng’amaanyi ag’ekitiibwa kye bwe gali, olw’okugumiikiriza kwonna n’okuzibiikiriza awamu n’okusanyuka.”​—Abakkolosaayi 1:9-11.

19, 20. (a) Tuyinza tutya okwewala okutwala obugumiikiriza bwa Yakuwa ng’ekigezo? (b) Miganyulo ki eginaava mu kulaga obugumiikiriza?

19 Obugumiikiriza Yakuwa bwe yeeyongera okulaga tebujja kuba kigezo gye tuli singa ‘tuba tujjuziddwa okumanya okutuufu okw’ekigendererwa kye,’ ekiri nti ‘abantu aba buli kika balokolebwe era batuuke ku kumanya okutuufu okw’amazima.’ (1 Timoseewo 2:4) Tujja ‘kweyongera okubala ebibala mu buli mulimu omulungi,’ naddala mu ogwo ogw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’obwakabaka.’ (Matayo 24:14) Singa tuneeyongera okubuulira mu bwesigwa, Yakuwa ajja kutufuula ‘ba maanyi, n’amaanyi gonna,’ atusobozese ‘obutalekulira era tugumiikirize n’essanyu.’ Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kutambula ‘mu ngeri esaanidde mu maaso ga Yakuwa,’ era tujja kuba n’emirembe egiva mu kumanya nti ‘tumusanyusa.’

20 N’olwekyo, ka tubeere bamativu nti kya magezi Yakuwa okutulaga obugumiikiriza. Bujja kutusobozesa okulokolebwa ffe kennyini era n’abo abawuliriza bye tubabuulira ne bye tubayigiriza. (1 Timoseewo 4:16) Okukulaakulanya ebibala by’omwoyo nga okwagala, ekisa, obulungi, obuwombeefu, n’okwefuga, kijja kutusobozesa okugumiikiriza n’essanyu. Tujja kusobola okubeera mu mirembe n’ab’omu maka gaffe, era ne baganda baffe ne bannyinaffe mu kibiina. Era, obugumiikiriza bujja kutuyamba okuyisa obulungi bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe. Era, obugumiikiriza bwaffe bujja kuba n’ekigendererwa eky’okulokola abakola obubi n’okugulumiza Katonda ow’obugumiikiriza, Yakuwa.

[Obugambo obuli wansi]

a Ng’ayogera ku bigambo bya Pawulo nti ‘okwagala kugumiikiriza era kulina ekisa,’ omwekenneenya wa Baibuli, Gordon D. Fee awandiika nti: “Mu ebyo Pawulo bye yayigiriza, [obugumiikiriza n’ekisa] bikiikirira engeri bbiri Katonda zaalaga eri abantu (cf. Bar. 2:4). Ku luuyi olumu, obugumiikiriza bwa Katonda bulagibwa mu kuziyiza obusungu bwe eri abantu abeewaggudde. Ku luuyi olulala ekisa kye kirabibwa mu bikolwa bye eby’obusaasizi. Bwe kityo, ng’ayogera ku kwagala, Pawulo atandika n’engeri za Katonda bbiri. Era alaga nti okuyitira mu Kristo, Katonda yeeraze okuba omugumiikiriza era ow’ekisa eri abo abagwanira okusalirwa omusango.”

Osobola Okunnyonnyola?

• Mu ngeri ki Kristo gy’ali ekyokulabirako ekirungi eky’obugumiikiriza?

• Kiki ekinaatuyamba okukulaakulanya obugumiikiriza?

• Obugumiikiriza buyamba butya amaka, Abakristaayo ababeera awamu, n’abakadde b’ekibiina?

• Bwe tunaabeera abagumiikiriza kinaatuleetera kitya emiganyulo ffe kennyini era n’abalala?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Ne bwe yali ng’anyigirizibwa nnyo, Yesu yagumiikiriza abayigirizwa be

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Abalabirizi Abakristaayo bakubirizibwa okuteekawo ekyokulabirako ekirungi eky’obugumiikiriza nga bakolagana ne baganda baabwe

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Bwe tukoppa okwagala n’obugumiikiriza bwa Yakuwa, tujja kweyongera okubuulira amawulire amalungi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Pawulo yasaba nti Abakristaayo ‘bagumiikirize n’essanyu’

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share