LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jl essomo 17
  • Abalabirizi b’ebitundu batuyamba batya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abalabirizi b’ebitundu batuyamba batya?
  • Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Similar Material
  • Abalabirizi ab’Okulunda Ekisibo
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Siima Abo Yakuwa ne Yesu Be Batuwadde “ng’Ebirabo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Bakola Nnyo ku Lwaffe
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Okuzziŋŋanamu Amaanyi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
See More
Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
jl essomo 17

ESSOMO 17

Abalabirizi b’Ebitundu Batuyamba Batya?

Omulabirizi w’ekitundu ne mukyala we

Malawi

Omulabirizi w’ekitundu ng’akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda okubuulira

Nga bagenda okubuulira

Omulabirizi w’ekitundu ng’ali mu buweereza

Ng’abuulira

Omulabirizi w’ekitundu ng’asisinkanye abakadde b’ekibiina

Ng’ali n’abakadde

Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani byogera nnyo ku Balunabba n’omutume Pawulo. Abasajja abo baakyaliranga ebibiina mu kyasa ekyasooka. Lwaki baabikyaliranga? Baali bafaayo nnyo ku mbeera y’ab’oluganda. Pawulo yagamba nti yali ayagala ‘kuddayo akyalire ab’oluganda’ alabe bwe baali. Yali mwetegefu okutindigga olugendo oluwanvu ennyo asobole okubazzaamu amaanyi. (Ebikolwa 15:36) Abalabirizi abakyalira ebibiina leero nabo bafuba okukola kye kimu.

Batukyalira okutuzzaamu amaanyi. Buli mulabirizi wa kitundu akyalira ebibiina nga 20. Buli kibiina akikyalira emirundi ebiri buli mwaka era nga buli kibiina ky’akyalira amala nakyo wiiki emu. Ab’oluganda abo ne bakyala baabwe tulina bingi bye tubayigirako. Abalabirizi abo awamu ne bakyala baabwe bafuba nnyo okumanya ab’oluganda abato n’abakulu, era baagala nnyo okubuulirako naffe, n’okutuwerekerako nga tugenda okuyigiriza abayizi baffe. Abalabirizi abo bakyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi nga bali wamu n’abakadde, era bye bayigiriza mu nkuŋŋaana bituzimba.​—Ebikolwa 15:35.

Bafaayo ku bonna. Abalabirizi b’ebitundu bafaayo ku mbeera y’ebibiina ey’eby’omwoyo. Bwe bakyalira ekibiina, batuula n’abakadde awamu n’abaweereza okwogera ku nkulaakulana ebaddewo mu kibiina era n’okubawa amagezi ku ngeri gye bayinza okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe. Bawa bapayoniya amagezi agabayamba okukola obulungi omulimu gwabwe, era baagala nnyo okumanya abo abatandise okujja mu nkuŋŋaana n’okutegeera engeri gye bakulaakulana mu by’omwoyo. Ab’oluganda abo bakola butaweera nga ‘baweerereza wamu naffe ku lw’obulungi bwaffe.’ (2 Abakkolinso 8:23) Tusaanidde okukoppa okukkiriza kwabwe n’okwagala kwe balina eri Katonda.​—Abebbulaniya 13:7.

  • Lwaki abalabirizi b’ebitundu bakyalira ebibiina?

  • Okukyala kwabwe kuyinza kukuganyula kutya?

MANYA EBISINGAWO

Lamba ku kalenda yo ennaku z’omwezi omulabirizi w’ekitundu lw’anaddamu okukyalira ekibiina oleme kusubwa mboozi z’anaawa mu nkuŋŋaana. Tegeeza oyo akusomesa Bayibuli bw’oba wandyagadde ajje n’omulabirizi oba ne mukyala we bakusomese, kikuyambe okweyongera okubamanya.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share