Ebbaluwa Okuva eri Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa
Babuulizi Bannaffe Abaagalwa:
Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okusinza Yakuwa Katonda omu ow’amazima nga tuli bumu! “Tukolera wamu ne Katonda,” era tukwasiddwa omulimu omutukuvu era oguwonya obulamu, ogw’okubuulira n’okuyigiriza abantu ebikwata ku Bwakabaka bwe. (1 Kol. 3:9; Mat. 28:19, 20) Okusobola okukola omulimu guno ogukolebwa mu nsi yonna nga tuli mu mirembe era nga tuli bumu, tulina okuba nga tutegekeddwa bulungi.—1 Kol. 14:40.
Akatabo kano kajja kukuyamba okutegeera engeri ebintu gye bikolebwamu mu kibiina Ekikristaayo leero. Koogera ku nkizo n’obuvunaanyizibwa by’olina ng’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa. Enkizo z’olina bw’onoozitwala nga za muwendo era n’ofuba okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwo, ojja ‘kunywezebwa mu kukkiriza.’—Bik. 16:4, 5; Bag. 6:5.
N’olwekyo, tukukubiriza okusoma akatabo kano n’obwegendereza. Lowooza ku ngeri gy’oyinza okussa mu nkola ebyo by’onoosoma. Ng’ekyokulabirako, bw’oba nga waakafuuka mubuulizi atali mubatize, biki by’oyinza okukola okusobola okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa n’ofuuka Omujulirwa wa Yakuwa? Ate bw’oba nga wabatizibwa, kiki ky’oyinza okukola okusobola okukulaakulana mu by’omwoyo n’okugaziya ku buweereza bwo? (1 Tim. 4:15) Kiki ky’oyinza okukola okulaba nti ekibiina kisigala nga kirimu emirembe? (2 Kol. 13:11) Akatabo kano kajja kuddamu ebibuuzo ebyo.
Bw’oba oli wa luganda omubatize, kiki ky’oyinza okukola okusobola okutuukiriza ebisaanyizo eby’okufuuka omuweereza oba omukadde mu kibiina? Olw’okuba waliwo abapya bangi abeegatta ku kibiina kya Katonda leero, ab’oluganda abatuukiriza ebisaanyizo beetaagibwa okusobola okuweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina. Akatabo kano kajja kukuyamba okumanya ebizingirwa mu ‘kuluubirira’ enkizo ezo ez’eby’omwoyo.—1 Tim. 3:1.
Tusuubira nti akatabo kano kajja kukuyamba okumanya ekifo kyo mu kibiina kya Yakuwa n’okukitwala nga kya muwendo. Tubaagala nnyo mmwenna era tubasabira musobole okuba abamu ku abo abanaasinza Yakuwa Kitaffe ow’omu ggulu, emirembe gyonna.—Zab. 37:10, 11; Is. 65:21-25.
Ffe baganda bammwe,
Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa