Obadde Okimanyi?
Abawanika baalinanga buvunaanyizibwa ki mu biseera eby’edda?
MU BISEERA eby’edda, omuwanika yaddukanyanga amaka oba ebintu by’omuntu omulala. Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebyavvuunulwa “omuwanika” oluusi bitegeeza omulabirizi oba oyo addukanya awaka.
Yusufu, mutabani wa Yakobo, bwe yali omuddu mu Misiri yalondebwa okuba omuwanika mu nnyumba ya mukama we. Mu butuufu mukama wa Yusufu oyo ‘yaleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu.’ (Lub. 39:2-6) Oluvannyuma, Yusufu bwe yafuuka omufuzi ow’amaanyi mu Misiri, naye yalonda omuwanika okulabirira ennyumba ye.—Lub. 44:4.
Mu biseera bya Yesu, abantu abaabanga n’amalimiro ebiseera ebisinga baabeeranga mu bibuga nga bali wala okuva awaabanga amalimiro gaabwe. Bwe kityo, abantu abo baalondanga abawanika okulabiriranga emirimu abakozi b’omu nnimiro zaabwe gye baakolanga buli lunaku.
Bisaanyizo ki omuntu bye yalina okuba nabyo okusobola okulondebwa okuba omuwanika? Omuwandiisi omu Omuruumi ayitibwa Columella eyaliwo mu kyasa ekyasooka yagamba nti omuddu eyalondebwanga okuba omulabirizi oba omuwanika yalina okuba omuntu eyali “ayize okukola obulungi emirimu.” Yalina okuba omuntu “akakasa nti abakozi bakoze emirimu gye balina okukola naye ng’ekyo takikola mu bukambwe.” Ate era yagattako nti okusingira ddala omuwanika teyalina kwetwala nti amanyi buli kimu, era yalina okuba ng’ayagala nnyo okuyiga ebintu ebipya.
Ekigambo kya Katonda kikozesa ekyokulabirako ky’omuwanika okunnyonnyola engeri ebintu gye birina okukolebwamu mu kibiina Ekikristaayo. Ng’ekyokulabirako, omutume Peetero akubiriza Abakristaayo okukozesa obusobozi Katonda bwe yabawa “okuweereza abalala ng’omuwanika omulungi ow’ekisa kya Katonda eky’ensusso.”—1 Peet. 4:10.
Yesu naye yakozesa ekyokulabirako eky’omuwanika mu lugero oluli mu Lukka 16:1-8. Ate era mu bunnabbi obukwata ku kubeerawo kwe nga Kabaka, Yesu yagamba abagoberezi be nti yandironze “omuddu omwesigwa era ow’amagezi,” oba “omuwanika omwesigwa.” Omulimu omukulu ogw’omuwanika oyo gwandibadde gwa kuwa abagoberezi ba Yesu emmere ey’eby’omwoyo gye bandyetaaze mu kiseera eky’enkomerero. (Mat. 24:45-47; Luk. 12:42) Tuli basanyufu nnyo okuba nti tufuna emmere eyo ey’eby’omwoyo, omuddu omwesigwa gy’ateekateeka era n’agituusa ku bagoberezi ba Yesu mu nsi yonna.