Kolera ku Misingi gya Katonda
“[Yakuwa] akuyigiriza oganyulwe.”—ISAAYA 48:17, NW.
1. Omutonzi waffe atukulembera atya?
NGA bannasayansi bafuba okumanya ebiri mu butonde, bawuniikirira nnyo olw’amaanyi amangi ennyo agali mu bwengula. Enjuba—emmunyeenye etali nnene nnyo—evaamu amaanyi mangi nnyo.” Omutonzi waffe asobola okufuga era n’okuwa obulagirizi ebitonde eby’amaanyi ennyo bwe bityo ebiri mu bwengula ng’akozesa amaanyi ge agataliiko kkomo. (Yobu 38:32; Isaaya 40:26) Naye ate kiri kitya eri ffe abantu abalina eddembe ery’okwesalirawo, abalina obusobozi bw’okulowooza era n’obw’okutegeera ensonga ezikwata ku by’omwoyo? Omutonzi waffe asazeewo kutukulembera mu ngeri ki? Atukulembera mu ngeri ey’okwagala ng’akozesa amateeka ge agatuukiridde n’emisingi gye egya waggulu ennyo, wamu n’omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa obulungi.—2 Samwiri 22:31; Abaruumi 2:14, 15.
2, 3. Buwulize bwa ngeri ki Katonda bw’asanyukira?
2 Katonda asanyukira ebitonde ebirina amagezi ebisalawo okumugondera. (Engero 27:11) Mu kifo ky’okutukola nga tumala gakola kyonna ekiba kitulagiddwa ng’ebyuma bikalimagezi, Yakuwa yatutonda nga tulina obusobozi bw’okwesalirawo.—Abaebbulaniya 5:14.
3 Yesu, eyayoleka engeri za Kitaawe mu ngeri etuukiridde, yagamba abayigirizwa be: “Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira. Sikyabayita baddu.” (Yokaana 15:14, 15) Mu biseera eby’edda, omuddu yali talina ddembe lyonna wabula okugondera obugondezi amateeka ga mukama we. Ku ludda olulala, okwolesa engeri ezisikiriza omutima kireetawo omukwano. Tusobola okubeera mikwano gya Yakuwa. (Yakobo 2:23) Omukwano guno gunywezebwa lwa kwagala. Yesu yakwataganya obuwulize eri Katonda n’okwagala bwe yagamba: “Omuntu bw’anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga.” (Yokaana 14:23) Olw’okuba Kitaffe atwagala era ng’ayagala okutuwa obulagirizi obunaatugasa, atukubiriza okugoberera emisingi gye.
Emisingi gya Katonda
4. Wandinnyonnyodde otya emisingi?
4 Emisingi kye ki? Omusingi ge “mazima agasookerwako: etteeka ekkulu, enjigiriza, oba ebigambo amateeka amalala n’enjigiriza kwe byesigamiziddwa oba kwe bisinziira.” (Webster’s Third New International Dictionary) Bwe twekenneenya obulungi Baibuli tusobola okukizuula nti Kitaffe ow’omu ggulu atuwa emisingi egikwata ku mbeera nnyingi ez’obulamu bwaffe. Ekyo akikola kubanga ayagala okutuganyula emirembe gyonna. Ekyo kikwatagana bulungi ne Kabaka Sulemaani bye yawandiika: “Ai mwana wange, wulira okkirizenga ebigambo byange; n’emyaka egy’obulamu bwo giriba mingi. N[n]aakuyigiriza ekkubo ery’amagezi; n[n]aakuluŋŋamya mu makubo ag’obugolokofu.” (Engero 4:10, 11) Emisingi emikulu Yakuwa gy’atuwadde gikwata ku nkolagana yaffe naye era n’abantu abalala, okusinza kwaffe era n’obulamu bwaffe obwa bulijjo. (Zabbuli 1:1) Ka twekenneenye egimu ku misingi egyo emikulu.
5. Menyayo emisingi egimu emikulu.
5 Ku bikwata ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, Yesu yagamba: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37) Okugatta ku ekyo, Katonda atuwadde emisingi egikwata ku nkolagana yaffe n’abantu abalala gamba ng’etteeka lino: “Kale byonna bye mwagala abantu okubakolanga mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo: kubanga ekyo ge mateeka ne bannabbi.” (Matayo 7:12; Abaggalatiya 6:10; Tito 3:2) Ku bikwata ku kusinza, tukubirizibwa: “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu.” (Abaebbulaniya 10:24, 25) Ate ku bikwata ku nneeyisa yaffe eya bulijjo, omutume Pawulo yagamba: “Kale oba nga mulya, oba nga munywa, oba nga mukola ekigambo kyonna kyonna, mukolenga byonna olw’ekitiibwa kya Katonda.” (1 Abakkolinso 10:31) Ekigambo kya Katonda kirimu emisingi emirala mingi nnyo ddala.
