Obuyambi bwo Bwetaagibwa
1 “Mwebale byonna bye mutukolera. Mu butuufu tuganyulwa nnyo.” Ebigambo ebyo byoleka okusiima kwaffe eri abakadde n’abaweereza be tulina mu kibiina. Ng’ekibiina kya Katonda kyeyongera okugaziwa, abasajja abakuze mu by’omwoyo beetaagibwa okuweereza mu bibiina kati ebikunukkiriza mu 100,000 mu nsi yonna. Bwe kiba nti oli waluganda omubatize, obuyambi bwo bwetaagibwa.
2 ‘Luubirira Enkizo’: Kiki ky’oyinza okukola okusobola okufuna enkizo endala ez’obuweereza? (1 Tim. 3:1, NW) Okutwalira awamu, ng’oteekawo eky’okulabirako ekirungi mu ngeri gye weeyisaamu. (1 Tim. 4:12; Tito 2:6-8; 1 Peet. 5:3) Nga weenyigira mu mulimu gw’okubuulira, era ng’oyamba n’abalala okukola kye kimu. (2 Tim. 4:5) Ng’ofaayo ku bakkiriza banno. (Bar. 12:13) Ng’onyiikira okwesomesa era n’okubeera ‘omusomesa omulungi’ ow’Ekigambo kya Katonda. (Tito 1:9; 1 Tim. 4:13) Ng’ofuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa abakadde bwe baba bakuwadde. (1 Tim. 3:10) Bw’oba mutwe gw’amaka, ‘fuga bulungi ab’omu nnyumba yo.’—1 Tim. 3:4, 5, 12.
3 Okusobola okuweereza ng’omukadde oba omuweereza kyetaagisa okukola ennyo awamu n’okubeera n’omwoyo ogw’okwefiiriza. (1 Tim. 5:17) N’olwekyo, bw’oba oluubirira enkizo ezo, ekiruubirirwa kyo kyandibadde kuyamba baganda bo. (Mat. 20:25-28; Yok. 13:3-5, 12-17) Lowooza ku ngeri Timoseewo gye yaweerezaamu abalala, era ofube okumukoppa. (Baf. 2:20-22) Okufaananako Timoseewo eyaweebwa enkizo ez’enjawulo mu buweereza, naawe enneeyisa yo ennungi y’ejja okukusobozesa okufuna enkizo ng’ezo. (Bik.16:1, 2) Bw’onookulaakulanya engeri ennungi era n’ossa mu nkola okubuulirira abalala kwe bakuwa, ‘bonna bajja kulaba okukulaakulana kwo.’—1 Tim. 4:15.
4 Abazadde, Muyigirize Abaana Bammwe Okuyamba Abalala: Abaana basobola okuyiga okuyamba abalala okuviira ddala mu buto. Batendeke okussaayo omwoyo nga bali mu nkuŋŋaana, okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, n’okussaawo ekyokulabirako ekirungi mu ngeri gye beeyisaamu nga bali mu Kizimbe ky’Obwakabaka ne ku ssomero. Bayigirize okuyamba abalala, okukola emirimu gamba ng’okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka, okuyamba bannamukadde, n’ebirala. Bayambe okufuna essanyu eriva mu kugaba. (Bik. 20:35) Okutendekebwa ng’okwo kuyinza okubayamba okufuuka bapayoniya, abaweereza oba abakadde mu biseera eby’omu maaso.