LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 2/15 lup. 18-22
  • Kuuma Omwoyo gw’Ekibiina Omulungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kuuma Omwoyo gw’Ekibiina Omulungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YAMBA EKIBIINA KYO OKUBA N’OMWOYO OMULUNGI
  • BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
  • WEEWALE OKWEMULUGUNYA N’EBIKOLWA EBIBI
  • KUUMA “OBUMU OBW’OMWOYO”
  • Mwoyo Ki gw’Oyoleka?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Ekibiina ka Kitendereze Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Ekibiina ka Kizimbibwenga
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Tambulira mu Mwoyo Otuukirize Okwewaayo Kwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 2/15 lup. 18-22

Kuuma Omwoyo gw’Ekibiina Omulungi

“Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere n’omwoyo gwe mulaga.”​—BAF. 4:23.

NNYONNYOLA ENGERI GYE TUYINZA OKUKUUMAMU OMWOYO GW’EKIBIINA OMULUNGI . . .

nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe.

nga tubuulira n’obunyiikivu.

nga tubuulira abakadde bwe wabaawo ow’oluganda aba akoze ekibi eky’amaanyi.

1. Lwaki ab’oluganda mu Firipi ne Suwatira baasiimibwa nnyo?

ABAKRISTAAYO b’omu Firipi abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali baavu nnyo. Wadde kyali kityo, baalina omwoyo omugabi era baateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kulaga bakkiriza bannaabwe okwagala. (Baf. 1:3-5, 9; 4:15, 16) Bwe yali akomekkereza ebbaluwa ye eri Abafiripi, omutume Pawulo yabagamba nti: “Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere n’omwoyo gwe mulaga.” (Baf. 4:23) Olw’okuba Abakristaayo b’omu Suwatira nabo baayoleka omwoyo ogwo omugabi, Yesu Kristo yabagamba nti: “Mmanyi ebikolwa byo, okwagala kwo, okukkiriza kwo, obuweereza bwo n’obugumiikiriza bwo, era mmanyi nti ebikolwa byo eby’oluvannyuma bisinga eby’olubereberye.”​—Kub. 2:19.

2. Omwoyo gwe twoleka guyamba gutya ekibiina?

2 Ne leero, buli kimu ku bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa kirina omwoyo gwe kyoleka. Ebibiina ebimu bimanyiddwa nnyo olw’okwoleka okwagala n’ekisa. Ate ebirala bimanyiddwa nnyo olw’okunyiikirira omulimu gw’okubuulira Obwakabaka n’okwettanira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Ffenna mu kibiina bwe tufuba okwoleka omwoyo omulungi, ekyo kiyamba ekibiina okusigala nga kiri bumu ne kisobola okukuuma omwoyo gwakyo omulungi. (1 Kol. 1:10) Naye abo abali mu kibiina bwe baba n’omwoyo omubi, ekyo kiyinza okuleetera abalala mu kibiina okuddirira mu buweereza bwabwe eri Katonda, okulekera awo okubuulira n’obunyiikivu, era kiyinza n’okuviirako ebikolwa ebibi okusensera ekibiina. (1 Kol. 5:1; Kub. 3:15, 16) Mwoyo ki ekibiina kyo gwe kyoleka? Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuyamba ekibiina kyo okuba n’omwoyo omulungi?

YAMBA EKIBIINA KYO OKUBA N’OMWOYO OMULUNGI

3, 4. Tuyinza tutya okutendereza Yakuwa mu kibiina?

3 Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba Yakuwa nti: “Ndikwebaliza mu kibiina ekinene: ndikutendereza mu bantu abangi.” (Zab. 35:18) Omuwandiisi wa Zabbuli yanyiikiriranga okutendereza Yakuwa ng’ali wamu n’abaweereza ba Katonda abalala. Enkuŋŋaana z’ekibiina, gamba ng’olukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi, zituwa akakisa okwoleka okukkiriza kwaffe n’obunyiikivu bwaffe okuyitira mu bintu bye tuddamu. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Nfuba okwenyigira mu nkuŋŋaana ezo mu bujjuvu? Nfuba okuzeetegekera obulungi nsobole okubaako bye nziramu okuzimba bakkiriza bannange? Ng’omutwe gw’amaka, nfuba okuyamba abaana bange okutegeka eby’okuddamu mu nkuŋŋaana era n’okubayigiriza okuddamu mu bigambo byabwe?’

