LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 12/15 lup. 9-13
  • Oli Muwanika Katonda Gwe Yeesiga!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Oli Muwanika Katonda Gwe Yeesiga!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OBUVUNAANYIZIBWA BW’ABAWANIKA
  • KATONDA Y’ATULINAKO OBWA NNANNYINI
  • EBINTU YAKUWA BY’ATWETAAGISA FFENNA
  • ENSONGA LWAKI TULINA OKUBA ABEESIGWA
  • KYA MAGEZI OKWEGERAAGERANYA KU BALALA?
  • Obadde Okimanyi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Weteekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso—Kozesa Amagezi
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Omuwanika Omwesigwa n’Akakiiko Akafuzi Akamukiikirira
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Beera Mwetegefu, Omuwanika Omwesigwa!
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 12/15 lup. 9-13

Oli Muwanika Katonda Gwe Yeesiga!

“Temwerinaako bwannannyini.”​—1 KOL. 6:19.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Abawanika abaaliwo mu biseera by’edda baabanga na buvunaanyizibwa ki?

  • Buvunaanyizibwa ki abawanika ba Katonda bonna bwe balina?

  • Obuwanika obwatukwasibwa tusaanidde kubutwala tutya?

1. Abantu bwe balowooza ku muddu, kiki ekibajjira mu birowoozo?

EMYAKA nga 2,500 emabega, omuwandiisi w’emizannyo omu Omuyonaani yagamba nti: “Tewali muntu ayagala kuba muddu.” Abantu bangi leero bakkiriziganya n’ebigambo ebyo. Bangi bwe balowooza ku muddu, balowooza ku muntu anyigirizibwa era atalina ddembe kwetaaya, era akola ebintu ebiganyula mukama we naye nga ye tebimuganyula.

2, 3. (a) Abaddu ba Kristo batwalibwa batya? (b) Bibuuzo ki ebikwata ku bawanika bye tugenda okwetegereza?

2 Kyokka Yesu yakiraga nti abayigirizwa be bandibadde baweereza oba baddu. Naye ekyo tekitegeeza nti bandibadde banyigirizibwa oba nti bandibadde bafeebezebwa. Mu kifo ky’ekyo, bandibadde beesigika era nga bassibwamu ekitiibwa. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ekyo Yesu kye yayogera ku muddu omu. Bwe yali anaatera okuttibwa, Kristo yagamba nti yali agenda kuwa “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” obuvunaanyizibwa obw’amaanyi.​—Mat. 24:45-47.

3 Mu kitabo kya Lukka, omuddu oyo ayogerwako ‘ng’omuwanika.’ (Soma Lukka 12:42-44.) Abakristaayo ab’amazima abasinga obungi abaliwo leero tebali mu abo abakola ekibiina ky’omuwanika omwesigwa. Kyokka Ebyawandiikibwa biraga nti abaweereza ba Katonda bonna balina obuwanika obwabakwasibwa. Omuwanika aba na buvunaanyizibwa ki? Era asaanidde kubutwala atya? Okusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo, ka tulabe obuvunaanyizibwa abawanika bwe baabanga nabwo mu biseera by’edda.

OBUVUNAANYIZIBWA BW’ABAWANIKA

4, 5. Buvunaanyizibwa ki omuwanika bwe yabanga nabwo mu biseera by’edda? Waayo ebyokulabirako.

4 Mu biseera by’edda, omuwanika yabanga muddu mukama we gwe yabanga yeesiga era gwe yakwasanga obuvunaanyizibwa okulabirira ennyumba ye oba bizineesi ze. Omuwanika yabanga n’obuyinza bungi era ye yalabiriranga ebintu bya mukama we ne ssente ze, era ye yakuliranga abaweereza ba mukama we abalala. Ekyo tukirabira ku ebyo bye tusoma ku Erieza, Ibulayimu gwe yakwasa obuvunaanyizibwa okulabirira ebintu bye byonna. Kirabika Erieza ye muddu Ibulayimu gwe yatuma okugenda e Mesopotamiya okunoonyeza mutabani we Isaaka omukazi. Ng’obwo bwali buvunaanyizibwa bwa maanyi nnyo!​—Lub. 13:2; 15:2; 24:2-4.