6. Emisingi gyawukana gitya ku mateeka?
6 Emisingi gaba mazima makulu nnyo era ag’omuganyulo, era Abakristaayo ab’amagezi bagyagala. Yakuwa yaluŋŋamya Sulemaani okuwandiika: “Mwana wange, ssangayo omwoyo eri ebigambo byange; teganga okutu [kwo] eri okwogera kwange. Tebivanga ku maaso go; bikuumirenga wakati mu mutima gwo. Kubanga ebyo bwe bulamu eri abo ababiraba, era kwe kulama eri omubiri gwabwe gwonna.” (Engero 4:20-22) Emisingi gyawukana gitya ku mateeka? Amateeka geesigama ku misingi. Amateeka, gatera okubaako ensonga gye googerako obutereevu, era gayinza okukola okumala ebbanga eggere. Naye, gyo, emisingi, gikola ekiseera kyonna. (Zabbuli 119:111) Emisingi gya Katonda tegiva ku mulembe oba tegiviirawo ddala. Ebigambo bya nnabbi Isaaya ebyaluŋŋamizibwa bituufu nnyo: “Omuddo guwotoka, ekimuli kiyongobera: naye ekigambo kya Katonda waffe kinaanyweranga ennaku zonna.”—Isaaya 40:8.
Lowoozanga ku Misingi era Gikolerengako
7. Ekigambo kya Katonda kitukubiriza kitya okulowooza n’okukolera ku misingi gye?
7 Enfunda n’enfunda, “ekigambo kya Katonda waffe” kitukubiriza okulowooza era n’okukolera ku misingi. Yesu bwe yasabibwa okuwumbawumbako Amateeka, yayogera ebintu bibiri ebituukira ddala ku nsonga—ekimu nga kiggumiza okwagala Yakuwa, ekirala nga kikwata ku kwagala bantu bannaffe. (Matayo 22:37-40) Mu kwogera ebyo, Yesu yali ajuliza enjigiriza enkulu ey’omu Mateeka ga Musa, esangibwa mu Ekyamateeka 6:4, 5: “Mukama Katonda waffe ye Mukama omu: era onooyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’emmeeme yo yonna, n’amaanyi go gonna.” Era Yesu yali amanyi ekiragiro kya Katonda ekiri mu Abaleevi 19:18. Ebigambo bya Kabaka Sulemaani ebitegeerekeka obulungi ebikomekkereza ekitabo ky’Omubuulizi, binokolayo amateeka ga Katonda agawerako: “Enkomerero ya byonna, buli kimu nga kiwuliddwa, kye kino: Tyanga Katonda ow’amazima era kwata ebiragiro bye. Kubanga kino bwe buvunaanyizibwa bwonna obw’omuntu. Katonda ow’amazima kennyini ajja kusalira omusango buli mulimu gwonna okusinziira ku buli kintu kyonna ekikwekeddwa, oba nga kirungi oba nga kibi.”—Omubuulizi 12:13, 14; Mikka 6:8.
8. Lwaki kiba kya bukuumi okutegeera obulungi emisingi gya Baibuli emikulu?
8 Bwe tutegeera obulungi emisingi ng’egyo emikulu, kisobola okutuyamba okutegeera era n’okukolera ku mateeka. Okwongereza ku ekyo, bwe tutategeera bulungi misingi ng’egyo emikulu era ne tugikkiriza, tuyinza obutasobola kusalawo mu ngeri ey’amagezi, era okukkiriza kwaffe kuyinza okunafuwa. (Abaefeso 4:14) Singa tuteeka emisingi egyo mu birowoozo byaffe ne mu mitima, tujja kusobola okugikozesa nga tusalawo. Bwe tugitegeera obulungi era ne tugigoberera tujja kufuna essanyu.—Yoswa 1:8; Engero 4:1-9.
