Kiki Ekisobozesa Amaka Okubaamu Essanyu?
Olowooza . . .
- kwagala? 
- ssente? 
- kintu kirala? 
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Abalina essanyu beebo abawulira ekigambo kya Katonda ne bakikolerako!”—Lukka 11:28, Enkyusa ey’Ensi Empya.
OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO
Okuba n’okwagala okwa nnamaddala.—Abeefeso 5:28, 29.
Okussiŋŋanamu ekitiibwa.—Abeefeso 5:33.
Okuba obumu.—Makko 10:6-9.
TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Lwa nsonga nga bbiri:
- Katonda ye yatandikawo amaka. Bayibuli eraga nti Katonda ye yassaawo enteekateeka y’amaka. (Olubereberye 2:18-24) Lwaki ekyo kikulu okukimanya? - Lowooza ku kino: Bw’olya emmere ewooma n’oyagala okumanya ebirungo bye bakozesezza, ani gwe wandibuuzizza? Awatali kubuusabuusa, obuuza oyo eyagifumbye. - Mu ngeri y’emu, okusobola okumanya ebyo ebisobozesa amaka okubaamu essanyu, tusaanidde okwebuuza ku oyo yennyini eyatandikawo enteekateeka y’amaka.—Olubereberye 2:18-24. 
- Katonda akufaako. Kiba kya magezi ab’omu maka okukolera ku bulagirizi Yakuwa bw’abawa okuyitira mu Kigambo kye. Lwaki? “Kubanga abafaako.” (1 Peetero 5:6, 7) Yakuwa abaagaliza ssanyu—era amagezi g’abawa ga muganyulo nnyo!—Engero 3:5, 6; Isaaya 48:17, 18. 
KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO
Oyinza otya okuba omwami omulungi, omukyala omulungi, oba omuzadde omulungi?
Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ABEEFESO 5:1, 2 ne ABAKKOLOSAAYI 3:18-21.