4 Tusobola okulaga nti tulina omutima omunywevu, oba omutima ogumaliridde okukola ekituufu okuyitira mu ngeri gye tuyimbamu nga tuli mu nkuŋŋaana. Dawudi yagamba nti: “Omutima gwange gunywedde, Ai Katonda, omutima gwange gunywedde: ndiyimba, weewaawo, ndiyimba eby’okutendereza.” (Zab. 57:7) Ennyimba ze tuyimba mu nkuŋŋaana zaffe zituwa akakisa okutendereza Yakuwa n’omutima omunywevu. Bwe kiba nti ezimu ku nnyimba eziri mu katabo kaffe ak’ennyimba tetuzimanyi bulungi, kiba kirungi okuzeegezaamu mu kusinza kwaffe okw’amaka. Ka tube bamalirivu ‘okuyimbira Yakuwa nga tukyali balamu n’okumutendereza nga tukyaliwo.’​—Zab. 104:33.

5, 6. Tuyinza tutya okusembeza abagenyi n’okwoleka omwoyo omugabi, era ekyo kiyamba kitya ekibiina?

5 Engeri endala gye tuyinza okuyamba ekibiina kyaffe okuba n’omwoyo omulungi, kwe kusembeza abagenyi. Pawulo yagamba nti: “Mweyongere okwagalana ng’ab’oluganda. Temwerabiranga kusembeza bagenyi.” (Beb. 13:1, 2) Engeri emu gye tuyinza okusembezaamu abagenyi, kwe kuyita abalabirizi abatambula ne bakyala baabwe oba ab’oluganda abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna mu maka gaffe ne tuliirako wamu nabo emmere. Tuyinza n’okuyita bannamwandu, abazadde abali obwannamunigina, oba omuntu omulala yenna mu kibiina okuliirako awamu naffe emmere oba okubaawo mu kusinza kwaffe okw’amaka.

6 Pawulo yagamba Timoseewo akubirize ab’oluganda “bakolenga ebirungi, babenga bagagga mu bikolwa ebirungi, bagabenga, bagabane n’abalala, nga beeterekera eby’obugagga, kwe kugamba, omusingi omulungi gwe balizimbako mu biseera eby’omu maaso, basobole okunyweza obulamu obwa nnamaddala.” (1 Tim. 6:17-19) Pawulo yali ayagala bakkiriza banne booleke omwoyo omugabi. Tusobola okwoleka omwoyo omugabi ne mu kiseera kino ng’eby’enfuna bigootaanye nnyo. Ng’ekyokulabirako, bw’oba olina emmotoka, oyinza okutwalako ab’oluganda abali mu bwetaavu nga bagenda mu nkuŋŋaana oba nga bagenda okubuulira. Ab’oluganda ababa bayambiddwa mu ngeri eyo bayinza batya okulaga nti basiima ekyo ekiba kibakoleddwa n’okuyamba ekibiina okuba n’omwoyo omulungi? Basobola okubaako ssente ze bawa ow’oluganda aba abatuteko, kimuyambe okugula amafuta agafuuse ag’obuseere ennyo leero. Engeri endala gye tusobola okulaga nti tufaayo ku baganda baffe ne bannyinaffe, kwe kufuba okwongera ku biseera bye tumala nga tuli nabo. Bwe tukolera “abo be tuli nabo mu kukkiriza” ebintu ebirungi era ne tukozesa ebiseera byaffe n’ebintu byaffe okubayamba, okwagala kwaffe gye bali kweyongera era ekyo kikubiriza n’abalala mu kibiina okwoleka omwoyo omulungi.​—Bag. 6:10.