9. Lwaki tekitera kuba kyangu okutegeera n’okussa mu nkola emisingi gya Baibuli?
9 Okutegeera n’okugoberera emisingi gya Baibuli tekiba kyangu nnyo ng’okugoberera amateeka. Ng’abantu abatatuukiridde, tuyinza okulemererwa okufuba okulowooza ku misingi nga bwe kiba kyetaagisa. Bwe tuba twolekaganye n’okusalawo okuzibu, tuyinza okwagala okuweebwa etteeka eritulagira ddala eky’okukola. Oluusi tuyinza okugenda eri Omukristaayo akuze mu by’omwoyo—oboolyawo omukadde mu kibiina—nga tusuubira okutegeezebwa etteeka erikwatira ddala ku mbeera yaffe. Naye Baibuli oba ebitabo ebigyesigamiziddwako biyinza obutabaamu tteeka erikwatira ddala obutereevu ku nsonga eyo. Ate era ne bwe tuba tutegeezeddwa etteeka eryo, tekitegeeza nti lijja kukwata ku buli mbeera. Oyinza okuba ng’ojjukira nti omusajja omu yagamba Yesu: “Omuyigiriza, gamba muganda wange agabane nange eby’obusika bwaffe.” Mu kifo ky’okumuwa amangu ago etteeka eryandigonjodde ekizibu ekyo ne muganda we, Yesu yamuwa omusingi: “Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna.” Mu ngeri eyo, Yesu yabawa obulagirizi obwali obw’omuganyulo mu kiseera ekyo, era obukyali obw’omuganyulo n’okutuusa kati.—Lukka 12:13-15.
10. Okugoberera emisingi kyoleka kitya ekitukubiriza mu mitima gyaffe?
10 Oboolyawo wali olabyeyo abantu abagondera amateeka kubanga batya okubonerezebwa. Kyokka, bw’oba ossa ekitiibwa mu misingi, toyinza kubeera na ndowooza ng’eyo. Emisingi gireetera abo abagigoberera okubeera abawulize okuviira ddala mu mutima. Mu butuufu, emisingi egisinga obungi tegiraga kibonerezo ekifunibwa abo abatagigoberera. Ekyo kituwa omukisa okwoleka ensonga lwaki tugondera Yakuwa, era n’ekyo ekitukubiriza mu mutima. Ku nsonga eno, tulina ekyokulabirako kya Yusufu eyagaana okwetaba ne mukyala wa Potifali. Wadde nga Yakuwa yali tannaba kuteekawo tteeka mu buwandiike erigaana obwenzi era n’ekibonerezo ekirina okuweebwa omuntu eyeetabye n’omukazi w’omuntu omulala, Yusufu yali amanyi bulungi omusingi ogukwata ku bwesigwa obulina okubaawo wakati w’abafumbo. (Olubereberye 2:24; 12:18-20) Okusinziira ku bye yayogera tusobola okulaba nti emisingi egyo girina eky’amaanyi kye gyamukolako: “Nnyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n’okusobya [mu maaso ga] Katonda?”—Olubereberye 39:9.
11. Bintu ki Abakristaayo bye baagala okukola nga bagoberera emisingi gya Yakuwa?
11 Leero, Abakristaayo baagala okukulemberwa emisingi gya Yakuwa ku nsonga ezibakwatako bokka, gamba ng’okulonda emikwano, eby’okwesanyusaamu, ennyimba n’okusoma ebitabo. (1 Abakkolinso 15:33; Abafiripi 4:8) Nga tweyongera okutegeera n’okusiima ennyo emisingi gya Yakuwa era n’emitindo gye, omuntu waffe ow’omunda era n’okufumiitiriza ku kisaanidde, bijja kutuyamba okussa mu nkola emisingi gya Katonda mu buli mbeera yonna gye tuyinza okwolekagana nayo, ka zibe nsonga ez’omunda ennyo ezitukwatako ffekka. Olw’okuba tukulemberwa emisingi gya Baibuli, tetujja kunoonyereza mbeera we tuyinza kusuulira muguluka amateeka ga Katonda era tetujja kukoppa abo abagezaako okulaba wa we bayinza okukoma nga tebamenye mateeka ga Katonda. Tukimanyi nti endowooza ng’eyo eba ya kabi.—Yakobo 1:22-25.
12. Kintu ki ekikulu ekyetaagisa okusobola okukulemberwa emisingi gya Katonda?
12 Abakristaayo abakulu mu by’omwoyo bakimanyi nti ekintu ekikulu ekibasobozesa okugoberera emisingi gya Katonda, kwe kumanya engeri gy’awuliramu ku nsonga ekwatibwako. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba: “Kale mmwe abaagala Mukama mukyawe obubi.” (Zabbuli 97:10) Nga zittottola ebintu ebimu Katonda by’atwala ng’ebibi, Engero 6:16-19 zigamba: “Waliwo ebigambo mukaaga Mukama by’akyawa; weewaawo musanvu bya muzizo gy’ali: amaaso ag’amalala, olulimi olulimba, n’engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango; omutima oguyunja ebirowoozo ebibi, ebigere ebyanguwa embiro okugoberera ettima; omujulirwa w’obulimba ayogera eby’obulimba n’oyo asiga okukyawagana mu b’oluganda.” Singa tufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’awuliramu ku bintu ebikulu ng’ebyo, kitubeerera kyangu okukolera ku misingi ng’egyo.—Yeremiya 22:16.