5 Muzzukulu wa Ibulayimu Yusufu yaweebwa obuvunaanyizibwa okulabirira ennyumba ya Potifaali. (Lub. 39:1, 2) Oluvannyuma lw’ekiseera, Yusufu naye yafuna omuwanika owuwe ku bubwe eyalabiriranga ‘ennyumba ye.’ Omuwanika oyo ye yayaniriza baganda ba Yusufu ekkumi era n’abateekerateekera eby’okulya. Era Yusufu bwe yali ayagala okugezesa baganda be, yalagira omuwanika oyo okuteeka ekikopo kya ffeeza mu emu ku nsawo zaabwe ez’emmere. Ebyokulabirako ebyo biraga nti abawanika bakama baabwe baabeesiganga nnyo.​—Lub. 43:19-25; 44:1-12.

6. Buwanika ki abakadde bwe bakwasiddwa?

6 Bwe yali ayogera ku balabirizi Abakristaayo, omutume Pawulo yabayita ‘abaweereza’ oba abawanika ba Katonda. (Tit. 1:7) Abalabirizi bakwasiddwa obuvunaanyizibwa okulunda “ekisibo kya Katonda,” nga bawa ab’oluganda mu kibiina obulagirizi era nga batwala obukulembeze mu kibiina. (1 Peet. 5:1, 2) Kya lwatu nti abalabirizi balina obuvunaanyizibwa bwa njawulo. Ng’ekyokulabirako, abalabirizi abasinga obungi mu kibiina Ekikristaayo baweereza ekibiina kimu. Abalabirizi abakyalira ebibiina baweereza ebibiina bingi. Ate abo abali ku Kakiiko k’Ettabi baweereza ebibiina byonna ebiri wansi w’ettabi lyabwe. Wadde kiri kityo, abalabirizi bonna balina okufuba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe nga bakijjukira nti ‘baliwoza’ mu maaso ga Katonda.​—Beb. 13:17.

7. Kiki ekiraga nti Abakristaayo bonna bawanika?

7 Ate kiri kitya ku Bakristaayo abalala abeesigwa abatali balabirizi? Bwe yali awandiikira Abakristaayo bonna, omutume Peetero yagamba nti: “Nga buli muntu bwe yaweebwa ekirabo, akikozesenga okuweereza abalala ng’omuwanika omulungi ow’ekisa kya Katonda eky’ensusso ekiragibwa mu ngeri ezitali zimu.” (1 Peet. 1:1; 4:10) Ffenna Katonda yatulaga ekisa kye eky’ensusso n’atuwa ebirabo, ebitone, n’obusobozi obw’enjawulo bye tusobola okukozesa okuyamba bakkiriza bannaffe. N’olwekyo, ffenna abaweereza ba Katonda tuli bawanika. Katonda atwesiga, atuwa ekitiibwa, era atusuubira okukozesa ebintu by’atuwadde okuyamba abalala.

KATONDA Y’ATULINAKO OBWA NNANNYINI

8. Kintu ki ffenna kye tulina okujjukira?

8 Kati ka twetegereze ebintu bisatu ffenna ng’abawanika bye tulina okujjukira. Ekisooka: Ffenna Katonda y’atulinako obwa nnannyini era tuvunaanyizibwa mu maaso ge. Pawulo yagamba nti: “Temwerinaako bwannannyini, kubanga mwagulwa muwendo munene.” Omuwendo ogwo ye ssaddaaka y’omusaayi gwa Kristo. (1 Kol. 6:19, 20) Okuva bwe kiri nti Yakuwa y’atulinako obwa nnannyini, tulina okukwata ebiragiro bye era ebiragiro bye tebizitowa. (Bar. 14:8; 1 Yok. 5:3) Ate era tuli baddu ba Kristo. Okufaananako abawanika abaaliwo mu biseera by’edda, naffe tulina eddembe, naye eddembe lyaffe liriko ekkomo. Tulina okukolera ku bulagirizi obutuweebwa. Ka tube nga tulina nkizo ki mu kibiina kya Yakuwa, ffenna tuli baweereza ba Katonda era baweereza ba Kristo.

9. Yesu yalaga atya ekyo mukama w’omuddu ky’aba amusuubiramu?

9 Yesu atuyamba okutegeera ekyo mukama w’omuddu ky’aba amusuubiramu. Lumu bwe yali ayogera n’abayigirizwa be, Yesu yayogera ku muddu eyakomawo eka oluvannyuma lw’okumala olunaku lwonna ng’akola. Bwe yatuuka awaka, mukama we teyamugamba nti: “Jjangu wano otuule olye”? Mu kifo ky’ekyo, yamugamba nti: “Nteekerateekera ekyeggulo, weesibe ekikubiro ompeereze, okutuusa lwe nnaamaliriza okulya n’okunywa oluvannyuma naawe olyoke olye era onywe.” Kiki Yesu kye yali ayagala abayigirizwa be okuyiga? Yabagamba nti: “Kale nammwe, bwe muba nga mukoze ebintu byonna ebiba bibalagiddwa, mugambe nti, ‘Tuli baddu abatagasa. Kye tukoze kye tubadde tuteekeddwa okukola.’”​—Luk. 17:7-10.

10. Kiki ekiraga nti Yakuwa asiima ebyo byonna bye tukola nga tumuweereza?

10 Kya lwatu nti Yakuwa asiima ebyo byonna bye tukola nga tumuweereza. Bayibuli egamba nti: “Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n’okwagala kwe mwalaga erinnya lye.” (Beb. 6:10) Yakuwa tatusuubira kukola kisukka ku busobozi bwaffe era buli ky’atugamba okukola kiganyula ffe. Naye ng’olugero lwa Yesu bwe lulaga, omuddu talina kukulembeza bibye ku bubwe. N’olwekyo, bwe tumala okwewaayo eri Katonda, tuba tulina okukulembeza ebyo by’ayagala mu bulamu bwaffe. Ekyo okkiriziganya nakyo?

EBINTU YAKUWA BY’ATWETAAGISA FFENNA

11, 12. Ng’abawanika, ngeri ki gye tulina okwoleka, era kiki kye tulina okwewala?

11 Ekintu eky’okubiri kye tulina okujjukira kiri nti: Ng’abawanika, ffenna tutambulira ku mitindo gye gimu. Kyo kituufu nti ab’oluganda abamu mu kibiina baweebwa enkizo abalala mu kibiina ze bataweebwa. Wadde kiri kityo, ebintu ebisinga obungi ffenna Katonda by’atwetaagisa bye bimu. Ng’ekyokulabirako, ffenna Abajulirwa ba Yakuwa era abayigirizwa ba Kristo tulina okwagalana. Yesu yagamba nti okwagala kwe kwawulawo Abakristaayo ab’amazima. (Yok. 13:35) Ng’oggyeko okwagala bakkiriza bannaffe, tulina n’okwagala abo abatali bakkiriza bannaffe. Ekyo kye kintu ffenna kye tusaanidde okukola.

12 Ate era ffenna Katonda atwetaagisa okuba n’empisa ennungi. Tulina okwewala ebikolwa n’enneeyisa Ekigambo kya Katonda bye kivumirira. Pawulo yawandiika nti: “Newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abasajja abeefuula ng’abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga, newakubadde ababbi, newakubadde ab’omululu, newakubadde abatamiivu, newakubadde abavumi, newakubadde abanyazi, tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Kol. 6:9, 10) Kyo kituufu nti kitwetaagisa okufuba ennyo okusobola okutuukanya obulamu bwaffe n’emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Naye ekyo bwe tukikola kituviiramu emiganyulo mingi, nga muno mwe muli okuba n’obulamu obulungi, okuba n’enkolagana ennungi n’abalala, n’okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda.​—Soma Isaaya 48:17, 18.

13, 14. Mulimu ki Abakristaayo bonna gwe baweereddwa, era tusaanidde kugutwala tutya?

