Oyagala Okukola Ekisingawo?
1 Yesu yageraageranya Obwakabaka ku by’obugagga. (Mat. 13:44-46) Omulimu gw’okubunyisa amawulire g’Obwakabaka nagwo kya muwendo nnyo. Obuweereza buno busaanidde okussibwa mu kifo ekisooka mu bulamu bwaffe, wadde ng’okubwenyigiramu kyetaagisa okubaako bye weerekereza. (Mat. 6:19-21) Oyagala okukola ekisingawo mu buweereza bw’Obwakabaka?
2 Lowooza ku Bintu Bino Ebikulu: Waliwo ebintu bingi ebyetaagisa okusobola okugaziya obuweereza bwaffe kinnoomu: (1) Okubeera abamalirivu okukulembeza ebigendererwa by’Obwakabaka mu bulamu bwaffe (Mat. 6:33); (2) Okubeera n’okukkiriza era n’okwesiga Yakuwa (2 Kol. 4:1, 7); (3) Okufuna obuyambi bwa Katonda nga tunyiikirira okusaba mu bwesimbu (Luk. 11:8-10); (4) Okukolera ku kusaba kwaffe.—Yak. 2:14, 17.
3 Engeri z’Okugaziyamu Obuweereza Bwaffe: Ffenna tuyinza okussaawo ekiruubirirwa ekikulu eky’okwenyigira mu buweereza buli mwezi. Naye era wali olowoozezza ku kukozesa buli kakisa k’ofuna okubuulira embagirawo, okufuba ennyo okufuula okubuulira kwo okuba okw’amakulu okusingawo, okukola okuddiŋŋana mu ngeri esingawo obulungi n’okufuba okuyigiriza abantu Baibuli mu maka gaabwe ne bakulaakulana? Oyinza okukola nga payoniya omuwagizi oba owa bulijjo, oba okuweereza obwetaavu gye businga okuba? Bw’oba ng’oli wa luganda omubatize, oyinza okuluubirira okukola ng’omuweereza oba omukadde? (1 Tim. 3:1, 10) Oyinza okugaziya ku buweereza bwo ng’osaba okuweereza ku Beseri oba okugenda mu Ssomero Eritendeka mu Buweereza?—Luk. 10:2.
4 Ow’oluganda eyali alina omulimu ogw’ekiseera kyonna era ng’ebiseera bye ebisinga obungi yali abimalira mu by’emizannyo yakubirizibwa okufuuka payoniya owa bulijjo. Yatandika okukola nga payoniya omuwagizi era oluvannyuma yakola enkyukakyuka mu mbeera ze n’atandika obuweereza obw’ekiseera kyonna. Oluvannyuma, yagenda mu Ssomero Eritendeka mu Buweereza eryamuteekateeka okusobola okukola omulimu kati gw’akola ng‘omulabirizi w’ekitundu. Musanyufu nnyo olw’okuba yakolera ku kukubirizibwa kwe yafuna, era musanyufu nnyo n’okusinga bwe yali kubanga yasalawo okukola ebisingawo mu buweereza bw’Obwakabaka.
5 Yakuwa awa omukisa abo abeewaayo kyeyagalire. (Is. 6:8) Ka waleme kubaawo kintu kyonna ekikulemesa okugaziya ku buweereza bwo osobole okufuna essanyu n’obumativu obusingawo.