LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jy sul. 87 lup. 204-lup. 205 kat. 3
  • Weteekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso—Kozesa Amagezi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weteekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso—Kozesa Amagezi
  • Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Similar Material
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Noonya eby’Obugagga Ebya Nnamaddala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Beera Mwetegefu, Omuwanika Omwesigwa!
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Oli Muwanika Katonda Gwe Yeesiga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
jy sul. 87 lup. 204-lup. 205 kat. 3
Omusajja omugagga ng’agoba omuwanika we ku mulimu

ESSUULA 87

Weteekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso​—Kozesa Amagezi

LUKKA 16:1-13

  • OLUGERO LW’OMUWANIKA OMUBI

  • ‘WEEKOLERE EMIKWANO’ NG’OKOZESA EBY’OBUGAGGA BYO

Olugero olukwata ku mwana eyali azaaye Yesu lwe yaakamala okugera, luteekwa okuba nga luyambye abasolooza omusolo, abawandiisi, n’Abafalisaayo okukimanya nti Katonda mwetegefu okusonyiwa aboonoonyi singa beenenya. (Lukka 15:1-7, 11) Yesu akozesa olugero olulala ng’ayogera n’abayigirizwa be. Olugero luno lukwata ku musajja omugagga eyalina omuwanika.

1. Omuwanika ng’alowooza eky’okukola; 2. Omuwanika ng’akendeeza ku mabanja mukama we g’abanja abantu

Yesu agamba nti omuwanika ono anenyezebwa olw’okwonoona ebintu bya mukama we. N’olwekyo, mukama we amugamba nti agenda kumugoba. Omuwanika oyo yeebuuza nti: “Nnaakola ntya, okuva bwe kiri nti mukama wange agenda kunzigyako obuwanika? Amaanyi agalima sigalina, ate n’okusabiriza kunkwasa ensonyi.” Nga yeeteekerateekera embeera eyo agamba nti: ‘Abantu okusobola okunsembeza mu maka gaabwe nga nzigiddwako obuwanika, mmanyi kye nnaakola.’ Amangu ddala ayita abo mukama we b’abanja era abuuza buli omu nti: “Mukama wange akubanja ki?”​—Lukka 16:3-5.

Asooka amuddamu nti: “Ebigera by’amafuta 100.” Ebigera ebyo byenkanankana lita z’amafuta ago 2,200. Omusajja ono eyali abanjibwa ayinza okuba nga yalina essamba y’Emizeyituuni oba nga yali musuubuzi w’amafuta ago. Omuwanika amugamba nti: ‘Kwata endagaano yo otuule owandiike ebigera 50 [lita 1,100].’​—Lukka 16:6.

Omuwanika abuuza omulala nti: “Ate ggwe obanjibwa ki?” Amuddamu nti: “Ebigera ebinene 100 eby’eŋŋaano.” Ebigera ebyo byali byenkana kilo nga 17,000. Omuwanika amugamba nti: “Kwata endagaano yo owandiike 80.” Mu ngeri eyo akendeeza ebbanja lye ebitundu 20 ku buli 100.​—Lukka 16:7.

Omuwanika akyavunaanyizibwa ku byenfuna bya mukama we, era alina obuyinza okukendeeza ku mabanja g’abo mukama we b’abanja. Mu kukendeeza ku mabanja ago, omuwanika akola emikwano eginaamuyamba ng’agobeddwa ku mulimu gwe.

Wadde ng’omuwanika ono ky’akoze kifiiriza mukama we, mukama we bw’akimanya amutendereza ‘olw’okukozesa amagezi’ wadde nga si “mutuukirivu.” Yesu agattako nti: “Bwe kituuka ku kukolagana n’abantu b’omulembe gwabwe, abantu b’ensi eno baba bagezigezi okusinga abo abali mu kitangaala.”​—Lukka 16:8.

Yesu tawagira ekyo omuwanika ky’akola era takubiriza bantu kukozesa lukujjukujju mu bya bizineesi. Kati olwo, kiki Yesu ky’ategeeza? Akubiriza abagoberezi be nti: “Mwekolere emikwano nga mukozesa eby’obugagga ebitali bya butuukirivu, bwe biggwaawo, balyoke babasembeze mu bifo eby’okubeeramu eby’olubeerera.” (Lukka 16:9) Ebigambo ebyo biraga nti tusaanidde okukozesa amagezi n’okulowooza ku ebyo ebiyinza okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Abaweereza ba Katonda, “abo abali mu kitangaala,” basaanidde okukozesa eby’obugagga byabwe mu ngeri ey’amagezi, nga balowooza ku biseera eby’omu maaso eby’olubeerera.

Yakuwa Katonda n’Omwana we be bokka abasobola okusembeza omuntu mu Bwakabaka obw’omu ggulu oba mu Lusuku lwa Katonda ku nsi eneefugibwa Obwakabaka obwo. Tusaanidde okukola omukwano ogw’okulusegere nabo nga tukozesa bulungi eby’obugagga bye tulina okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. Zzaabu, ffeeza, n’eby’obugagga ebirala bwe bisaanawo, ffe tusigala tulina essuubi erikwata ku biseera eby’omu maaso eby’olubeerera.

Yesu era agamba nti abo abeesigwa mu kulabirira n’okukozesa eby’obugagga bye balina, basobola okuba abeesigwa ne mu kukola ku nsonga endala ezisinga obukulu. N’olwekyo, Yesu abuuza nti: “Bwe muba nga temubadde beesigwa ku by’obugagga ebitali bya butuukirivu, ani alibasigira ebyo ebya nnamaddala [gamba ng’ebyo ebikwata ku Bwakabaka]?”​—Lukka 16:11.

Yesu ategeeza abayigirizwa be nti bingi ebijja okubasabibwa bwe baba ab’okuyingira mu “bifo eby’okubeeramu eby’olubeerera.” Omuntu tasobola kuweereza Katonda ate mu kiseera kye kimu n’aba muddu wa bya bugagga ebitali bya butuukirivu. Yesu awunzika ng’agamba nti: “Tewali muweereza asobola kuweereza baami babiri; aba alina okukyawako omu n’ayagala omulala, oba okunywerera ku omu n’anyooma omulala. Temusobola kuba baddu ba Katonda na ba Byabugagga.”​—Lukka 16:9, 13.

  • Mu lugero lwa Yesu, omuwanika akola atya omukwano n’abo abandimuyambye?

  • “Eby’obugagga ebitali bya butuukirivu,” kye ki era Omukristaayo ayinza atya okubikozesa ‘okukola emikwano’?

  • Baani abasobola okutusembeza mu “bifo eby’okubeeramu eby’olubeerera” singa tukozesa bulungi “eby’obugagga ebitali bya butuukirivu” bye tulina?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share