Okuzziŋŋanamu Amaanyi
1. Kakisa ki ak’enjawulo ke tufuna mu kukyala kw’omulabirizi atambula?
1 Omutume Pawulo yawandiikira ekibiina ky’e Rooma ng’agamba nti: “Kubanga mbalumirwa okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe: kwe kusanyukagana awamu nammwe olw’okukkiriza kwammwe n’okwange.” (Bar. 1:11, 12) Ne leero, abalabirizi abatambula bwe batukyalira, tufuna akakisa okuzziŋŋanamu amaanyi.
2. Lwaki okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu kulangirirwa nga bukyali?
2 Ekibiina: Okutwalira awamu, okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu kulangirirwa mu kibiina ng’ekyabulayo emyezi ng’esatu. Kino kitusobozesa okukola enkyukakyuka mu nteekateeka zaffe tusobole okuganyulwa mu bujjuvu mu kukyala kwe. (Bef. 5:15, 16) Bw’oba okozesebwa, oyinza okusaba mukama wo akukkirize okuva ku mulimu osobole okwenyigira mu buweereza mu wiiki eyo. Abamu basalawo okukola nga bapayoniya abawagizi mu mwezi ogwo ogw’okukyala kw’omulabirizi. Bw’oba oteekateeka okubaako gy’olaga, oyinza okukyusaamu osobole okubaawo mu wiiki eyo?
3. Okusobola okuzzibwamu amaanyi, kiki kye tuyinza okukola ng’omulabirizi atukyalidde?
3 Ekigendererwa ekikulu eky’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu kwe kuzzaamu amaanyi ab’oluganda kinnoomu era n’okubatendeka mu buweereza bw’ennimiro. Oyinza okusaba okukolerako awamu naye oba ne mukyala we bw’aba nga mufumbo? Omulabirizi w’ekitundu anyumirwa nnyo okukola n’ababuulizi abatali bamu, nga mw’otwalidde n’abo abatalina nnyo bumanyirivu mu buweereza. Bonna basobola okuyigira ku ngeri gy’abuuliramu era n’okussa mu nkola amagazi g’abawa. (1 Kol. 4:16, 17) Bwe tumusembeza ku kijjulo, tweyongera okuzziŋŋanamu amaanyi. (Beb. 13:2) Okuva bwe kiri nti emboozi z’awa ziba zituukagana bulungi n’ebyetaago by’ekibiina, kiba kirungi ne tussaayo omwoyo.
4. Tuyinza tutya okuzzaamu amaanyi omulabirizi w’ekitundu kyaffe?
4 Omulabirizi w’Ekitundu: Omutume Pawulo teyali wa njawulo ku b’oluganda be yakyaliranga kubanga naye kennyini yayolekagananga n’ebizibu era yasiimanga nnyo bwe baamuzzangamu amaanyi. (2 Kol. 11:26-28) Ab’oluganda mu kibiina ky’e Rooma bwe baakitegeera nti Pawulo, eyali omusibe mu kiseera ekyo, yali ajja e Rooma, abamu baatambula ne bagenda mu katale ka Apiyo okumusisinkana—nga luno lwali lugendo lwa mayiro 46! “Pawulo bwe yabalabako ne yeebaza Katonda n’aguma omwoyo.” (Bik. 28:15) Mu ngeri y’emu, naawe osobola okuzzaamu amaanyi omulabirizi w’ekitundu kyammwe. Muwe ‘ekitiibwa kya mirundi ebiri’ ng’ofuba okuwagira okukyala kwe. (1 Tim. 5:17) Kyoleke nti osiima ebyo by’akola ku lulwo. Ye ne mukyala we bajja kusanyuka nnyo bwe banaalaba okukkiriza kwo, okwagala kwo, n’obugumiikiriza bwo.—2 Bas. 1:3, 4.
5. Lwaki ffenna leero twetaaga okuzzibwamu amaanyi?
5 Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ ani ku ffe ateetaaga kuzzibwamu maanyi? (2 Tim. 3:1) Salawo kati okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza mu wiiki ey’enjawulo ey’okukyala kw’omulabirizi w’ekitundu. Ffenna—abalabirizi abatambula n’ababuulizi—tusobola okuzziŋŋanamu amaanyi. Bwe tukola bwe tutyo, tujja ‘kweyongera okubudaabuda bannaffe era n’okubazimba.’—1 Bas. 5:11.