13 Ate era omuwanika yaweebwanga emirimu egy’okukola. Naffe tuweereddwa omulimu ogw’okukola. Katonda atuyambye okuyiga amazima era ayagala amazima ago tugayigirize abantu abalala. (Mat. 28:19, 20) Pawulo yawandiika nti: “Omuntu atutunuulire ng’abaweereza ba Kristo era abawanika b’ebyama bya Katonda ebitukuvu.” (1 Kol. 4:1) Pawulo yali akimanyi nti yali akwasiddwa “ebyama bya Katonda ebitukuvu” era nti yalina okubibuulirako abalala, nga Mukama waffe Yesu Kristo bwe yalagira.​—1 Kol. 9:16.

14 Bwe tuyigiriza abalala amazima agali mu Bayibuli kiba kiraga nti tubaagala. Kya lwatu nti embeera zaffe za njawulo. Bwe kityo, ebyo bye tukola mu mulimu gw’okubuulira tebisobola kwenkanankana. Ekyo Yakuwa akimanyi bulungi. Ekisinga obukulu kwe kuba nti tukola ekyo kyonna kye tusobola mu buweereza bwaffe. Bwe tukola tutyo, kiba kiraga nti twagala Katonda ne bantu bannaffe.

ENSONGA LWAKI TULINA OKUBA ABEESIGWA

15-17. (a) Lwaki omuwanika alina okuba omwesigwa? (b) Yesu yalaga atya akabi akali mu butaba beesigwa?

15 Ekintu eky’okusatu kye tulina okujjukira kiri nti: Tulina okuba abeesigwa. Omuwanika ayinza okuba ng’alina engeri ennungi nnyingi era ng’alina n’obusobozi obw’enjawulo, naye ebyo byonna biba tebigasa singa taba wa buvunaanyizibwa era singa taba mwesigwa eri mukama we. Omuwanika omulungi alina okuba omwesigwa. Pawulo yagamba nti: “Ekyetaagibwa mu bawanika kwe kubeera abeesigwa.”​—1 Kol. 4:2.

16 Bwe tuba abeesigwa, tujja kufuna emikisa mingi. Naye bwe tutaba beesigwa, tetusobola kufuna mikisa gya Katonda. Ekyo tukirabira ku ebyo Yesu bye yayogera mu lugero lwa ttalanta. Mukama w’abaddu aboogerwako mu lugero olwo yasiima nnyo abaddu abaali abeesigwa olw’okukozesa obulungi ssente ze era n’abawa empeera. Kyokka omuddu ataali wa buvunaanyizibwa mukama we yamuyita omuddu “omubi,” “omugayaavu,” era “atalina mugaso.” Yamuggyako ttalanta gye yali amuwadde era n’amusuula ebweru.​—Soma Matayo 25:14-18, 23, 26, 28-30.

17 Ku mulundi omulala, Yesu yalaga ekyo ekiyinza okututuukako singa tetuba beesigwa. Yagamba nti: “Waaliwo omuntu omugagga eyalina omuwanika, ne bamumuloopera nti ayonoona ebintu bye. N’amuyita n’amugamba nti, ‘Biki bino bye mpulira bakwogerako? Nkuggyeko obuwanika bwo kubanga tokyasobola kuddukanya nnyumba eno.’” (Luk. 16:1, 2) Olw’okuba omuwanika oyo yakozesa bubi ebintu bya mukama we, mukama we yamuggyako obuwanika. Ng’ekyo kituyigiriza ekintu ekikulu ennyo! Bulijjo tusaanidde okuba abeesigwa eri Katonda nga tufuba okukola by’ayagala.

KYA MAGEZI OKWEGERAAGERANYA KU BALALA?