7. Okukuuma ebintu eby’ekyama ebikwata ku balala kiyinza kitya okuyamba mu kukuuma omwoyo gw’ekibiina omulungi?

7 Okuba ab’omukwano n’okuba abantu abakuuma ebyama nakyo kisobola okunyweza okwagala kwe tulina ne bakkiriza bannaffe. (Soma Engero 18:24.) Mukwano gwaffe bw’abaako ebintu eby’ekyama by’aba atubuulidde, kiba kirungi okwewala okubibuulira abalala. Singa ow’oluganda abaako ebintu bye eby’ekyama by’aba akubuulidde era ng’akimanyi nti tojja kubibuulirako balala, omukwano gwammwe gujja kweyongera okunywera. N’olwekyo, ka tufube okukuuma ebyama bya bakkiriza bannaffe, tusobole okukuuma omwoyo gw’ekibiina omulungi.​—Nge. 20:19.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

8. Kiki Yesu kye yagamba ab’ekibiina ky’omu Lawodikiya, era lwaki?

8 Yesu yagamba ekibiina ky’omu Lawodikiya nti: “Mmanyi ebikolwa byo, nti tonnyogoga so toyokya. Waakiri wandibadde onnyogoga oba ng’oyokya. N’olwekyo, olw’okuba oli wa kibuguumirize nga toyokya era nga tonnyogoga, ŋŋenda kukusesema.” (Kub. 3:15, 16) Ab’oluganda mu Lawodikiya baali bagayaavu mu mulimu gw’okubuulira. Ekyo kiyinza okuba nga kyanafuya enkolagana ab’oluganda gye baalina mu kibiina ekyo. Bwe kityo Yesu yabagamba nti: “Abo bonna be njagala mbanenya era mbakangavvula. N’olwekyo, beera munyiikivu era weenenye.”​—Kub. 3:19.

9. Bwe twoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira kiyamba kitya ekibiina?

9 Bwe tuba nga twagala ekibiina okuba n’omwoyo omulungi, tusaanidde okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Ekimu ku bigendererwa by’ekibiina kwe kunoonya abantu abalinga endiga n’okubayigiriza amazima. Bwe kityo, twetaaga okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira nga Yesu bwe yali. (Mat. 28:19, 20; Luk. 4:43) Bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira, kituyamba okuba obumu nga “tukolera wamu ne Katonda.” (1 Kol. 3:9) Bwe tuba tubuulira ne mukkiriza munnaffe ne tulaba engeri gy’annyonnyolamu ebikwata ku nzikiriza ye n’engeri gy’alagamu nti ayagala Yakuwa n’amazima, ekyo kituleetera okweyongera okumwagala n’okumussaamu ekitiibwa. Era bwe tukolera awamu ne bakkiriza bannaffe mu mulimu gw’okubuulira, ekyo kiyamba ekibiina okuba obumu.​—Soma Zeffaniya 3:9.

10. Bwe tufuba okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu, kiyamba kitya abalala mu kibiina?

10 Bwe tufuba okulongoosa mu ngeri gye tubuuliramu, kiyamba abalala mu kibiina. Singa tufaayo ku bantu be tubuulira era ne tufuba okutuuka ku mitima gyabwe, kijja kutuyamba okwongera okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. (Mat. 9:36, 37) Bwe tuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira ekyo kijja kukubiriza bakkiriza bannaffe nabo okuba abanyiikivu. Yesu bwe yali asindika abayigirizwa be okugenda okubuulira, yabasindika babiri babiri. (Luk. 10:1) Kino kyabasobozesa buli omu okuzzaamu munne amaanyi, okuyigira ku munne, n’okubuulira n’obunyiikivu. Kya lwatu nti ffenna tuganyulwa nnyo bwe tubuulirako n’ababuulizi abanyiikivu. Obunyiikivu bwe booleka naffe butukubiriza okuba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira.​—Bar. 1:12.

