LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • fg essomo 11 kib. 1-4
  • Amateeka ga Katonda Gatuganyula Gatya?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Amateeka ga Katonda Gatuganyula Gatya?
  • Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Similar Material
  • Kolera ku Misingi gya Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Emisingi gya Katonda Giyinza Okukuganyula
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Kkiriza Amateeka ga Katonda n’Emisingi Gye Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
  • Noonya Obulagirizi bwa Katonda mu Bintu Byonna
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
See More
Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
fg essomo 11 kib. 1-4

ESSOMO 11

Amateeka ga Katonda Gatuganyula Gatya?

1. Lwaki twetaaga obulagirizi?

Okussa mu nkola emisingi egiri mu Bayibuli: Maama ng’asiba omwana omusipi; taata ne mutabani we nga bambadde enkofiira; Omukazi ng’ali lubuto, n’omukozi, bonna nga beefaako

Amateeka ga Katonda gatuyamba gatya okuba abeegendereza?​—ZABBULI 36:9.

Omutonzi waffe atusinga amagezi. Atwagala nnyo era atufaako. Tekyali kigendererwa kye abantu okwetwala bokka. (Yeremiya 10:23) Ng’omwana omuto bwe yeetaaga obulagirizi bwa bazadde be, naffe twetaaga obulagirizi bwa Katonda. (Isaaya 48:17, 18) Amateeka ga Katonda gatuwa obulagirizi, era obulagirizi obwo kirabo okuva eri Katonda.​—Soma 2 Timoseewo 3:16.

Amateeka ga Yakuwa gatuyamba okweyisa obulungi mu kiseera kino, era gatulaga n’engeri gye tusobola okufuna emikisa egy’olubeerera mu biseera eby’omu maaso. Olw’okuba Katonda ye yatutonda, kya magezi okugoberera obulagirizi bwe.​—Soma Zabbuli 19:7, 11; Okubikkulirwa 4:11.

2. Ekigambo kya Katonda kituwa kitya obulagirizi?

Ebimu ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli bitulaga ebyo Katonda by’ayagala tukole mu mbeera ezitali zimu. Mu Bayibuli era mulimu amateeka agalagira ddala ekyo kye nnyini kye tulina okukola. (Ekyamateeka 22:8) Tusaanidde okukozesa amagezi okusobola okutegeera obulagirizi obutuweebwa mu Bayibuli. (Engero 2:10-12) Ng’ekyokulabirako, Bayibuli eyigiriza nti obulamu kirabo okuva eri Katonda. Ekyo bwe tukimanya tufuba okwewala ekintu kyonna ekiyinza okuteeka obulamu bwaffe mu kabi nga tuli ku mulimu, nga tuli waka, oba nga tuliko we tulaga.​—Soma Ebikolwa 17:28.

3. Amateeka abiri agasinga obukulu ge galuwa?

Yesu yayogera ku mateeka abiri amakulu ennyo. Erisooka liraga ekigendererwa ky’obulamu, nga kino kwe kumanya Katonda, okumwagala, n’okumuweereza n’obwesigwa. Etteeka lino erisooka tusaanidde okulirowoozaako mu byonna bye tusalawo. (Engero 3:6) Abo abagondera etteeka lino bafuuka mikwano gya Katonda, era bajja kufuna obulamu obutaggwaawo n’essanyu erya namaddala.​—Soma Matayo 22:36-38.

Etteeka ery’okubiri lituyamba okukolagana obulungi n’abalala. (1 Abakkolinso 13:4-7) Okugondera etteeka lino kituyamba okukoppa engeri Katonda gy’ayisaamu abantu.​—Soma Matayo 7:12; 22:39, 40.

4. Amateeka ga Katonda gatuganyula gatya?

Amaka amasanyufu

Okugondera amateeka ga Katonda kisobozesa ab’omu maka okubeera obumu era nga baagalana. (Abakkolosaayi 3:12-14) Era Ekigambo kya Katonda kisobozesa amaka okuba amanywevu kubanga kiraga nti obufumbo bulina kuba bwa lubeerera.​—Soma Olubereberye 2:24.

Okukolera ku ebyo bye tuyiga mu Bayibuli kituyamba ne mu by’enfuna. Ng’ekyokulabirako, ku mirimu batera okwagala abakozi abeesigwa era abanyiikivu. (Engero 10:4, 26; Abebbulaniya 13:18) Ekigambo kya Katonda era kiraga nti tusaanidde okuba abamativu n’ebintu ebyetaagisa mu bulamu era n’okwagala Katonda okusinga eby’obugagga.​—Soma Matayo 6:24, 25, 33; 1 Timoseewo 6:8-10.

Okugondera amateeka ga Katonda kya bukuumi eri obulamu bwaffe. (Engero 14:30; 22:24, 25) Okugeza, bwe tugondera amateeka ga Katonda agagaana okutamiira kitusobozesa okwewala endwadde ez’akabi n’obubenje. (Engero 23:20) Yakuwa atukkiriza okunywa omwenge naye nga tunywa gwa kigero. (Zabbuli 104:15; 1 Abakkolinso 6:10) Amateeka ga Katonda gatuyamba okweyisa obulungi n’okufuga ebirowoozo byaffe. (Zabbuli 119:97-100) Abakristaayo ab’amazima tebagondera mateeka ga Katonda olw’okuba nti gabaganyula kyokka, naye era bagagondera olw’okuweesa Yakuwa ekitiibwa.​—Soma Matayo 5:14-16.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 12 ne 13 mu katabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share