LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 9 lup. 28-lup. 29 kat. 1
  • Bafuna Omwana!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bafuna Omwana!
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Katonda Yamuyita “Omumbejja”
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • “Oli Mukazi Alabika Obulungi Ennyo”
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Katonda Agezesa Okukkiriza kwa Ibulayimu
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ibulayimu ne Saala Baagondera Katonda
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 9 lup. 28-lup. 29 kat. 1
Saala ng’ali munda mu weema ng’awuliriza bamalayika nga boogera ne Ibulayimu

ESSOMO 9

Bafuna Omwana!

Ibulayimu ne Saala baali bamaze emyaka mingi nga bafumbo. Baali balese obulamu obweyagaza bwe baalimu mu Uli era nga kati babeera mu weema. Naye Saala teyeemulugunya kubanga yali yeesiga Yakuwa.

Saala yali ayagala nnyo okufuna omwana era yatuuka n’okugamba Ibulayimu nti: ‘Singa ozaala mu muweereza wange Agali omwana, omwana oyo ajja kuba ng’omwana wange ddala.’ Ekiseera kyatuuka Agali n’azaala omwana. Omwana ono yali ayitibwa Isimayiri.

Saala ng’ali lubuto

Nga wayise emyaka mingi, Ibulayimu ne Saala baafuna abagenyi basatu. Ibulayimu yalina emyaka 99 ate nga Saala alina emyaka 89. Ibulayimu yayaniriza abagenyi abo n’abagamba okutuula wansi w’omuti abawe eby’okulya. Abagenyi abo baali baani? Baali bamalayika! Baagamba Ibulayimu nti: ‘Omwaka ogujja mu kiseera nga kino, ggwe ne mukyala wo mujja kuba mulina omwana ow’obulenzi.’ Saala yali munda mu weema ng’awuliriza. Saala yaseka n’agamba nti: ‘Nze akaddiye bwe nti nsobola okuzaala omwana?’

Omwaka ogwaddako, Saala yazaala omwana, nga malayika wa Yakuwa bwe yali asuubizza. Omwana oyo Ibulayimu yamutuuma Isaaka, ekitegeeza, “Enseko.”

Isaaka bwe yali wa myaka ng’etaano, Saala yalaba Isimayiri ng’ayiikiriza Isaaka. Saala yali tayagala mwana we atuukibweko kabi, era yagamba Ibulayimu agobe Agali ne Isimayiri. Mu kusooka, ekyo Ibulayimu yali tayagala kukikola. Naye Yakuwa yagamba Ibulayimu nti: ‘Wuliriza Saala ky’agamba. Nja kulabirira Isimayiri. Naye ebisuubizo byange bigenda kutuukirira okuyitira mu Isaaka.’

Saala ng’akutte Isaaka, nga Agali ne Isimayiri bagenda

“Olw’okukkiriza, Saala naye yaweebwa amaanyi n’afuna olubuto, . . . kubanga yakitwala nti Oyo eyamusuubiza mwesigwa.”​—Abebbulaniya 11:11

Ebibuuzo: Kiki Saala kye yawulira bamalayika nga bagamba Ibulayimu? Yakuwa yakuuma atya Isaaka?

Olubereberye 16:1-4, 15, 16; 17:25-27; 18:1-15; 21:1-14; Abebbulaniya 11:11

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share