LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 3/1 lup. 4-7
  • Emisingi gya Katonda Giyinza Okukuganyula

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emisingi gya Katonda Giyinza Okukuganyula
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Oli Waggulu Nnyo ng’Ofuga Ensi Yonna”
  • “Mu Buwombeefu”
  • Kolera ku Misingi gya Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Amateeka ga Katonda Gatuganyula Gatya?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Ddala Katonda Akufaako?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Abakadde Muyigire ku Gidiyoni
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 3/1 lup. 4-7

Emisingi gya Katonda Giyinza Okukuganyula

AWATALI kubuusabuusa okimanyi nti ebisolo tebirowooza wabula nti bikozesa magezi agaabitonderwamu. Ebyuma bingi bikolebwa nga birina kutambulira ku biragiro. Naye bo abantu tebaatondebwa kutambulira ku biragiro wabula okugoberera emisingi. Ekyo oyinza kukikakasa otya? Yakuwa, Ensibuko y’emisingi gyonna egy’obutuukirivu, yagamba bw’ati ng’atonda abantu abaasooka: “Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe.” Omutonzi waffe mwoyo; talina mubiri nga gwaffe. N’olwekyo, twatondebwa mu “kifaananyi” kye mu ngeri nti tusobola okwoleka ezimu ku ngeri ze ennungi. Abantu basobola okutambuliza obulamu bwabwe ku misingi, kwe kugamba, nga bagoberera ekyo kye batwala okuba nti kye kituufu. Mingi ku misingi egyo Yakuwa yagiwandiisa mu Baibuli.​—Olubereberye1:26; Yokaana 4:24; 17:17.Naye omuntu omu ayinza okugamba nti, ‘Baibuli erimu emisingi mingi era nti tekisoboka kugimanya gyonna. Ekyo kituufu. Kyokka, weetegereze kino: Wadde ng’emisingi gya Katonda gyonna gya muganyulo, egimu mikulu okusinga emirala. Ekyo oyinza okukiraba mu Matayo 22:37-39, Yesu we yakiragira nti agamu ku mateeka ga Musa gaali makulu okusinga amalala.

Misingi ki egisinga obukulu? Gy’egyo egikwata obutereevu ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Bwe tunywerera ku misingi gino, Omutonzi afuuka omuntu atukubiriza mu bulamu bwaffe ku bikwata ku mpisa. Ate era, waliwo emisingi egikwata ku nkolagana yaffe n’abantu abalala. Bwe tugissa mu nkola, kijja kutuyamba okwewala endowooza ey’okwefaako ffekka.

Ka tutandikire ku mazima agasingayo obukulu mu Baibuli. Amazima ago ge galuwa era gatukwatako gatya?

“Oli Waggulu Nnyo ng’Ofuga Ensi Yonna”

Ebyawandiikibwa bitulaga bulungi nti Yakuwa ye Mutonzi waffe, Katonda Ayinza byonna. Teyenkanika era tajjulukuka. Gano mazima makulu agali mu Baibuli.​—Olubereberye 17:1; Omubuulizi 12:1.

Omu ku bawandiisi b’ekitabo kya Zabbuli yayogera bw’ati ku Yakuwa: ‘Gwe wekka Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.’ Kabaka Dawudi ow’edda yawandiika: “Obwakabaka bubwo, ai Mukama, era ogulumizibwa okuba omutwe gwa byonna.” Ne nnabbi Yeremiya amanyiddwa ennyo yawandiika: “Tewali afaanana ggwe, ai Mukama; ggwe mukulu, n’erinnya lyo kkulu mu buyinza.”​—Zabbuli 83:18; 1 Ebyomumirembe 29:11; Yeremiya 10:6.

Amazima ago agakwata ku Katonda twandigagoberedde tutya mu bulamu bwaffe?

Kya lwatu nti Omutonzi waffe era Eyatuwa Obulamu ye yanditutte ekifo ekisooka mu bulamu bwaffe. Olw’ensonga eyo, tekyandibadde kya magezi okwewala engeri yonna ey’okwegulumiza, engeri eyolesebwa ennyo abantu abamu okusinga abalala? Omusingi oguyinza okutuyamba, kwe ‘kukola ebintu byonna olw’okuweesa Katonda ekitiibwa. (1 Abakkolinso 10:31) Nnabbi Danyeri yateekawo ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno.