18. Lwaki tetusaanidde kwegeraageranya ku balala?

18 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ntwala ntya obuwanika obwankwasibwa?’ Tekiba kya magezi kwegeraageranya ku balala. Bayibuli egamba nti: “Buli omu agezese omulimu gwe bwe guli, alyoke abe ne ky’asinziirako okwenyumiriza ku lulwe, nga teyeegeraageranya na mulala.” (Bag. 6:4) Mu kifo ky’okugeraageranya ebyo bye tukola ku ebyo abalala bye bakola, tusaanidde okulowooza ku ngeri gye tuyinza okwongera okulongoosa mu buweereza bwaffe. Ekyo kijja kutuyamba obutafuna malala oba obutaggwamu maanyi. Ate era embeera yaffe eyinza okuba nga yakyuka. Tuyinza okuba nga kati tuli balwadde, nga tukaddiye, oba nga tulina obuvunaanyizibwa obutali bumu ne kiba nti tetukyasobola kukola ekyo kye twakolanga edda. Ku luuyi olulala, tuyinza okuba nga tusobola okukola ekisingawo ku ekyo kye tukola kati. Bwe kiba kityo, lwaki tetufuba okukola ekisingawo ku ekyo kye tukola kati?

19. Singa wabaawo enkizo gye twagala okufuna naye nga tennatuweebwa, lwaki tetusaanidde kuggwamu maanyi?

19 Ate era tetusaanidde kwegeraageranya n’abo abalina enkizo ze twandyagadde okufuna. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda ayinza okuba ng’ayagala okuweereza ng’omukadde mu kibiina oba okuweebwa emboozi ku nkuŋŋaana ennene. Kirungi okuluubirira enkizo ng’ezo, naye tetusaanidde kuggwamu maanyi singa tetuzifuna mu kiseera mwe tubadde tuzisuubirira. Oluusi, olw’ensonga ze tuyinza obutamanya, enkizo ezimu ziyinza obutatuweebwa mu kiseera mwe tubadde tuzisuubirira. Kijjukire nti Musa yali alabika ng’eyali asobola okukulembera Abaisiraeri okuva e Misiri, naye yamala emyaka 40 miramba nga tannaweebwa nkizo eyo. Ekyo kyamuyamba okukulaakulanya engeri ze yali yeetaaga okusobola okukulembera abantu abaali abakakanyavu era abaali abajeemu.​—Bik. 7:22-25, 30-34.

20. Kiki kye tuyigira ku Yonasaani?

20 Ebiseera ebimu enkizo gye tuba twagala okufuna tuyinza obutagifunira ddala. Ekyo kye kyatuuka ku Yonasaani. Yonasaani yali mutabani wa Sawulo era ye yali asuubirwa okudda mu bigere bya Sawulo nga kabaka wa Isiraeri. Kyokka Katonda yalonda Dawudi eyali omuto ku Yonasaani okudda mu bigere bya Sawulo nga kabaka wa Isiraeri. Ekyo bwe kyabaawo, kiki Yonasaani kye yakola? Yakkiriza ekyo Yakuwa kye yasalawo era n’atuuka n’okuteeka obulamu bwe mu kabi okusobola okuyamba Dawudi. Yonasaani yagamba Dawudi nti: “Gw’oliba kabaka wa Isiraeri nange ndikuddirira obukulu.” (1 Sam. 23:17) Ekyo kikuyigiriza ki? Yonasaani teyeemulugunya era teyakwatirwa Dawudi buggya nga Sawulo bwe yakola. Mu kifo ky’okukwatirwa abalala obuggya olw’enkizo ze balina, ffenna tusaanidde okumalira ebirowoozo byaffe ku buvunaanyizibwa bwe tulina. Tusaanidde okukijjukira nti mu nsi empya, Yakuwa ajja kuwa abaweereza be bonna bye baagala.

21. Obuwanika obwatukwasibwa tusaanidde kubutwala tutya?

21 Ka bulijjo tukijjukirenga nti ng’abawanika Katonda be yeesiga, tetuli baddu abanyigirizibwa era abaweereza nga basinda. Mu kifo ky’ekyo, Yakuwa atwesiga era atukwasizza omulimu omukulu ennyo ogw’okubuulira amawulire amalungi mu nnaku zino ez’oluvannyuma era omulimu guno tegugenda kuddibwamu nate. Katonda era atuwadde eddembe okusalawo engeri gye tunaatuukirizaamu obuvunaanyizibwa bw’atukwasizza. N’olwekyo, ka ffenna tufube okuba abawanika abeesigwa. Era ka bulijjo tukijjukire nti tulina enkizo ya maanyi nnyo okuweereza Yakuwa, Oyo asingiridde mu butonde bwonna.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share