WEEWALE OKWEMULUGUNYA N’EBIKOLWA EBIBI

11. Mwoyo ki Abaisiraeri abamu abaaliwo mu kiseera kya Musa gwe baayoleka, era ekyo kyabaleetera kukola ki?

11 Bwe waali waakayita wiiki ntono oluvannyuma lw’Abaisiraeri okufuuka eggwanga, Abaisiraeri baatandika okwoleka obutali bumativu n’okwemulugunya. Kino kyabaleetera okujeemera Yakuwa awamu n’abo abaali bamukiikirira, Musa ne Alooni. (Kuv. 16:1, 2) Ku Baisiraeri bonna abaava e Misiri, batono nnyo abaasobola okutuuka mu Nsi Ensuubize. Ne Musa kennyini teyakkirizibwa kuyingira mu Nsi Ensuubize olw’engeri gye yeeyisaamu ng’Abaisiraeri boolese omwoyo omubi. (Ma. 32:48-52) Kiki ekinaatuyamba okwewala okuba n’omwoyo omubi?

12. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala okuba n’omwoyo ogw’okwemulugunya?

12 Tusaanidde okwewala okuba n’omwoyo ogw’okwemulugunya. Ekyo kitwetaagisa okuba abeetoowaze n’okugondera abo abatwala obukulembeze mu kibiina. Era tulina n’okwewala emikwano emibi. Singa tulonda eby’okwesanyusaamu ebibi oba singa tumala ebiseera bingi nga tuli ne bakozi bannaffe oba bayizi bannaffe abatagoberera mitindo gya Yakuwa, ekyo kiyinza okutwonoona. Tusaanidde okwewala okukolagana n’abantu abalina omwoyo ogw’okwemulugunya n’omwoyo gwa kyetwala.​—Nge. 13:20.

13. Biki ebiyinza okuvaamu singa abo abali mu kibiina baba n’omwoyo gw’okwemulugunya?

13 Abo abali mu kibiina bwe baba n’omwoyo gw’okwemulugunya, ekyo kiyinza okubaviirako okukola ebintu ebirala ebibi. Ng’ekyokulabirako, okuba n’omwoyo gw’okwemulugunya kiyinza okumalawo emirembe n’obumu mu kibiina. Ate era bwe twemulugunya ku baganda baffe kiyinza okubaleetera okuwulira obubi era kiyinza n’okutuleetera okubawaayiriza n’okubavuma. (Leev. 19:16; 1 Kol. 5:11) Abamu ku abo abaali mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka abaalina omwoyo gw’okwemulugunya baali “banyooma ababafuga era [nga] bavuma ab’ekitiibwa.” (Yud. 8, 16) Tewali kubuusabuusa nti okwemulugunya ku basajja abaali batwala obukulembeze mu kibiina tekyasanyusa Katonda.

14, 15. (a) Kiki ekiyinza okutuuka ku kibiina singa tusalawo okusirika obusirisi nga waliwo ow’oluganda akola ekibi eky’amaanyi mu nkukutu? (b) Kiki kye tusaanidde okukola singa tukimanyaako nti waliwo ow’oluganda akola ekibi eky’amaanyi?

14 Kiri kitya singa tukimanyaako nti waliwo ow’oluganda alina ekibi eky’amaanyi ky’akola mu nkukutu, gamba ng’okunywa omwenge omungi, okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, oba okukola ebikolwa eby’obugwenyufu? (Bef. 5:11, 12) Singa tusalawo okusirika obusirisi, ekibiina kyaffe Yakuwa asobola okukiggyako omwoyo gwe omutukuvu era ekyo kiyinza okumalawo emirembe mu kibiina. (Bag. 5:19-23) Pawulo yagamba Abakristaayo mu Kkolinso okuggya ekizimbulukusa ekikadde mu kibiina. Mu ngeri y’emu, naffe tulina okufuba okukuuma ekibiina nga kiyonjo tusobole okukuuma omwoyo gwakyo omulungi. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuyamba ekibiina okubaamu emirembe?

15 Nga bwe tulabye, kikulu nnyo okukuuma ebyama naddala singa mukkiriza munnaffe abaako ebintu bye eby’ekyama by’aba atubuulidde. Nga kiba kibi nnyo okubuulira abalala ebintu eby’ekyama mukkiriza munnaffe by’aba atubuulidde! Wadde kiri kityo, singa wabaawo ow’oluganda akoze ekibi eky’amaanyi, abakadde mu kibiina baba balina okutegeezebwa. Abakadde be balina obuvunaanyizibwa okukola ku nsonga ng’ezo. (Soma Abaleevi 5:1.) N’olwekyo, singa tukimanyaako nti ow’oluganda akoze ekibi eky’amaanyi, tusaanidde okumukubiriza okutuukirira abakadde bamuyambe. (Yak. 5:13-15) Singa ekyo takikola mu bwangu, ffe ababa bakitegeddeko tuba tulina okubuulira abakadde.

16. Bwe tubuulira abakadde ekibi eky’amaanyi ow’oluganda ky’aba akoze kiyamba kitya mu kukuuma omwoyo gw’ekibiina omulungi?

16 Ekibiina Ekikristaayo kifo mwe tufunira obukuumi obw’eby’omwoyo. N’olwekyo, tusaanidde okukikuuma nga kiyonjo nga tubuulira abakadde bwe wabaawo ow’oluganda aba akoze ekibi eky’amaanyi. Abakadde bwe bayamba omwonoonyi okutegeera ensobi ye, ne yeenenya, era n’akkiriza okukangavvulwa, ekyo kiyamba okukuuma omwoyo gw’ekibiina omulungi. Ate kiri kitya singa omwonoonyi agaana okwenenya era n’agaana okukkiriza okukangavvula okuva eri abakadde? Olwo aba alina okugobebwa mu kibiina. Mu ngeri eyo, ekintu ekyonoona kiba ‘kizikiriziddwa’ oba kiba kiggiddwa mu kibiina. Ekyo kiyamba okukuuma omwoyo gw’ekibiina omulungi. (Soma 1 Abakkolinso 5:5.) N’olwekyo, ka tufube okukuuma omwoyo gw’ekibiina omulungi nga tubuulira abakadde bwe wabaawo ow’oluganda aba akoze ekibi eky’amaanyi era nga tukolera ku bulagirizi bwe batuwa.

KUUMA “OBUMU OBW’OMWOYO”

17, 18. Kiki ekinaatuyamba okukuuma obumu bw’ekibiina?

17 Abagoberezi ba Yesu abaaliwo mu kyasa ekyasooka baakuuma obumu bw’ekibiina nga ‘bassaayo omwoyo ku ebyo abatume bye baayigirizanga.’ (Bik. 2:42) Obulagirizi bwe baafunanga okuva eri abakadde baabutwalanga nga bwa muwendo nnyo. Mu ngeri y’emu leero, ebibiina byonna biri bumu olw’okuba abakadde bakolera ku bulagirizi obuva eri omuddu omwesigwa era ow’amagezi. (1 Kol. 1:10) Bwe tukolera ku bulagirizi obutuweebwa ekibiina kya Yakuwa era ne tukolera ne ku bulagirizi obutuweebwa abakadde, tuba tulaga nti twagala “okukuuma obumu obw’omwoyo mu mirembe eginyweza.”​—Bef. 4:3.

18 N’olwekyo, ka tukole kyonna ekisoboka okuyamba ekibiina okuba n’omwoyo omulungi n’okugukuuma. Bwe tunaakola bwe tutyo, ‘ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kijja kubeera n’omwoyo gwe tulaga.’​—Baf. 4:23.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]

Ofuba okuyamba ekibiina kyo okuba n’omwoyo omulungi ng’otegeka eby’okuddamu mu nkuŋŋaana ebizimba?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Yamba ekibiina okuba n’omwoyo omulungi ng’oyiga ennyimba zaffe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share