Ebyafaayo biraga nti lumu Kabaka Nebukadduneeza yaloota ekirooto ekyamweraliikiriza, era n’ayagala okutegeezebwa amakulu gaakyo. Wadde ng’abalala bonna baalemererwa, Danyeri yabuulira kabaka amakulu g’ekirooto ekyo. Danyeri yeegulumiza olwa kino kye yakola? Nedda, ekitiibwa yakiwa “Katonda [ow’omu] ggulu abikkula ebyama.” Danyeri yagamba: “Naye nze ekyama kino tekimbikkuliddwa nze olw’amagezi gonna ge nnina okusinga omuntu yenna omulamu.” Danyeri yali musajja alina emisingi gy’agoberera. Tekyewuunyisa nti mu kitabo kya Danyeri, ayogerwako ng’omuntu “omwagalwa ennyo” mu maaso ga Katonda.​—Danyeri 2:28, 30; 9:23; 10:11, 19.

Ojja kuganyulwa bw’onookoppa Danyeri. Ekiruubirirwa ky’oba nakyo kintu kikulu nnyo bw’oba ow’okugoberera ekyokulabirako kya Danyeri. Ani alina okuweebwa ekitiibwa olw’ebyo by’okoze? K’obeere mu mbeera ki, osobola okutuukana n’omusingi gwa Baibuli guno omukulu​—Yakuwa ye Mukama Afuga Byonna. Bw’onookola bw’otyo, ojja kufuuka omuntu “omwagalwa ennyo” mu maaso ge.

Kati ka twetegereze emisingi emikulu ebiri egiyinza okutuyamba mu nkolagana yaffe n’abalala. Okukolagana n’abalala kusoomooza kwa maanyi, kubanga bangi beefaako bokka.

“Mu Buwombeefu”

Abo abeegulumiza, emirundi egisinga tebatera kumatira. Abasinga obungi ku abo, buli kiseera baba baagala obulamu obusingawo obulungi, era nga babwagalirawo mu kiseera ekyo. Obuwombeefu babutwala ng’akabonero akalaga obunafu era nti abantu abalala be balina okubeera abagumiikiriza so si bo. Bwe kituuka ku kwefunira ettutumu, baagala okulifuna mu ngeri yonna esoboka, k’ebeere ntuufu oba nkyamu. Olowooza waliwo engeri endala gy’oyinza okweyisaamu eyawukana ku eyo?

Buli lunaku, abaweereza ba Katonda boolekagana n’endowooza ey’okwefaako bokka, naye tebasaanidde kugikoppa. Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo bamanyi omusingi ogugamba nti “eyeetendereza yekka si ye asiimibwa wabula Mukama waffe gw’atendereza.”​—2  Abakkolinso 10:18.

Okussa mu nkola omusingi ogusangibwa mu Abafiripi 2:3, 4 kijja kutuyamba nnyo. Gutukubiriza ‘obutakolanga kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe yeegulumiza yekka.’ Mu ngeri eyo ‘tetujja kutunuulira byaffe byokka, wabula n’eby’abalala.’

Omuntu omu eyeerowoozaako mu ngeri ennungi, ye Gidyoni, eyali omulamuzi w’Abebbulaniya ab’edda. Teyaluubirira kuba mukulembeze wa Isiraeri. Bwe yalondebwa okuba mu kifo ekyo, yagamba nti yali tasaanidde. Yagamba bw’ati: “Baganda bange be basinga okuba abaavu mu Manase, nange ndi muto mu nnyumba ya kitange.”​—Ekyabalamuzi 6:12-16.

Kyokka, oluvannyuma lwa Yakuwa okuwa Gidyoni obuwanguzi, abasajja ba Efulayimu baamuyombesa. Gidyoni yakola ki? Yeetwala okuba owa waggulu ennyo olw’obuwanguzi bwe yali atuuseeko? N’akatono. Engeri gye yaddamu ey’eggonjebwa yakkakkanya abasajja abo, bwe kityo akabi ne katabaawo. “N’abagamba nti nze kye nkoze kaakano kiki okukyenkanyankanya nammwe?” Gidyoni yali mwetoowaze.​—Ekyabalamuzi 8:1-3.

