Okufuba Okukola Ekisingawo mu Buweereza Bwaffe
1 Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo okutambulira mu kkubo lya Katonda era ‘n’okweyongera okukikola mu ngeri esingawo.’ (1 Bas. 4:1) Kino kizingiramu ki? Kizingiramu okukozesa buli kakisa ke tufuna okukola ekisingawo mu mirimu gy’obwakabaka era n’okufuba bulijjo ‘okutuukiriza obuweereza bwaffe.’—2 Tim. 4:5.
2 Ekigendererwa: Okufuba okukola ekisingawo mu buweereza kiva mu kuba nga twagala okuweereza Omutonzi waffe mu bujjuvu. Twagala okukulaakulana mu by’omwoyo era tufuba okulongoosa mu buweereza bwaffe. Bwe tuba n’enteekateeka ennungi era n’ekigendererwa ekirungi, tujja kusobola okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’eby’omwoyo.—Zab. 1:1, 2; Baf. 4:6; Beb. 10:24, 25.
3 Okusobola okugaziya obuweereza bwaffe kitwetaagisa okukulaakulanya omwoyo gw’obugabi n’ogw’okwerekereza. Tusobola okukulaakulanya omwoyo ng’ogwo bwe tufumiitiriza ennyo ku kyokulabirako kya Yesu ekirungi. (Mat. 20:28) Mu buweereza bwe bwonna, Yesu yafuna essanyu lingi nnyo mu kuweereza abalala. (Bik. 20:35) Naffe tusobola okukoppa Yesu nga tufaayo nnyo ku bantu era nga tukozesa buli kakisa ke tufuna okugaziya ku buweereza bwaffe.—Is. 6:8.
4 Obuvunaanyizibwa bw’Abazadde: Abaana bayinza okuyambibwa okuba n’omwoyo ogw’okwagala okuweereza abalala n’okugaziya ku buweereza bwabwe okuviira ddala nga bakyali bato. Abaana abato bajja kulaba obunyiikivu bw’ab’omu maka gaabwe era n’engeri gye bafuba okugaziya ku buweereza bwabwe. Okukolera awamu ne jjajjaawe emirimu gy’ekibiina, kyaleetera ow’oluganda omu okugaziya ku buweereza bwe ng’akyali mwana muto. Bwe yalaba essanyu n’obunyiikivu bwa jjajjaawe, kyamuleetera okukola kyonna ky’asobola okuweereza baganda be. Kati akola ng’omuweereza mu kibiina.
5 Ab’Oluganda kye Beetaaga Okukola: ‘Omuntu bw’ayagala okufuna enkizo ez’obuweereza, aba yeegomba mulimu mulungi.’ (1 Tim. 3:1) Ebigambo bino bikubiriza ab’oluganda okufuba okutuukiriza ebisaanyizo ebinaabasobozesa okufuna enkizo endala ez’obuweereza mu kibiina kya Yakuwa. Okusobola okukola ekyo tekibeetaagisa kuba na bumanyirivu oba obusobozi obw’enjawulo. Ow’oluganda ayagala okufuna enkizo ez’obuweereza, kimwetaagisa okusooka okunoonya Obwakabaka era n’okubuulira n’obunyiikivu. (Mat. 6:33; 2 Tim. 4:5) Ate era, ajja kufuba okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi.
6 Mu Nsi Yonna: Yakuwa yeeyongedde okukuŋŋaanya abantu mu kusinza okw’amazima. (Is. 60:22) Abo bonna abagoberera ekyokulabirako kya Yesu kibeetaagisa okukitwala nga kikulu nnyo okwemalira ku buweereza bwabwe. Lipoota y’ensi yonna ey’omwaka gw’obuweereza 2006 eraga nti bantu 248,327 be baabatizibwa. Ekyo kiraga nti okutwalira awamu, abantu abasukka mu 680 be baabatizibwanga buli lunaku! Ka ffenna tweyongere okukozesa buli kakisa ke tufuna okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza bwaffe.