Nasani Yawagira Okusinza okw’Amazima
Tekiba kyangu kuyamba muntu ali mu buyinza kukiraba nti alina ekikyamu ky’akoze era nti yeetaaga okukyusa enneeyisa ye. Wandisobodde okutuukirira omuntu ng’oyo ng’ate okimanyi nti alina n’omuntu gwe yatta asobole okukweka ensobi ye?
Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda yayenda ku Basuseba era n’amufunisa olubuto. Okusobola okukweka ekibi kyabwe, Dawudi yatta bba wa Basuseba oluvannyuma n’awasa Basuseba. Dawudi yamala emyezi egiwerako ng’akwese ekibi ekyo, era ng’agenda mu maaso n’okuweereza nga kabaka. Naye Yakuwa teyamukkiriza kweyongera kukweka kibi kye. Yatuma nnabbi Nasani okunenya Dawudi.
Ekyo Yakuwa kye yagamba Nasani okukola tekyali kyangu. Gezaako okweteeka mu bigere bya Nasani. Olw’okuba Nasani yali mwesigwa eri Yakuwa era nga mumalirivu okunywerera ku mitindo gya Katonda, yali mwetegefu okutuukirira Dawudi amujjukize ekibi kye yali akoze. Naye nnabbi oyo yandisobodde atya okuyamba Kabaka Dawudi okukiraba nti yali yeetaaga okwenenya?
YALI MUYIGIRIZA MULUNGI
Soma 2 Samwiri 12:1-25. Ng’osoma ennyiriri ezo, kuba akafaananyi nga ggwe Nasani era ng’obuulira Dawudi olugero luno: “Waaliwo abasajja babiri mu kibuga kimu; omu nga mugagga ne munne nga mwavu. Omugagga yalina endiga n’ente nnyingi nnyo nnyini: naye omwavu teyalina kantu wabula akaana k’endiga akaluusi ke yagula n’akalera: ne kakulira wamu naye n’abaana be; kaalyanga ku kamere ke ye, ne kanywa ku ndeku ye ye, ne kagalamira mu kifuba kye ne kaba gy’ali nga muwala we. Awo ne wajja omutambuze eri omugagga oyo n’alema okutoola ku ndiga ze ye ne ku nte ze ye, okufumbira omutambuze eyajja gy’ali, naye n’atwala omwana gw’endiga ogw’omwavu, n’agufumbira omusajja azze gy’ali.”—2 Sam. 12:1-4.
Okuva bwe kiri nti Dawudi yali musumba, ayinza okuba nga yali alowooza nti ebyo Nasani bye yali amugambye byaliwo ddala. Kino kiri kityo kubanga, ng’omwekenneenya wa Bayibuli omu bwe yagamba, “Nasani yateranga okugenda mu maaso ga Dawudi okulwanirira abo abaayisibwanga mu ngeri etali ya bwenkanya naye nga tebalina muntu yenna asobola kubayamba.” Ka kibe nti ekyo omuwandiisi oyo kye yayogera kyali kituufu oba nedda, Nasani kyali kimwetaagisa okwesiga Yakuwa n’okwoleka obuvumu okusobola okwogera ne Kabaka Dawudi ku mulundi ogwo. Oluvannyuma lw’okuwulira olugero lwa Nasani, Dawudi yasunguwala nnyo era n’agamba nti: “Mukama nga bw’ali omulamu, omusajja eyakola ekyo asaanidde okufa.” Nasani yagamba Dawudi nti: “[Omusajja oyo] ye ggwe.”—2 Sam. 12:5-7.
Olowooza lwaki Nasani yasalawo okukozesa olugero ng’ayogera ne Dawudi? Ensonga eri nti bulijjo tekiba kyangu muntu ali mu mbeera ng’eyo Dawudi gye yalimu kulaba bintu mu ngeri ntuufu. Ffenna tutera okwewolereza bwe wabaawo ensobi gye tuba tukoze. Naye olugero lwa Nasani lwaleetera Dawudi okwesalira omusango nga tategedde. Dawudi yakiraba nti ekyo omusajja ayogerwako mu lugero kye yakola kyali kibi nnyo. Era ekyo Dawudi bwe yamala okukiraba, Nasani yamugamba nti omusajja oyo yali akiikirira Dawudi. Bw’atyo Dawudi yakiraba nti ekibi kye yali akoze kyali kya maanyi nnyo. Ekyo kyamuyamba okuba omwetegefu okukkiriza okukangavvulwa. Yakiraba nti yali ‘anyoomye’ Yakuwa, era ekyo kyamuleetera okukkiriza okukangavvulwa.—2 Sam. 12:9-14; Zab. 51, obugambo obusooka waggulu.
Ebyo bye tulabye bituyigiriza ki? Bwe tuba tuyigiriza abantu Bayibuli, tusaanidde okubayamba okufumiitiriza n’okwefunira eby’okuddamu mu bibuuzo bye baba beebuuza. Nasani yawa Dawudi ekitiibwa era yamukwata mu ngeri ey’amagezi. Nasani yali akimanyi nti Dawudi yali ayagala nnyo obutuukirivu n’obwenkanya. Bwe kityo, Nasani yakozesa olugero olutuukirawo okusobola okutuuka ku mutima gw’omuntu alina engeri ng’ezo. Naffe tusobola okuyamba abantu ab’emitima emirungi okutegeera endowooza ya Yakuwa. Ekyo tuyinza kukikola tutya? Tuyinza okukikola nga tukozesa ebyo bye bamanyi ku kituufu n’ekikyamu awatali kubaleetera kulowooza nti tubasinga okumanya oba nti ffe tulina okubasalirawo eky’okukola. Tusaanidde okukozesa Bayibuli okubalaga ekituufu n’ekikyamu mu kifo ky’okukozesa amagezi gaffe.
Olw’okuba Nasani yali mwesigwa eri Yakuwa, yasobola okunenya Dawudi, eyali kabaka ow’amaanyi. (2 Sam. 12:1) Mu ngeri y’emu, naffe obwesigwa bujja kutuyamba okunywerera ku mitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu.
YAWAGIRA OKUSINZA OKW’AMAZIMA
Kirabika Nasani ne Dawudi baali ba mukwano nnyo, kubanga Dawudi yatuuka n’okutuuma omu ku batabani be erinnya Nasani. (1 Byom. 3:1, 5). Nasani asooka okwogerwako mu Bayibuli ng’ali wamu ne Dawudi. Bombi baali baagala nnyo Yakuwa. Kabaka Dawudi yali yeesiga nnyo Nasani, kubanga yatuuka n’okumubuulira ekyo kye yali alowooza okukola. Dawudi yagamba Nasani nti: “Laba nno, nze ntuula mu nnyumba ey’emivule, naye essanduuko ya Katonda etuula munda w’ebitimbe.” Nasani yagamba Dawudi nti: “Genda okole byonna ebiri mu mutima gwo; kubanga Mukama ali naawe.”—2 Sam. 7:2, 3.
Olw’okuba yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa, Nasani teyalonzalonza kukkiriza Dawudi kuzimba yeekaalu, eyandifuuse entabiro y’okusinza okw’amazima ku nsi. Kyokka ku mulundi ogwo, ebyo Nasani bye yagamba Dawudi byali bibye so si bya Yakuwa. Naye ku olwo ekiro, Yakuwa yagamba Nasani agambe Dawudi nti si ye yali agenda okumuzimbira yeekaalu. Omu ku batabani ba Dawudi ye yali agenda okugizimba. Wadde kyali kityo, Nasani yagamba Dawudi nti Katonda yali akoze endagaano ne Dawudi, ‘okunyweza entebe y’obwakabaka bwe ennaku zonna.’—2 Sam. 7:4-16.