Ekigendererwa Ekirungi Kyetaagisa
13. Kiki Yesu kye yassaako essira mu Kubuulira kwe okw’Oku Lusozi?
13 Okumanya n’okugoberera emisingi era kitukuuma obutagwa mu kyambika ky’okusinza okutali kwa bwesimbu. Waliwo enjawulo wakati w’okugoberera emisingi n’okukola ekyo ekiragiddwa mu mateeka. Ekyo Yesu yakiraga bulungi mu Kubuulirira kwe okw’Oku Lusozi. (Matayo 5:17-48) Jjukira nti abantu abaali bawuliriza Yesu baali Bayudaaya, n’olwekyo, bateekwa okuba nga baali bagoberera Amateeka ga Musa. Naye mu butuufu, Amateeka baali bagategeera mu bukyamu. Essira baasinga kulissa ku ekyo kyennyini ekyabanga kyogeddwako mu tteeka so si ku makulu gennyini agalimu. Era baggumiza nnyo obulombolombo bwabwe okusinga okuyigiriza kwa Katonda. (Matayo 12:9-12; 15:1-9) N’ekyavaamu, abantu tebaayigirizibwa kulowooza nga basinziira ku misingi.
14. Yesu yayamba atya abaali bamuwuliriza okulowooza nga beesigama ku misingi?
14 Okwawukana ku ekyo, mu Kubuulirira kwe okw’Oku Lusozi, Yesu yayogera ku misingi egikwata ku bintu bitaano: obusungu, obufumbo n’okugattululwa, ebisuubizo, okuwoolera eggwanga, okwagala n’okukyawa. Ku buli musingi, Yesu yalaga emiganyulo egiri mu kugugoberera. Mu ngeri eyo, Yesu yalaga nti omutindo gw’empisa ogw’abagoberezi be gwandibadde gwa waggulu nnyo. Ng’ekyokulabirako, ku nsonga y’obwenzi, yatuteerawo omusingi ogusobola okutuyamba okukuuma enneeyisa yaffe, ebirowoozo byaffe awamu n’okwegomba: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.”—Matayo 5:28.
15. Tuyinza tutya okwewala endowooza y’okukalambira ku ekyo kyokka ekiragiddwa mu mateeka?
15 Ekyokulabirako ekyo kiraga nti tetusaanidde kulemererwa kulaba kigendererwa n’omulamwa gwennyini oguli mu misingi gya Yakuwa. Mazima ddala tetwandirowoozezza nti tusobola okusiimibwa Yakuwa olw’ebikolwa eby’okutuukiriza obutuukiriza oluwalo. Yesu yalaga obukyamu bw’endowooza ng’eyo ng’ayogera ku kisa n’okwagala kwa Katonda. (Matayo 12:7; Lukka 6:1-11) Bwe tugoberera emisingi gya Baibuli, tujja kwewala okugendera ku lukalala lw’amateeka agatava mu Baibuli oba okuwaliriza abalala okugagoberera. Essira tujja kusinga kulissa ku misingi egikwata ku kwagala n’obuwulize eri Katonda mu kifo ky’okubeera obubeezi n’ekifaananyi eky’okungulu eky’okusinza.—Lukka 11:42.
Ebirungi Ebivaamu
16. Waayo emisingi egimu egyesigamiziddwako amateeka agamu agali mu Baibuli.
16 Nga tufuba okugondera Yakuwa, kikulu okumanya nti amateeka ge geesigamiziddwa ku misingi emikulu. Ng’ekyokulabirako, Abakristaayo balina okwewala okusinza ebifaananyi, obwenzi n’okukozesa obubi omusaayi. (Ebikolwa 15:28, 29) Misingi ki egyesigamiziddwako ebiragiro ebyo eri Abakristaayo? Katonda ayagala tusinze ye yekka; tusaanidde okubeera abeesigwa eri bannaffe mu bufumbo; era Yakuwa y’Awa Obulamu. (Olubereberye 2:24; Okuva 20:5; Zabbuli 36:9) Okutegeera emisingi gino kitusobozesa okukkiriza n’okugoberera amateeka agakwatagana nagyo.
