LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb23 Jjulaayi lup. 9
  • Bakola Nnyo ku Lwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bakola Nnyo ku Lwaffe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Similar Material
  • Siima Abo Yakuwa ne Yesu Be Batuwadde “ng’Ebirabo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Okuzziŋŋanamu Amaanyi
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • ‘Pawulo Yeebaza Katonda n’Aguma’
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2019
  • Okusalawo mu Ngeri Eraga nti Twesiga Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
mwb23 Jjulaayi lup. 9
Ebifaananyi: Omulabirizi akyalira ebibiina ng’akyalidde ekibiina. 1. Akubiriza olukuŋŋaana lw’okugenda mu buweereza. 2. Ali mu lukuŋŋaana lw’abakadde. 3. Ali n’ow’oluganda omuvubuka mu buweereza.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Bakola Nnyo ku Lwaffe

Abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe, beefiiriza nnyo ku lw’abo be baweereza. Nga bwe kiri eri ffenna, nabo babaako bye beetaaga, oluusi bakoowa, bafuna ebintu ebibamalamu amaanyi oba ebibeeraliikiriza. (Yak 5:17) Wadde kiri kityo, buli wiiki ebirowoozo byabwe babissa ku ngeri gye bayinza okuzzaamu amaanyi bakkiriza bannaabwe be baba bakyalidde. Mazima ddala abalabirizi abakyalira ebibiina basaanidde ‘okussibwamu ennyo ekitiibwa.’​—1Ti 5:17.

Omutume Pawulo bwe yali ateekateeka okukyalira ab’oluganda mu kibiina ky’e Rooma asobole “okubawa ekirabo eky’eby’omwoyo,” yali yeesunga ab’oluganda abo nabo okumuzzaamu amaanyi. (Bar 1:11, 12) Olowoozezza ku ngeri gy’oyinza okuzzaamu amaanyi omulabirizi akyalira ebibiina ne mukyala we, bw’aba nga mufumbo?

MULABE VIDIYO OBULAMU BW’OMULABIRIZI AWEEREREZA MU BITUNDU EBY’OMU BYALO, OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Abalabirizi abakyalira ebibiina ne bakyala baabwe beefiiriza batya ku lw’ekibiina?

  • Oganyuddwa otya mu kufuba kwabwe?

  • Tuyinza tutya okubazzaamu amaanyi?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share