Kituufu nti ebikwata ku Gidyoni byaliwo dda nnyo. Kyokka, ne kaakati tuganyulwa bwe tubyekenneenya. Okiraba bulungi nti endowooza ya Gidyoni yali ya njawulo nnyo ku eyo eriwo kati era yamuganyula.

Endowooza ey’okwefaako ffekka eriwo kati esobola okutubuzaabuza ne twetwala okuba aba waggulu ennyo. Emisingi gya Baibuli gisobola okugolola ensobi eyo ne gitulaga ekifo ekituufu kye tulina mu maaso g’Omutonzi n’eri bantu bannaffe.

Bwe tussa mu nkola emisingi gya Baibuli, twesamba endowooza eno ey’okwefaako ffekka. Tuba tetukyafugibwa nneewulira zaffe. Gye tukoma okuyiga ku misingi egy’obutuukirivu gye tukoma n’okutegeera oyo Eyagitandikawo. Yee, okussaayo ennyo omwoyo ku misingi gya Katonda nga tusoma Baibuli kiganyula.​—Laba akasanduuko.

Yakuwa yakola omuntu nga wa waggulu nnyo ku nsolo ezitalowooza era ezigoberera obugoberezi amagezi agaazitondebwamu. Okukola Katonda by’ayagala kizingiramu okussa mu nkola emisingi gye. Mu ngeri eyo tusobola okunywerera ku mitindo gy’empisa ennungi eginaatusobozesa okuyingira mu nsi ya Katonda empya. Baibuli etuyamba okuba abakakafu nti ensi empya ‘obutuukirivu mwe bunaatuula,’ esembedde.​—2 Peetero 3:13.

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Egimu ku Misingi gya Baibuli Eginaakuyamba

Mu maka:

“Omuntu yenna tanoonyanga bibye yekka, wabula ebya munne.”​—1 Abakkolinso 10:24.

“Okwagala . . . tekunoonya byakwo.”​—1 Abakkolinso 13:4, 5.

“Buli muntu ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yekka.”​—Abaefoso 5:33.

“Abakazi muwulirenga babbammwe.”​—Abakkolosaayi 3:18.

“Owuliranga kitaawo eyakuzaala, so tonyoomanga nnyoko ng’akaddiye.”​—Engero 23:22.

Ku ssomero, ku mulimu, oba mu bya bizineesi:

“Eminzaani ey’obulimba ya muzizo eri Mukama . . . Omubbi afuna empeera emulimbalimba.” ​—Engero 11:1, 18.

“Eyabbanga ereme kubba nate, naye waakiri afubenga, ng’akola ebirungi n’emikono gye.” ​—Abaefeso 4:28.

“Omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu n’okulya talyanga.”​—2 Abasessaloniika 3:10.

“Buli kye mukola, mukikolenga n’omwoyo gwammwe gwonna nga ku bwa Yakuwa.” ​—Abakkolosaayi 3:23. (NW)

“Twagala okubanga n’empisa ennungi [“abeesigwa,” NW] mu buli kimu.”​—Abaebbulaniya 13:18.

Endowooza eri eby’obugagga:

“Ayanguwa okugaggawala taliwona kubonerezebwa.”​—Engero 28:20.

“Ayagala ffeeza takkutenga ffeeza.”​—Omubuulizi 5:10.

Okumanya ekifo kyo:

‘Abantu okwenoonyeza ekitiibwa ekyabwe ku bwabwe bo, si kitiibwa.’​—Engero 25:27.

“[Omulala] akutenderezenga so si kamwa ko ggwe.”​—Engero 27:2.

“Buli muntu ali mu mmwe alemenga [kwerowoozaako nnyo] okusinga bwe kimugwanidde okulowooza.”​—Abaruumi 12:3.

“Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba ekintu, nga si kintu, nga yeerimbalimba.”​—Abaggalatiya 6:3.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]

Danyeri yawa Katonda ekitiibwa ekimugwanira

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Okuyisa abalala mu ngeri etuukana n’emisingi gya Katonda, kireetawo enkolagana ennungi n’essanyu

[Ensibuko y’ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

U.S. Fish & Wildlife Service, Washington, D.C./Robert Bridges

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share