Ab’oluganda Abavubuka, Muluubirira Enkizo mu Kibiina?
1. Ddi ow’oluganda omuvubuka lw’asaanidde okutandika okukolera ku bulagirizi obuli mu 1 Timoseewo 3:1?
1 “Singa omuntu yenna aluubirira omulimu gw’obulabirizi, aba yeegomba omulimu omulungi.” (1 Tim. 3:1) Ebigambo ebyo ebyaluŋŋamizibwa bikubiriza ab’oluganda okuluubirira enkizo mu kibiina. Olina kuba muntu mukulu? Nedda, kiba kirungi okutandika okuluubirira enkizo ng’okyali muvubuka. Bw’okola bw’otyo, oba osobola okutendekebwa era oluvannyuma n’okiraga bulungi nti otuukiriza ebisaanyizo eby’okuweereza ng’omuweereza mu kibiina. (1 Tim. 3:10) Bw’oba ng’oli muvubuka mubatize, oyinza otya okuluubirira enkizo mu kibiina?
2. Ow’oluganda ayinza atya okukulaakulanya omwoyo gw’okwefiiriza n’okugwoleka?
2 Okwefiiriza: Kijjukire nti oluubirira omulimu omulungi so si kwefunira kitiibwa. N’olwekyo, beera n’ekigendererwa eky’okuyamba ab’oluganda mu kibiina. Emu ku ngeri gy’oyinza okukikolamu kwe kufumiitiriza ku kyokulabirako kya Yesu. (Mat. 20:28; Yok. 4:6, 7; 13:4, 5) Saba Yakuwa akuyambe okuyiga okufaayo ku balala. (1 Kol. 10:24) Oyinza okuyambako abo abakaddiye oba abaliko obulemu abali mu kibiina kyammwe? Oba mwetegefu okusaawa omuddo oba okukola emirimu emirala nga muyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka? Oba mwetegefu okukola nga nnakyewa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda singa nnannyini mboozi aba tazze? Bw’oneefiiriza n’oweereza abalala ojja kufuna essanyu lingi.—Bik. 20:35.
3. Lwaki kikulu okuba omunywevu mu by’omwoyo, era biki ebiyinza okukuyamba?
3 Okuba Omunywevu mu by’Omwoyo: Kikulu nnyo omuweereza mu kibiina okuba omunywevu mu by’omwoyo okusinga okuba n’ekitone oba obusobozi obw’enjawulo. Omuntu omunywevu mu by’omwoyo aba n’endowooza ya Yakuwa ne Yesu. (1 Kol. 2:15, 16) Afuba okwoleka ‘ekibala ky’omwoyo.’ (Gal. 5:22, 23) Aba mubuulizi munyiikivu era akulembeza Obwakabaka. (Mat. 6:33) Osobola okukulaakulanya engeri ennungi singa oba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa. Kino kizingiramu okusoma Bayibuli buli lunaku, okusoma buli magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Awake!, okweteekerateekera enkuŋŋaana n’okuzibeeramu. (Zab. 1:1, 2; Beb. 10:24, 25) Bwe yali akubiriza Timoseewo eyali omuvubuka okukulaakulana mu by’omwoyo, Pawulo yamugamba nti: “Ssangayo omwoyo ku . . . kuyigiriza kwo.” (1 Tim. 4:15, 16) N’olwekyo fuba okuteekateeka obulungi emboozi eziba zikuweereddwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Weeteekereteekere obuweereza era ofube okubwenyigiramu obutayosa. Weeteerewo ebiruubirirwa eby’omwoyo gamba ng’okuweereza nga payoniya, okuweereza ku Beseri, okugenda mu Ssomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina, era ofube okubituukako. Okuba omunywevu mu by’omwoyo kijja kukuyamba ‘okudduka okwegomba okw’omu buvubuka.’—2 Tim. 2:22.
4. Lwaki kikulu nnyo okuba nga weesigika?
4 Okuba nga Weesigika: Olw’okuba ab’oluganda abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okugabira Abakristaayo abaali mu bwetaavu emmere mu kyasa ekyasooka baali beesigika, abatume baali bakakafu nti ab’oluganda abo bandikoze bulungi omulimu ogwo. Kino kyasobozesa abatume okwemalira ku bintu ebirala ebikulu. (Bik. 6:1-4) N’olwekyo bw’oweebwa obuvunaanyizibwa mu kibiina, fuba okubutuukiriza obulungi. Koppa Nuuwa eyakolera ku bulagirizi obw’okuzimba eryato obwamuweebwa. (Lub. 6:22) Omuntu bw’aba omwesigwa, aba wa muwendo nnyo eri Yakuwa era kiba kiraga nti akuze mu by’omwoyo.—1 Kol. 4:2; laba akasanduuko akalina omutwe, “Emiganyulo Egiri mu Kutendeka Ab’oluganda.”
5. Lwaki ab’oluganda abavubuka basaanidde okuluubirira enkizo mu kibiina?
5 Nga bwe kyalagulwa, Yakuwa ayanguyaako omulimu gw’okukuŋŋaanya abantu ab’emitima emirungi. (Is. 60:22) Okutwalira awamu, abantu emitwalo abiri mu etaano be babatizibwa buli mwaka. Olw’okuba abantu bangi beegatta ku kibiina kya Yakuwa, ab’oluganda abalina ebisaanyizo beetaagibwa nnyo okusobola okuweereza mu kibiina. Leero waliwo emirimu mingi nnyo mu kibiina kya Yakuwa okusinga bwe kyali kibadde. (1 Kol. 15:58) Ab’oluganda abavubuka, muluubirira enkizo mu kibiina? Bwe kiba bwe kityo, muluubirira omulimu omulungi!
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 2]
Olw’okuba abantu bangi beegatta ku kibiina kya Yakuwa, ab’oluganda abalina ebisaanyizo beetaagibwa nnyo okusobola okuweereza mu kibiina
[Akasanduuko akali ku lupapula 3]
Emiganyulo Egiri mu Kutendeka Ab’oluganda
Ab’oluganda abavubuka baganyulwa nnyo abakadde bwe babawa eby’okukola mu kibiina era ne babatendeka. Omulabirizi w’ekitundu yali atudde ku pulatifoomu ng’alina omubuulizi gw’azzaamu amaanyi oluvannyuma lw’olukuŋŋaana. Yalaba omulenzi eyali ayimiridde okumpi ne pulatifoomu n’amubuuza obanga yali ayagala kwogerako naye. Omulenzi oyo yaddamu nti yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okuyonjanga pulatifoomu ng’enkuŋŋaana ziwedde. Bazadde be baali baagala kuddayo waka naye yali tayagala kugenda nga tannatuukiriza buvunaanyizibwa bwe. Ekyo kyasanyusa nnyo omulabirizi w’ekitundu, era oluvannyuma yagamba nti: “Abakadde b’omu kibiina ekyo baali bafaayo nnyo okutendeka ab’oluganda abavubuka nga babawa eby’okukola. Kino kyavaamu emiganyulo, kubanga bwe nnakyaliranga ekibiina ekyo, ebiseera ebisinga abakadde baabanga n’omuvubuka gwe basobola okusemba okufuuka omuweereza.”