Ebyo Nasani bye yayogera ebikwata ku kuzimba yeekaalu byali tebikwatagana n’ekyo Yakuwa kye yali ayagala. Kyokka Nasani yayoleka obuwombeefu n’akolera ku ekyo Yakuwa kye yali ayagala. Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku ngeri gye tulina okweyisaamu nga Yakuwa atugolodde! Ebyo Nasani bye yakola oluvannyuma byalaga nti yali akyasiimibwa mu maaso ga Katonda. Era kirabika Yakuwa yaluŋŋamya Nasani awamu ne Gaadi omulabi okuyamba Dawudi okutegeka abasajja 4,000 okuyimbira mu yeekaalu.—1 Byom. 23:1-5; 2 Byom. 29:25.
YALWANIRIRA OBWAKABAKA
Nasani yali akimanyi nti Sulemaani ye yali agenda okudda mu bigere bya Dawudi nga kabaka. Bwe kityo, bwe yakimanya nti Adoniya yali ayagala kweddiza obwakabaka, yasitukiramu n’abaako ky’akolawo. Ne ku mulundi guno, Nasani yayoleka obwesigwa n’amagezi. Yakubiriza Basuseba okujjukiza Dawudi ekyo kye yali agambye nti mutabani waabwe Sulemaani ye yali agenda okumuddira mu bigere nga kabaka. Oluvannyuma Nasani naye yagenda ewa Dawudi n’amubuuza obanga ye yali akkirizza Adoniya okufuuka kabaka. Dawudi bwe yamala okutegeera ebyali bigenda mu maaso, yagamba Nasani n’abaweereza be abalala abeesigwa okufuka amafuta ku Sulemaani n’okumulangirira nga kabaka. Olukwe lwa Adoniya lwagwa butaka.—1 Bassek. 1:5-53.
YALI MUWANDIISI OMWETOOWAZE
Nasani ne Gaadi be baawandiika 1 Samwiri okuva ku ssuula 25 okutuuka ku ssuula 31 era be baawandiika ne 2 Samwiri. Ng’eyogera ku ebyo ebiri mu bitabo ebyo, Bayibuli egamba nti: “Ebikolwa bya Dawudi kabaka, ebyasooka n’ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu bigambo bya Samwiri omulabi ne mu bigambo bya Nasani n[n]abbi ne mu bigambo bya Gaadi omulabi.” (1 Byom. 29:29) Nasani era yakozesebwa mu kuwandiika ebikwata ku Sulemaani. (2 Byom. 9:29) Ekyo kiraga nti Nasani yeeyongera okwenyigira mu bintu ebyali bigenda mu maaso mu lubiri lwa kabaka n’oluvannyuma lw’okufa kwa Dawudi.
Ebintu ebisinga bye tumanyi ku nnabbi Nasani kirabika ye kennyini ye yabiwandiika. Kyokka waliwo ebintu bingi nnyo ebimukwatako by’ataayogerako. Kya lwatu nti Nasani yali muwandiisi omwetoowaze, eyali tayagala kwekolera linnya. Enkuluze ya Bayibuli emu egamba nti Bayibuli terina bingi by’eyogera ku Nasani wadde okutubuulira ebikwata ku lunyiriri lw’obuzaale bwe. Mu butuufu, tetulina kye tumanyi ku bulamu bwa Nasani obwa bulijjo.
YALI MWESIGWA ERI YAKUWA
Ebintu ebitono Ebyawandiikibwa bye byogera ku Nasani, biraga bulungi nti Nasani yali musajja mwetoowaze era yali awagira nnyo okusinza okw’amazima. Bwe kityo, Yakuwa yamukwasa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Fumiitiriza ku ngeri ennungi Nasani ze yayoleka, gamba ng’obwesigwa n’okwagala okw’amaanyi kwe yalina eri emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu. Fuba okumukoppa.
Kya lwatu nti ggwe Yakuwa ayinza obutakutuma kunenya bakabaka benzi oba kulwanyisa nkwe eziba zikoleddwa. Wadde kiri kityo, Yakuwa asobola okukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali n’osobola okunywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu. Naawe osobola okwoleka amagezi n’obuvumu ng’oyigiriza abantu Bayibuli era ng’owagira okusinza okw’amazima.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]
Nasani yalwanirira obwakabaka era yakozesa amagezi ng’ayogera ne Basuseba