LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 21 lup. 54-lup. 55 kat. 2
  • Ekibonyoobonyo eky’Ekkumi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekibonyoobonyo eky’Ekkumi
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Musa ne Alooni Balaba Falaawo
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Ebibonyoobonyo Ebisatu Ebyasooka
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Kabaka Omubi Afuga Misiri
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Musa Yasalawo Okuweereza Yakuwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 21 lup. 54-lup. 55 kat. 2
Omusajja Omuyisirayiri ng’ateeka omusaayi ku mulyango gw’ennyumba ye

ESSOMO 21

Ekibonyoobonyo eky’Ekkumi

Musa yagamba Falaawo nti yali tagenda kukomawo mu maaso ge. Naye bwe yali tannagenda, yagamba Falaawo nti: ‘Ekiro mu ttumbi, abaana ababereberye bonna mu Misiri bajja kufa. K’abe mutabani wa Falaawo oba mutabani w’omuddu, bonna bajja kufa.’

Yakuwa yagamba Abayisirayiri okulya ekijjulo eky’enjawulo. Yabagamba nti: ‘Mutte endiga oba embuzi ey’omwaka gumu era muteeke ogumu ku musaayi gwayo ku miryango gy’ennyumba zammwe. Mwokye ennyama mugiriire wamu n’emigaati egitaliimu kizimbulukusa. Mulye nga mwambadde engoye zammwe n’engatto zammwe era nga mweteeseteese okugenda. Ekiro kya leero ŋŋenda kubanunula.’ Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyasanyusa nnyo Abayisirayiri.

Ekiro mu ttumbi, malayika wa Yakuwa yagenda ku mayumba gonna ag’omu Misiri. Yatta abaana babereberye mu mayumba gonna agataaliko musaayi ku mulyango. Naye malayika yayita ku mayumba agaaliko omusaayi. Amaka g’Abamisiri gonna, ka gabe ga bagagga oba ga baavu, gaafaamu omwana. Naye tewali mwana n’omu ku baana b’Abayisirayiri eyafa.

Ne mutabani wa Falaawo yafa. Ekyo Falaawo kyamuyitirirako. Amangu ddala Falaawo yayita Musa ne Alooni n’abagamba nti: ‘Musituke mugende. Mugende musinze Katonda wammwe. N’ebisolo byammwe mubitwale!’

Ekiro ng’omwezi gwaka, Abayisirayiri baatambula okuva mu Misiri. Baatambula nga bategekeddwa bulungi okusinziira ku bika byabwe. Baali abasajja nga 600,000 awamu n’abakazi n’abaana bangi. Waliwo n’abantu abalala bangi abaagenda nabo basobole okusinza Yakuwa. Abayisirayiri baali tebakyali baddu!

Okusobola okujjukira engeri Yakuwa gye yabanunulamu, ekijjulo ekyo eky’enjawulo baalinanga okukirya buli mwaka. Ekijjulo ekyo kyali kiyitibwa Okuyitako.

Abayisirayiri nga bava mu Misiri

“Nkulese ng’okyali mulamu, nsobole okukukozesa okulaga amaanyi gange, era erinnya lyange lisobole okulangirirwa mu nsi yonna.” ​—Abaruumi 9:17

Ebibuuzo: Ekibonyoobonyo eky’ekkumi kyali ki? Kiki Abayisirayiri kye baakola okusobola okwewala okutuukibwako ekibonyoobonyo ekyo?

Okuva 11:1–12:42; 13:3-10

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share