17. Miganyulo ki egiyinza okuva mu kutegeera n’okugoberera emisingi gya Baibuli?
17 Bwe tutegeera emisingi egyo era ne tugigoberera, tumanya nti gisobola okutuganyula. Emikisa egy’eby’omwoyo abantu ba Katonda gye bafuna gijjirako emiganyulo egirabikako. Ng’ekyokulabirako, abo abeewala okufuweeta ttaaba n’empisa ez’obugwenyufu era abawa omusaayi ekitiibwa, tebafuna ndwadde ezifunibwa okuyitira mu bintu ebyo. Mu ngeri y’emu, bwe tugoberera amazima ge tuyize mu Baibuli, kiyinza okutuganyula mu by’enfuna, mu nkolagana yaffe n’abantu abalala, oba mu maka. Emiganyulo ng’egyo egirabika, giwa obukakafu nti emisingi gya Yakuwa gya muganyulo era nti gikola. Naye okufuna emiganyulo ng’egyo, si ye nsonga enkulu etuleetera okugoberera emisingi gya Katonda. Abakristaayo ab’amazima bagondera Yakuwa olw’okuba bamwagala, olw’okuba gwe basaanidde okusinza, era olw’okubanga kye kintu ekituufu okukola.—Okubikkulirwa 4:11.
18. Bwe tuba nga twagala okubeera Abakristaayo abalungi, obulamu bwaffe twandibutambulizza ku ki?
18 Tusobola okubeera n’obulamu obulungi ennyo singa tukkiriza okukulemberwa emisingi gya Baibuli. Era ekyo kiyinza okusikiriza abalala okuweereza Katonda. N’ekisinga obukulu, obulamu bwaffe buweesa Yakuwa ekitiibwa. Tumanya nti ddala Yakuwa, Katonda wa kwagala era nti atwagaliza birungi byereere. Bwe tubaako bye tusazeewo nga twesigamye ku misingi gya Baibuli era ne tulaba Yakuwa bw’atuwa emikisa, enkolagana yaffe naye yeeyongera okuba ey’oku lusegere. Yee, tweyongera okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ennyo ne Kitaffe ow’omu ggulu.
Ojjukira?
• Omusingi kye ki?
• Emisingi gyawukana gitya ku mateeka?
• Lwaki kya muganyulo gye tuli okulowooza n’okukolera ku misingi?
[Akasanduuko akali ku lupapula 14]
Wilson, Omukristaayo ali mu Ghana, yategeezebwa nti mu nnaku ntono yali agenda kugobebwa ku mulimu gwe. Ku lunaku lwe olwali lusembayo ku mulimu, yaweebwa omulimu ogw’okwoza emmotoka y’omukulu wa kampuni eyo. Wilson bwe yasanga ssente mu mmotoka, eyali amulagidde okwoza emmotoka eyo yamugamba nti Katonda ye yali amusindikidde ssente ezo kubanga yali agenda kugobebwa ku mulimu ku lunaku olwo. Kyokka, Wilson ssente ezo yaziddiza omukulu wa kampuni, ng’agoberera omusingi gwa Baibuli ogukwata ku bwesigwa. Omukulu wa kampuni kyamuwuniikiriza nnyo, era yasalawo okuwa Wilson omulimu ogw’enkalakkalira era n’amufuula omu ku bakozi abakulu mu kampuni eyo.—Abaefeso 4:28.
Akasanduuko akali ku lupapula 15]
Rukia mukyala nzaalwa y’omu Albania atemera mu myaka 60. Olw’obutategeeragana bwe yafuna ne mwannyina, yamala emyaka 17 nga tayogera na mwannyina. Rukia yatandika okuyiga Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’ayiga nti Abakristaayo ab’amazima basaanidde okukuuma emirembe n’abantu abalala, nga tebasiba kiruyi. Yasaba ekiro kyonna, era ng’amammeeme gamukubagana, yagenda ewa mwannyina. Muwala wa mwannyina ye yaggulawo oluggi. Omuwala oyo ng’awuniikiridde nnyo, yabuuza Rukia nti: “Ani yafudde? Kiki ekikuleese wano?” Rukia yamugamba nti ayagala kulaba mwannyina. Mu bukkakkamu yamunnyonnyola nti okuyiga emisingi gya Baibuli era n’ebikwata ku Yakuwa, kye kyamukubiriza okuzzaawo emirembe ne mwannyina. Baagwaŋŋana mu kifuba ng’eno bwe bakulukusa n’amaziga, era ne bajaguza olw’okuba baali bazzeemu okutabagana!—Abaruumi 12:17, 18.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
“Bwe yalaba ekibiina, n’alinnya ku lusozi; n’atuula wansi, abayigirizwa be ne bajja gy’ali; n’ayasamya akamwa ke, n’abayigiriza.”—MATAYO 5:1, 2