LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 43 lup. 104
  • Kabaka Dawudi Akola Ekibi eky’Amaanyi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kabaka Dawudi Akola Ekibi eky’Amaanyi
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Emitawaana mu Nnyumba ya Dawudi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Weesige Omwoyo gwa Katonda ng’Oyolekaganye n’Enkyukakyuka Ezibaawo mu Bulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Nasani Yawagira Okusinza okw’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • ‘Njigiriza Okukola by’Oyagala’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 43 lup. 104
Nabbi Nasani ng’awabula Dawudi

ESSOMO 43

Kabaka Dawudi Akola Ekibi eky’Amaanyi

Sawulo bwe yafa, Dawudi yafuuka kabaka. Dawudi yalina emyaka 30 we yafuukira kabaka. Nga wayise emyaka egiwerako nga Dawudi amaze okufuuka kabaka, lumu akawungeezi bwe yali waggulu ku nnyumba mu lubiri lwe, yalengera omukazi alabika obulungi. Yakitegeera nti omukazi oyo yali ayitibwa Basuseba era nti omwami we yali ayitibwa Uliya. Dawudi yalagira baleete Basuseba mu lubiri lwe. Yeegatta ne Basuseba era Basuseba n’afuna olubuto. Dawudi yagezaako okukweka ekibi kye yali akoze. Yagamba omuduumizi w’eggye lye ateeke Uliya mu kifo awaali okulwana okw’amaanyi oluvannyuma bamwabulire attibwe. Uliya bwe yamala okuttibwa, Dawudi yawasa Basuseba.

Kabaka Dawudi ng’asaba Yakuwa amusonyiwe

Naye ebintu ebyo byonna ebibi Yakuwa yabiraba. Kiki kye yakolawo? Yakuwa yatuma nnabbi Nasani okugenda eri Dawudi. Nasani yagamba Dawudi nti: ‘Waaliwo omusajja omugagga eyalina endiga nnyingi, era n’omusajja omwavu eyalina akaliga kamu kokka ke yali ayagala ennyo. Naye omusajja omugagga yatwala akaliga k’omusajja omwavu.’ Ekyo kyanyiiza nnyo Dawudi era n’agamba nti: ‘Omusajja oyo agwanidde okufa!’ Nasani yagamba Dawudi nti: ‘Ggwe musajja oyo omugagga!’ Dawudi yanakuwala nnyo, era n’agamba Nasani nti: ‘Nyonoonye mu maaso ga Yakuwa.’ Ekibi ekyo Dawudi kye yakola kyamuviiramu ebizibu bingi awamu n’ab’omu maka ge. Yakuwa yabonereza Dawudi naye teyamutta olw’okuba Dawudi yali mwesigwa era nga mwetoowaze.

Dawudi yayagala okuzimbira Yakuwa yeekaalu, naye Yakuwa yalonda Sulemaani mutabani wa Dawudi okugizimba. Dawudi yatandika okutegekera Sulemaani ebintu eby’okukozesa okuzimba era n’agamba nti: ‘Yeekaalu ya Yakuwa erina okulabika obulungi ennyo. Naye Sulemaani akyali muto. Nja kumuyamba okufuna eby’okuzimbisa.’ Dawudi yawaayo ssente nnyingi zikozesebwe mu mulimu gw’okuzimba yeekaalu. Yafuna n’abantu abaalina obukugu mu mirimu egy’enjawulo. Yakuŋŋaanya zzaabu ne ffeeza, era n’afuna emiti gy’entolokyo okuva mu Ttuulo ne Sidoni. Bwe yali anaatera okufa, Dawudi yawa Sulemaani pulaani ya yeekaalu. Yamugamba nti: ‘Yakuwa ye yampa pulaani eno. Ajja kukuyamba. Totya. Beera mugumu okole omulimu guno.’

Dawudi ne Sulemaani nga bakubaganya ebirowoozo ku ngeri Yekaalu gy’eneezimbibwamu

“Oyo abikka ku bibi bye ebintu tebijja kumugendera bulungi, naye buli ayatula ebibi bye n’abireka ajja kusaasirwa.”​—Engero 28:13

Ebibuuzo: Kibi ki Dawudi kye yakola? Biki Dawudi bye yakola okuyamba mutabani we Sulemaani okuzimba yeekaalu?

2 Samwiri 5:3, 4, 10; 7:1-16; 8:1-14; 11:1–12:14; 1 Ebyomumirembe 22:1-19; 28:11-21; Zabbuli 51:1-19

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share